Nicholas Omonuk
Nicholas Omonuk (yazaalibwa c. 1999)[1] [2] [3] munnayuganda mulwanirizi w’obwenkanya mu mbeera y’obudde [4] [5] [6] era omutandisi w’ekibiina kya End Fossil Occupy Uganda, ekibiina ekiwagira okukomya okukozesa amafuta ag'omu ttaka n’enkyukakyuka ey’obwenkanya (enkola ey’okukyusa ebyenfuna n’ebitundu okutuuka ku buwangaazi ate nga bakakasa obwenkanya n’obwenkanya eri... bonna naddala abo abasinga okukosebwa enkyukakyuka) mu Afrika. [7] [8] Alina Diguli mu Land Economics (Ebyenfuna by'Ettaka) okuva mu Yunivasite y’e Kyambogo, yetabye mu kakuyege ow'awaka n'ow'amawanga g'ebweru okulwanyisa amafuta ag'omu ttaka [5] Yetabye mu nkiiko z'ensi yonna ez'embeera y'obudde nga European Forum Alpbach, n'enkiiko za buli mwaka eza UNFCCC.[9]
Obulamu bwe obwasoka n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Omonuk yakulira mu maka g'abalunzi b'ebisolo e Pallisa mu buvanjuba bwa Uganda . Ava mu kabila ya'Abateso, omuli buli mwana w'alina emirimu gy'awaka gy'avunaanyizibwako. Yamala ebiseera by'obuto bwe bungi ng'alwana n'okufiirwa obutebenkevu mu by'enfuna olw'embeera z'obutonde nga ekyeeya.[10] [11]
Omonuk alina diguli ya ssaayansi mu by’enfuna by’ettaka, okwekenneenya ettaka n’ebintu (Surveying) okuva mu yunivasite y’e Kyambogo . [12]
Ebikolwa by'embeera y'obudde
[kyusa | kolera mu edit source]Omonuk yatandikawo ekibiina kya End Fossil Occupy Uganda,[13] ekibiina ky’embeera y’obudde mu kitundu nga kiwagira okukomya okukozesa amafuta ag'omu ttaka n'enkyukakyuka ey'obwenkanya mu Afirika. Abadde mu kampeyini z’embeera y’obudde okusaba gavumenti n’emikwano gy’enkulaakulana okukomya okusonda ssente z’amasannyalaze g’amafuta g’ebintu ebikadde mu nsi yonna, kisobozese okuba n'ebiseera eby'omu maaso eby'obuwangaazi eri buli muntu. [8] [14]
Mu lukungaana lwa European Forum Alpbach mu Austria, yawagira akeediimo k’embeera y’obudde mu kifo kino era ng’anyumya ng’ayita mu podcast engeri enkyukakyuka y’obudde gy’ewaliriza abantu abatabalika okuva mu nsi ye okutunda ebintu byabwe ne baddukira mu mawanga amalala. [15] [16] [17]
Yawagira ekikolwa ky’okuwuga ku mbeera y’obudde mu Dreirosenbrücke e Basel mu Switzerland ekyagenderera okulaga akakwate akaliwo wakati w’okufulumya amafuta n’okusenguka kwa'abantu. [18] [19]
Omonuk yakiikirira abantu n’ebitundu ebisinga okukosebwa olw’enkyukakyuka y’obudde mu COP27 ne COP28, ng'alwanirira okukomya amafuta ag'omu ttaka n'okutongoza Ekitongole ky'Obuyambi olw'Okufiirwa n'Okwononebwa (Loss and Damage Fund).
Mu Desemba wa 2023, yetaba mu Lukiiko lwa COP28 olw'Eby'embeera y'obudde e Dubai (UAE). Olukungaana lw’amawanga amagatte olw’enkyukakyuka y’obudde oba Olukungaana lw’ebibiina by’ekibiina kya UNFCCC, olusinga okuyitibwa COP, lwali lukiiko lwa 28 olwa Kibiina ky'Amawanga Amagatte olw'Eby'embeera y'obudde olubeerawo buli mwaka okumala ssabbiiti bbiri.[20]
Mu 2024, yomu ku bategeka Agape Earth Coalition,[21] ekitongole ekigatta abavubuka abalwanirira embeera y’obudde, ebibiina by’obwannakyewa, n’ebibiina by’enteekateeka z’abantu aba wansi nga bammemba.
Okukomelera amafuta g'omu ttaka
[kyusa | kolera mu edit source]Pulojekiti z’amafuta ag'omu ttaka nga Omudumu gw'Amafuta Amabisi ogwa Buvanjuba bwa Afirika (EACOP) mu Uganda, zitwalibwa ng'ezisobola okuleetawo enkulaakulana mu by'enfuna n'okwongera ku kufuna amasannyalaze, [22] wadde nga zireese okweraliikirira ku butonde bw’ensi era nga ziwakanyizibwa abalwanirizi b’obutonde bw’ensi omuli ne Omonuk.[5] Omonuk avumiridde okwetaba kwa kkampuni ennene mu pulojekiti z'amafuta ag'omu ttaka ezirina obukuubagano ku mutendera gw'awaka n'ogw'ensi yonna. [23] [24] [25] Yawakanya pulojekiti z'amafuta ag'omu ttaka olw'ebizibu bye ga'yinza okuleetera abantu b'omu bitundu.[26] [27]
EU CSDDD
Mu October wa 2023, Omonuk ng’ali wamu ne munnamateeka w’eddembe ly’obuntu Maxwell Atuhura yayita ababaka ba EU okuwagira ekiragiro kya Corporate Sustainability Due Diligence Directive (CSDDD). [28] [29] Yategeeza nti ekiragiro kino kiyinza okuteekawo enkola z’obuvunaanyizibwa, okusobozesa okugonjoola okutyoboola obutonde bw’ensi n’eddembe ly’obuntu okwekuusa ku Kampuni z’Abazungu mu Uganda, [30] okuddukira mu mateeka o'kutono. [28] [31] [32]
Wabula ekiragiro kino kiwakanyizibwa ebibiina ebimu ebikwatibwako n’amawanga agali mu mukago gwa EU agalina endowooza nti kijja kuteekawo emigugu gy'amateeka egisusse, okwongeza ku bbeeyi y'okugondera amateeka ate n'okukosa obusobozi bw'okuvuganya, naddala eri amakampuni amatanono n'agawakati. [33] [34] [35]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.park-platz.org/de/agenda/lokal-aber-global-vernetzt-gemeinsam-gegen-die-klimakrise
- ↑ https://www.churchtimes.co.uk/articles/2024/1-november/news/uk/christian-climate-campaigners-target-insurance-firms
- ↑ https://www.africanewsanalysis.com/cop29-african-youth-activists-demand-increased-adaptation-finance-for-the-global-south/14/08/55/38/11/2024/
- ↑ https://nilepost.co.ug/climate-change/206997/omonuk-determined-to-get-global-voice-for-climate-justic
- 1 2 3 https://books.google.de/books?id=M0kEEQAAQBAJ&printsec=frontcover&dq=inauthor:%22Cyrill+Hermann%22&hl=en&newbks=1&newbks_redir=0&source=gb_mobile_search&ovdme=1&sa=X&redir_esc=y#v=onepage&q&f=false
- ↑ https://africanarguments.org/author/nicholas-omonuk/
- ↑ https://ugandatimes.ug/2024/07/10/ugandas-fight-for-climate-justice-spearheaded-by-nicholas-omonuk/
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/category/agriculture/govts-asked-to-invest-in-renewable-energies-t-NV_159249
- ↑ https://enb.iisd.org/media/nicholas-omonuk-okoit-youngo-unfccc-sb60-4jun24-photo
- ↑ https://imaginize.world/nicholas-omonuk-grassroots-to-global/
- ↑ https://corporatejustice.org/news/interview-reality-check-why-deregulation-fuels-climate-injustice-with-nick-omonuk/
- ↑ https://georgianbayearthdays.org/2024/05/giving-young-people-a-public-voice-a-conversation-with-ugandan-climate-biodiversity-activist-nicholas-omonuk/
- ↑ https://www.kutas.org/fossils/
- ↑ https://www.commondreams.org/news/students-occupy-to-end-fossil-fuels
- ↑ https://www.diepresse.com/14429728/4-ein-streit-uebers-fliegen-und-ein-afrikaner-der-den-klimawandel-am-eigenen-leib-erlebt
- ↑ https://oekonews.at/keine-buehne-fuer-fossile-geldgeber-am-forum-alpbach+2400+1183527
- ↑ https://montreet.net/de-de/blogs/news/klimawandel-genderfacts
- ↑ https://www.bzbasel.ch/basel/basel-stadt/gegen-erdoeltransport-niemand-haengt-mehr-in-den-seilen-klima-aktion-an-der-dreirosenbruecke-beendet-polizei-kontrolliert-anwesende-ld.2497590
- ↑ https://rdl.de/beitrag/400-am-samstag-bei-abschlussdemo-basel-beim-nobroder-klimacamp
- ↑ https://forumfor.no/en/news/2023/the-loss-and-damage-fund-the-fund-has-to-be-in-the-billions
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-06-13. Retrieved 2025-06-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.pau.go.ug/the-east-african-crude-oil-pipeline-eacop-project/
- ↑ https://kontrast.at/uganda-pipeline/
- ↑ https://novice.najdi.si/novica/6a91f09ad5ceb426b9a44ef4c51b323e/focus/eu-podjetja-pod-lupo-prisluhnimo-ugandskim-aktivistom
- ↑ https://www.si21.com/Svet/ustrahovanje-in-pritiski-na-aktiviste/
- ↑ https://insideclimatenews.org/news/30112024/london-activists-target-insurance-industry-fossil-fuels/
- ↑ https://sustainabilitymag.com/articles/insuring-oil-why-top-london-firms-are-the-target-of-protest
- 1 2 https://www.euractiv.com/section/economy-jobs/news/ugandan-activists-call-on-eu-to-move-forward-on-due-diligence-law/
- ↑ https://meta.eeb.org/2024/10/29/justice-is-everybodys-business-how-campaigners-took-on-corporate-giants-and-won/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/letters/why-eu-corporate-sustainability-due-diligence-directive-is-important-4575212
- ↑ https://friendsoftheearth.eu/publication/the-story-of-the-csddd/
- ↑ https://friendsoftheearth.eu/wp-content/uploads/2024/10/JIEB-Document_Oct17.pdf
- ↑ https://www.sustainableviews.com/french-banks-lead-opposition-to-finance-sectors-inclusion-in-eu-csddd/
- ↑ https://www.justdigi.ee/en/news/controversial-corporate-sustainability-due-diligence-directive-approved-eu
- ↑ https://www.chathamhouse.org/2024/03/eus-corporate-sustainability-due-diligence-directive-flawed-it-opportunity-too