Jump to content

Ngonge Clan

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ekika kya Nngonge era ekiwandiikibwa mu Luganda nga ηηonge clan, era kimanyiddwa Engonge clan, Ngonge clan, Buganda Otter clan oba Ekika ky'engonge (mu Luganda) kye kimu ku Bika by'Obwakabaka bwa Buganda . [1] Ngonge era emanyiddwa nga Otter mu Olungereza.[2] Kisolo kye kitiibwa ekiweebwa Omutaka w'akasolya k’ekika ky’e Nngonge.

Ebyafaayo by’ekika

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekika ky’e Ngonge kye kimu ku bika by'Obwakabaka bwa Buganda ebitaano Binnansangwa era bye bino; Eky'Olugave, Effumbe, Njaza n’e Nnyonyi. [3]

Ekika ky’e Ngonge kyatandikibwawo Muwanga Ssebyoto ku mulembe gwa Ssekabaka Kato Kintu, Omutaka Muwanga Sebyoto ye Kisolo eyasooka era Katikkiro wa Buganda eyasooka.[4]

Okusinziira ku nfumo z'Abaganda, Mwanga Ssebootyo yabula ne Ssekabaka Kintu era kirowoozebwa nti buli kiro amaloboozi gaawulirwa, ekyaleka abantu nga beebuuza bye baasigala bawulira mu kiro ekizikiza kwe kuva okujuliza amaloboozi nga "Kintu oba Kisolo" era wano we baaggya ekitiibwa kya Kisolo.

Omutaka Muwanga Ssebyooto yazaala abaana bana (04) okwali omuwala omu n’abalenzi basatu abakola Amasiga g'ekika ky’e Ngonge. Abalenzi abasatu bano kwaliko Lutaaya ow’e Bbongole e Busujju, Ssenkungu ow’e Lumuli e Mawokota ne Kinkumu Kitumba ow’e Bweza e Busujju. [5] Muwala yali Najjemba Nabachwa Kwamagezi eyafumbirwa Wanema (taata wa Jajja Mukasa ). [6] Najjemba gwe musambwa gw'ekika ky'e Ngonge omukulu. [7]

Kisolo Muwanga Ssebootyo yalondebwa okubeera Musigire eyasooka mu Bwakabaka bwa Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu era Ssekabaka bwe yagenda mu lutabalo, yalekawo mukwano gwe gwe yali yeesiga era Katikkiro ng’omukulu w’Obwakabaka.

Wamala Buyungo Kaboggoza, yayiiya olubugo mu 1374-1404 ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera era ne lufuuka ekintu eky'obuwangwa ekyali kisinga okwesigika mu budde obwo. Lwalekebwa nga lwa lulyo Olulangira, mu mikolo egy'ennono n'okuziika naye obudde bwe bwagenda buyita, abaami n'abagagga baatandika okulukozesa naye oluvannyuma lw'okuvumbulwa kwa ppamba, sirika n’engoye endala mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda abasuubuzi Abawalabu lwe baasuula omutindo gwalwo. Okuva olwo olubugo kabadde kabonero k'Abaganda bwe kituuka ku nnono n'okuweesa. [8]

Kisolo w’ekika ky’e Ngonge y’avunaanyizibwa ku kwambaza Kabaka, okukola n’okukuuma omutindo gw’olubugo Kabaka lw’ayambala ku mikolo egy’enjawulo. [9]

Ebikwata ku bika

[kyusa | kolera mu edit source]

Obubaka buno wammanga buteekeddwa okumanyibwa ab’ekika kya Nnonge bonna. [10]

Erinnya ly'ekika ( Ekika) . ηηonge
Omuziro ηηonge
Akabbiro Kaneene
Omukulu w'Ekika ( Ow'akasolya amanyiddwa nga Omutaka) Kisolo (kitiibwa ekiweebwa Omutaka w'Akasolya) .
Obutaka Bweza, Busujju
Omubala gw'Ekika oba omubala( Omubala) Abakyanja nkette, Abakyanja nkette

Mwe gali mwe gali

Lwajali lwajali

Ekirimala abasajja ziriba nnyago

Beppo Ddogo

Bwe galibeera amafumu tuligendana

Bya ddalu bya ddalu

Binnakiwala bya ddalu.

Emirimu gy'ekika mu Bwakabaka bwa Buganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekika ky’e Ngonge era kimanyiddwa nnyo olw’okuvumbula olubugo. [11] [12][13] [14] Mulimu gwa kyo okukola embugo ezambalibwa olulyo olulangira omuli n'eby'essiga eddamuzi erya Buganda eriyitibwa Luyiira ebyambalibwa ku matikkira ga Kabaka.[15][16]

Wamala ow’ekika ky’e Ngonge ateeberezebwa nti ye yavumbula Olubugo okuva mu muti gw'omutuba yali ayigga mu kibira mu ssaza ly’e Mawokota mu Buganda ng’akozesa ennyondo eyakolebwa mu muti. Wamala yakwasa Ssekabaka Kimera olubugo eyawa ekika kya Wamala obuyinza bw'okukola Olubugo lw'okukozesebwa mu kitaawuluzi.[13] [14]

Ssekabaka Kiggala yalagira okukolebwa kw'ebibajje ebyefaanaanyiriza amasanga ng'akabonero k'ekika kye Ngonge okukola olubugo lw’obwakabaka bwa Buganda. [13]

Amannya g’ekika

[kyusa | kolera mu edit source]

Amannya g'ekika ky'e Ngonge ag'abawala agatuumibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensulo: [17] [14]  Namwanga Nakitandwe

Namusisi

Nalule

Nnatuga

Nasunje

Nakisimu

Nakirijja

Nalutaya

Nambatya

Nankungu

Namwanga

Namusisi

Namuganga

Lunkuse

Gwokyalya

Nakidaali

Nabacwa

Najjemba

Nakiganda

Bakuyiita

Kajjenke

Kasisaki

Kwamagezi

Nabategere

Nabirongo

Nabisenke

Nakakanga

Nakirigya

Nakyanja

Nambatya

Namutibe

Nanjobe

Natoolo

Ndibazzi

Nakiwala

Nassonko

Amannya g'ekika ky'e Ngonge agatuumibwa abalenzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensulo: [17] [14]  1.      -Kitumba 2.      -Munina

3.      -Katweele

4.      -Kivumbi

5.      -Ssejjemba

6.      -Lutaaya

7.      -ssenkungu

8.      -Buyondo

9.      -Musisi  

10.  -Lutembe

11.  -Ssejemba

12.  -Bbongole

13.  -Biyiggisa

14.  -Bulemu

15.  -Buligi

16.  -Buyungo

17.  -Kaasandege

18.  -Kabinaga

19.  -Kaboggoza

20.  -Kajabaga

21.  -Kajwiga

22.  -Kakanga

23.  -Kaleebu

24.  -Kalegga

25.  -Kaligijjo

26.  -Kasaanyi

27.  -Katama

28.  -Kateeko

29.  -Katiginya

30.  -Katongero

31.  -Katwere

32.  -Kayirigo

33.  -Kibira

34.  -Kibungu

35.  -Kiganda

36.  -Kimbowa

37.  -Kinyira

38.  -Kisaabagire

39.  -Kisasa

40.  -Kitandwe

41.  -Kitumba

42.  -Kivumbi

43.  -Kizunga

44.  -Kkalaaza

45.  -Kyenenya

46.  -Lule

47.  Lusambya

48.  -Lusekera

49.  -Lusse

50.  -Lutaaya

51.  -Lutembe

52.  -Luvuuma

53.  -Luyimbaazi

54.  -Luyinda

55.  -Mayito

56.  -Mubiina

57.  -Muganga

58.  -Muguta

59.  -Mulagwa

60.  -Mulamuzi

61.  -Mulimbe

62.  -Mulungwa

63.  -Musaakiriza

64.  -Mutawonga

65.  -Mutuba

66.  -Mutyabule

67.  -Muwanga

68.  -Namulengo

69.  -Namungi

70.  -Ndaazu

71.  -Ndalike

72.  -Nkunga

73.  -Nkwangu

74.  -Nsama

75.  -Sejjemba

76.  -Sembuuze

77.  -Senkungu

78.  -Ssekajugo

79.  -Ssekimbega

80.  -Ssekirevu

81.  Ssembatya

82.  -Ssemugenze

83.  -Ssemwanga

84.  -Ssemwezi

85.  -Ssendigya

86.  -Ssenkuba

87.  -Ssewajje

88.  -Ssika

89.  -Ssonko

90.  -Wamala

Abakulu/abakulembeze b’ebika era bamanyiddwa nga Abakasolya . [18]   Muwanga Ssebyooto ( Ssekabaka Kintu) Kitumba( ssekabaka Kintu)

Kanya

Ssemwezi II(Owookubiri)

Kinyira IV(Owookutaano)

Baiwana

Jjemba(ssekabaka Ttembo)

Kitumba III(Owookusatu)

Kazinazina(ssekabaka Kiggala)

Lutaaya

Kityo

Bissoto (ssekabaka kiggala)

Ddamulira II (Owookubiri) (Ssekabaka Kimbugwe)

Lutaaya (Ssekabaka Mutebi )

Ssenkuba (Ssekabaka Mutebi)

Muwanga (Ssekabaka Kanakulya)

Kitumba

Ssenkuba II (Owookubiri)

Ssemwanga (Ssekabaka Mawanda)

Naddibanga (Ssekabaka Kyabaggu)

Kaleebu (Ssekabaka Tebutwereke)

Ssemwezi

Ssenkuba IV(Owookutaano) (Ssekabaka Tebutwereke)

Vvumira. (Ssekabaka Kayima)

Bissoto Mulwanyammuli II (Owookubiri)

Kinyira III (Owookusatu)

Kikonyongo (Ssekabaka Kanakulya)

Ssonko (Ssekabaka Ssemakoriro)

Wakyolya

Kivumbi

Kyoka oba Kyomya

Lule

Ndalike

Semeyi Bamutenda Mulwanya.

Mikayin Kaleebu (Ssekabaka Mutesa II)

Herbert. S. Muwanga (Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II)

Mathias Kabogozza, ye Kisolo aliko mu kiseera kino.  (Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II)

  1. Obwakabaka bwa Buganda
  2. Ekika kya Lugave
  3. Ekika kya Mpindi
  4. Ebika bya Buganda

Ebijuliziddwa okuva ku mikutu emirala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "bugandauk.com - Ebika bya Buganda". www.bugandauk.com. Retrieved 2025-02-12.
  2. polly (2024-01-13). "Clans of Buganda | Buganda Kingdom | Uganda Safaris Tours". Achieve Global Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  3. "bugandauk.com - Ebika bya Buganda". www.bugandauk.com. Retrieved 2025-02-12.
  4. polly (2024-01-13). "Clans of Buganda | Buganda Kingdom | Uganda Safaris Tours". Achieve Global Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  5. "The Tribe powered by eJobsAfrica". The Tribe (in Lungereza). Retrieved 2025-02-18.
  6. "Bukasa: Where I mingled with Buganda’s spirits". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-02-11.
  7. "Bukasa: Where I mingled with Buganda’s spirits". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-02-11.
  8. "What you did not know about Buganda". Monitor (in Lungereza). 2023-08-01. Retrieved 2025-02-11.
  9. polly (2024-01-13). "Clans of Buganda | Buganda Kingdom | Uganda Safaris Tours". Achieve Global Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  10. M, Isaac. "Ŋŋonge". www.obutaka.com (in British English). Retrieved 2025-02-15.
  11. polly (2024-01-13). "Clans of Buganda | Buganda Kingdom | Uganda Safaris Tours". Achieve Global Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  12. "How barkcloth became part of royal regalia". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-02-11.
  13. 1 2 3 "How barkcloth became part of royal regalia". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-02-11. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":4" defined multiple times with different content
  14. 1 2 3 4 "The Tribe powered by eJobsAfrica". The Tribe (in Lungereza). Retrieved 2025-02-18. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  15. "How barkcloth became part of royal regalia". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-02-11.
  16. "The Tribe powered by eJobsAfrica". The Tribe (in Lungereza). Retrieved 2025-02-18.
  17. 1 2 "Ngonge (otter) clan". Ngonge (otter) clan. Retrieved 2025-02-15. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":5" defined multiple times with different content
  18. polly (2024-01-13). "Clans of Buganda | Buganda Kingdom | Uganda Safaris Tours". Achieve Global Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.