Jump to content

Nkumba University

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Nkumba University (NKU) yunivasite ya bwannannyini erina ebisaanyizo mu Uganda. Yatandikibwawo mu 1994 ng’ekimu ku bitundu by’ekibinja by’amasomero n’amatendekero ga siniya agaakula okuva mu masomero agayigiriza abaana abato agaatandikibwaawo mu 1951. Yunivasite eno terina kakwate na kibiina kya ddiini kyonna, naye kisembeza ebibiina by’eddiini ebiwerako.

Ekifaananyi eky'omu bbanga kutendekero ekulu erya Nkumba University.

W'esinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Etabi ekulu erya yunivasite esinganibwa ku lusozi Nkumba mu Disitulikiti y’e Wakiso, nga kiromita 12 (7 mi),ng'okozesa luguudo, mu bukiika ddyo bwa buvanjuba bw’ekisaawe kky’ennyonyi eky'ensi yonna eky'Entebbe, [1] mu bukiika ddyo g'olubalama lw’ennyanja Nalubaale, enyanja eky’okubiri kuzisinga obunene kuzirina amazzi amayonjo. Endagirira y'etabi lya yunivasite eno eri 0°05'42.0"N, 32°30'27.0"E (Latitude:0.095000; Longitude:32.507500). [2]

Okutwaliza awamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Yunivasite eno y’emu ku yunivasite ez’obwannannyini ezisinga obunene mu mawanga g'Omubuvanjuba bwa Afrika. Wetatukira mu Gwekumineebiri mu 2011, abayizi baali basuka mu 7,000, nga balina abasomesa abasoba mu 300. Nkumba University yabwannannyini, etasosola mu ddiini yonna, etali ku kigendererwa kyakukola magoba, nga teyeekuusa ku ddiini.

Yunivasite eno eyigiriza koosi ezikutuusa ku satifikeeti, dipuloma, diguli ez'enjawulo wamu n’ebisaanyizo bya diguli ey'okubiri. [3] Nkumba University etikkidde abayizi abawera 30,000 mu myaka 27 egiyise. Yunivasite eno y’emu ku yunivasite ezaasooka mu ggwanga okuleeta diguli ya Bachelor of Science mu misomo gy’amafuta, okuddukanya eby’obugagga by’omu ttaka, ne tekinologiya. Okuyingiza abayizi okwasooka kwaliwo mu 2011. Diguli ey'okubiri mu mulimu gwe gumu eri munteekateeka. [4]

Nga 29 Ogwomusanvu 1951, Ssalongo Kintu omusuubuzi w’omu kitundu, yayita mikwano gye ebiri egy’okulusegere mu lukiiko, okwali Charles Kisitu Ffulu, eyali Omukulu w’Ekigo mu Nkumba mu kiseera ekyo, ne Zefania Mpanga, omukozi wa gavumenti eyali abeera mu kitundu ekyo. Olukiiko lwabwe lwaviirako okutandikawo kw'ekifo webaali bayigiririza abaana baabwe abato. Esomero lino lyaggulwawo nga 6 Ogwokubiri mu 1952 nga lirimu abayizi kkumi nababiri mu maka ga Ffulu. Mu myaka ebiri gyokka, omuwendo gw’abayizi gwali gweyongedde ne gusukka mu 150.

Esomero ly'abaana abato lino lyakula ne lifuuka esomero lya pulayimale (eby'enjigiriza ebisokerwaako). Emyaka bwe gyagenda giyitawo, esomero lino lyakula ne lifuuka esomero lya siniya (ery'awakati) ne siniya (eyawagulu) mu 1968. 1968 waali wayise emyaka ebiri gyokka bukya emitawaana gy’e Mengo egya 1966 gibeerawo, ng'era esomero lino lyali kugyegoyego ly'okugwa nga gavumenti ya Uganda ne landiloodi Nelson Nkalubo Ssebuggwa basika emiguwa olw’okukendeera kw’okuwandiisa abayizi, nga Paul Livisingstone Kisulo Mukasa omu kubasomesa abangi gwe bayita "pulofeesa Mukasa" yafalasira abakadde b'omukitundu okwali Kintu Ssalongo, Yolamu Kiwanuka, Christopher Ssempa, Badru Kasule, Yinginiya Mutyaabi Ngulumi, landiloodi Ssebuggwaawo n'abalala abatonotono nebamutekamu obwesige okugiza engulu. Mu 1969, esomero lino lyafuuka tendekero lya byamikono. Mu 1974, erinnya ly'esomero lino lyakyusibwa ne lifuulibwa Nkumba College of Commerce and Advanced Studies minisita w'eby'enjigiriza Al Hajji Abu Baker Kakyaama Mayanja ku mukolo gw'okutikkira ogwasooka bwe yalangirira nti, "Lino si somero lyokka, lyetendekero ly'e Nkumba erya Bizineensi n'Eby'enjigiriza ebisukulumye", n'awaayo ebyuma ebiwandiika ebitabo ebipya 10. "Omukenkufu" Mukasa yakulembera Nkumba okumala emyaka egisukka mu 25 egy'amaanyi amangi, egy'obuwanguzi obw'amaanyi. Okusoma kwakula okuva ku gya siniya okutuuka ku London GCE, okutuuka ku by’obuwandiisi okutuuka ku misomo egy’ekikugu omuli okubala ebitabo, ebibalo, bizineensi; okutuuka ku kuwa Dipuloma ey’omunda mu Byabizineensi ng'okutuuka olwo yali efunibwa kutendekero lya Uganda College of Commerce yokka ng'eno esinganibwa Nakawa. Mu 1994, olukiiko olufuzi lwakkirizibwa Minisitule y’Eby'enjigiriza okukyusa etendekero lino okufuuka yunivasite. Kino kyavirako entandikwa ya Nkumba University. Nga 16 Ogwokubiri mu 2007, Nkumba University yaweebwa ebiwandiiko okuva ewa pulezidenti wa Uganda ku kuteesa kw’olukiiko lw’eggwanga oluvunaanyizibwa ku by’enjigiriza eby'amatendekero ga wagulu nga bwe kirambikibwa muteeka erifuga yunivasite n’amatendekero amalala aga wagulu eya 2001. [5]

Ensonga z’Eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensonga z’eby'enjigiriza eza Nkumba University zitegekebwa wansi w’amasomero musanvu agakola yunivasite eno. [6]

  • Esomero ly’Okuddukanya Bizineensi n'ebikwatagana ne tekinologiya
  • Esomero ly’Eby'enjigiriza, Eby’obulamu bw'abantu ne Saayansi
  • Esomero lya Social Science
  • Esomero ly’Amateeka n’Etendekero ly’Obwenkanya mu misango
  • Esomero ly’Eby'emikono, Eby’obusuubuzi n’Okukola dizayini
  • Esomero ery'ekuusa ku Bya Kompyuuta n’ebigikwatako
  • Esomero lya Saayansi.

Abayizi abasomeddeko kuyunivasite eno

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijulizidwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Template:Google maps
  2. Template:Google maps
  3. "Nkumba University Supplement". New Vision. 8 January 2014. Retrieved 12 July 2014.
  4. "Nkumba University Gets First Foot On Oil Training Ladder". OilInUganda.org. 6 July 2012. Archived from the original on 28 March 2014. Retrieved 12 July 2014.
  5. Namutebi, Joyce (24 April 2006). "Uganda: Nkumba to Get Charter". New Vision via AllAfrica.com. Retrieved 12 July 2014.
  6. NKU. "The Schools of Nkumba University". Nkumba University (NKU). Archived from the original on 30 July 2014. Retrieved 12 July 2014.