Jump to content

Neo Masisi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Neo Masisi
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeBotswana Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga21 Gwamusanvu(Kasambula) 1962 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waFrancistown Kyusa Wikidata
OmwagalwaMokgweetsi Masisi Kyusa Wikidata
Number of children1 Kyusa Wikidata
Omulimuaccountant Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuFirst Lady of the Republic of Botswana Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raDe Montfort University Kyusa Wikidata
EdiiniChristianity Kyusa Wikidata
Enfaanana y'enviirinzirugavu Kyusa Wikidata
Langi y'amaasodark brown Kyusa Wikidata

Neo Jane Masisi[1] era amanyiddwa nga Mma Atsile ye yali Mukyala w'omukulembeze ly'a Botswana Pulezidenti Mokgweetsi Masisi[2]

Obulamu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Neo Jane Masisi yazaalibwa mu Gwekkuminoogumu 1971 mu kibuga Francistown, nga ye mukulu mu baana mukaaga aba Baruki ne Irene Maswabi. Bazadde be bombi baali baatikkirwa mu yunivasite. Yakula n’asomera e Gaborone, bazadde be gye baali bakolera.[3][4]

Yawasa Mokgweetsi Masisi mu 2002; balina omwana omuwala ayitibwa Atsile.

Masisi mubalirizi wa bitabo. Yatendekebwa mu ttendekero eritendeka ababalirizi b'ebitabo ekya Debswana Diamond Company gye yafunira obwammemba mu kibiina kya Chartered Institute of Management Accountants. Okuva mu 2001 okutuuka mu 2004 yagenda mu maaso n’okusoma mu yunivasite ya De Montfort mu Bungereza, gye yafunira diguli ya MBA.[2] First Lady Neo Masisi mu 2019 yaweebwa Fellow Chartered Management Accountant, Pulezidenti wa CIMA mwami Steven Swientozielskyj e Gaborone.[5] Mu 2004 yeegatta ku kibiina ky'amawanga amagatte, yasooka kukola ku kitebe ky'ekibiina ky'amawanga amagatte mu kibuga New York n'oluvannyuma mu kakiiko k'amawanga amagatte akavunaanyizibwa ku by'enfuna mu Afrika e Addis Ababa.[6] Era yakolera ekibiina ky'amawanga amagatte mu Central African Republic.[3]

Mu 2017 Masisi yasenguka n’adda e New York okukola ku Umoja, enkola ya pulogulaamu y’okuteekateeka eby’obugagga by’ebitongole egenda okukozesebwa ebitongole by’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu nsi yonna.[7]

Yava mu kibiina ky’Amawanga Amagatte mu 2018 bba bwe yafuuka Pulezidenti wa Botswana.

Omulimu gwe nga Mukyala w'omukulembeze okusinga gubeera gwa mikolo. Nga First Lady, Masisi essira alitadde ku nsonga ezikwata ku baana n'abavubuka, n'okunyweza abakyala. Mu 2018 yatongoza Eseng Mo Ngwaneng, kaweefube w’ekibiina kya UNICEF okulwanyisa okutulugunyizibwa mu by’okwegatta n’okutulugunyizibwa.[8]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Mandhry, Eddie (11 June 2019). "President Mokgweetsi Masisi of Botswana visits Yale". Yale News. Yale University. Retrieved 9 August 2019.
  2. 1 2 "President Masisi clarifies First Lady's role". Your Botswana. Retrieved 9 August 2019. Cite error: Invalid <ref> tag; name "YB" defined multiple times with different content.
  3. 1 2 "Staff corner - Profile" (PDF). UN Staff Voice. No. 6. June 2018. pp. 36–39. Archived from the original (PDF) on 9 August 2019. Retrieved 9 August 2019.
  4. "Puisanyo le Mma Atsile". Botswana Daily News (in Tswana). 3 April 2018. Retrieved 9 August 2019.
  5. "Daily News.:. : : Masisi credits CIMA for success". www.dailynews.gov.bw. Retrieved 2021-05-17.
  6. "H.E. Mrs Neo Jane Masisi". www.africanchild.report (in British English). Archived from the original on 2022-10-21. Retrieved 2021-05-17.
  7. Kgosikebatho, Keitebe (7 January 2019). "Neo Masisi inspires Women". The Patriot on Sunday. Gaborone. Archived from the original on 17 February 2020. Retrieved 9 August 2019.
  8. Mokgosi, Tshenolo (4 December 2018). "First Lady Masisi launches campaign against sexual abuse". Weekend Post. Gaborone. Retrieved 9 August 2019.