Njovu Clan
Ekika ky'e Njovu ky'ekimu ku bika ebingi mu Bwakabaka bwa Buganda obuliwo kati. Abantu bonna mu bwakabaka bwa Buganda bagwa mu kika buli nga buli kimu kirina omuziro. Njovu kigambo kya Luganda ekitegeeza Enjovu. Omukulu w'ekika ky'e Njovu ye Mukalo, era ye mutandisi w'e kika kino. [1] [2]
Ensibuko
[kyusa | kolera mu edit source]Okusinziira ku byafaayo bya Buganda, Kabaka Kintu yajja mu Buganda ng'ali ne Ssesanga eyali omu ku bagoberezi be. Ssesanga ye yasitulanga ebyokulwanyisa bya Kabaka ng’amafumu n’engabo. Kabaka bwe yasenga e Nnono, yawa Ssesanga ekirabo ky’ekifo ekiyitibwa Ntonyeze ekisangibwa e Busujju gy’ayalina okusenga n’ab’omu maka ge wamu n’abagoberezi be. Yasasulwa olw’obwesigwa bwe n’okuweereza obulungi Kabaka. [1]
Bweyali e Ntonyeze, Ssesanga yalina omwana omulenzi gwe bayita Mukalo oluvannyuma eyaafuuka omusika we. Ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa ow'oluberyeberye, yakyusa Mukalo naamujja e Ntonyeze n’amuwa ekifo e Kambugu mu Busiro. Okuva olwo, Kambugu e Busiro bwafuuka obutaka bw’ekika ky’ ekika ky’e Njovu. [1] [2]
Amannya g’abakyala agamanyiddwa ennyo
[kyusa | kolera mu edit source]Nnassanga, Nnanteza, Nnagujja, Nnakadi, Nnabitalo, Nnamaato, Nnabatte, Nnabwato, Nnambatuusa, Nnamukina, Nakayiga, Nnabbaale, Namaanyi, Nnantambi, Nnabuule, Nnassozi, Nakate [1]
Amannya g’abasajja agamanyiddwa ennyo
[kyusa | kolera mu edit source]Ssemmambo, Ggalabuzi, Kikomeko, Ssevviiri, Batte, Sseddyabanne, Ssentulubalo, Ssezzooba, Ssettyabule, Kiro, Ssebbaale, Ssessanga, Ssenteza, Ssozi, Ssegujja, Ssekandi, Ssekimpi, Wavvuvuumira, Kayaaye, Ssengo, Katunda, Kayiga, Ssenyomo, Ssemaanyi, Ssemukina, Nkayiivu, Ssensalire, Kakembo, Ssentomero, Mbazzi, Ntambi, Muzingu, Bitalo. [1]
Abakulu mu kika
[kyusa | kolera mu edit source]Bano be bakulu b’ekika Omusanvu abali wansi wa Mukalo:
- Kikomeko e Lubu, Mawokota
- Ggulu e Busabala mu Kyaddondo
- Kakembo ku Zzirannumbu, Kyaddondo
- Ntambi e Lubya, Kyaddondo
- Ssebanyiiga e Kyazi(kojja), Kyaggwe
- Ssentomero e Zzinga mu Kyaggwe
- Ssemakadde e Mpuku, Kyaggwe [1]
Ebikwata ku kika
[kyusa | kolera mu edit source]| Ekika | Obubaka |
|---|---|
| Ekika . | Njovu |
| Totem (Akabiro) nga Omuziro . | Nvubu |
| Omutaka | Mukalo |
| Obutaka | Kambugu, Busiro |
| Omubaka w'Omutaka mu Bungereza ne Ireland | Daudi Sserukeera |
| Omubala | Nsimbye amasanga, Nakate ajja! Batte Mugamba, tungulako emu, Bbiri ku lwayi, ssatu ku kitooke. Sibamputanta nempasasa mputanta. [3] |
Era laba
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 https://africanculture1.blogspot.com/2022/06/enjovu-elephant-clan.html
Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.obutaka.com/clans/clan-history/njovu-history Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content - ↑ M, Isaac. "Njovu". www.obutaka.com (in British English). Retrieved 2024-02-19.