Jump to content

Nnaabagereka owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nnaabagereka kye kitiibwa ekitongole ekya mukyala wa Kabaka w'Obwakabaka bwa Buganda, obwakabaka obw'ennono mu Uganda. Nnaabagereka aliko mu kiseera kino ye Sylvia Nagginda, nga ono yafumbirwa Kabaka Muwenda Mutebi II nga 27 ogw'omunaana 1999. [1]

Ekitiibwa kino sikyadda nnyo era kyatondebwawo mu kyasa eky’amakumi abiri. Emabegako, ennono ya Buganda yalina nnyina wa Kabaka yekka era nga ono ayitibwa , Nnamasole mpozzi n'omu ku bannyina nga ono ayitibwa Lubuga nga banno baaberanga bakulu nnyo era nga baamaanyi. Nnamasole ne Lubuga buli omu yalina ebibangirizi byabwe mu Lubiri lw’Obwakabaka, era eddaala ly’obufuzi n’obuyinza buli omu bwe yalina nga byawukana okusinziira ku bufuzi bwa Kabaka aliko mu kiseera ekyo. Mu kiseera kino mukyala wa Kabaka omukulu yayitibwanga nga Kaddulubaale, ekitiibwa kye kimu omukyala omukulu ky’alina mu maka gonna mu bwakabaka. [2]

Ssekabaka Daudi Chwa II nga ono yafugira wakati wa 1899 ne1939, ye kabaka eyasooka okubeera nga mukyala we, Irene Nnamaganda, atwalibwa okubeera kumwanjo ennyo mu bakyala bonna mu buganda. Ekitiibwa kya Nnabagereka nga mu kusooka lyali linnya ly’omwana omuwala okuva mu kika ky'obutiko kyalondebwa ng’erinnya ly’omukyala asinga obukulu mu Bwakabaka. [2]

Nnabagereka aliwo kati nnakinku mu kulwanirira eddembe ly’obuntu, eddembe ly’abakyala n’eddembe ly’abaana naddala omwana omuwala. Nnabagereka aliko, kyakulabirako era yegombebwa mu Buganda, era nga yakazibwako erya "Maama wa Buganda". Gye buvuddeko abadde musaale nnyo mukulwanirira abasomesa ba gavumenti n’abakozi b’ebyobulamu okufuna embeera ennungi mwebakolera emirimu gyabwe. [3]

Ye Nnabagereka asoose mu byafaayo by’obwakabaka okutandikawo ofiisi enzijuvu. Mu mwaka gwa 2000, yatandikawo ekitongole kyeyatuuma Nnabagereka Development Foundation (NDF). Ekitongole kino eky'abwanakyewa , nga omulimu gwakyo kwe kuzzaawo amaanyi ga Buganda ne Uganda okutwaliza awamu nga bayita mu kugatta abakozi b'omukitundu nab'awaka okukulaakulanya embeera z'abantu n'ebyenfuna". [4] Ekitongole era kikwataganye n’Obwakabaka bwa Alur okuyamba n’okuzzaawo obwakabaka obuliraanyewo. [5]

  1. Nicholas Wassajja (27 August 2019). "Thank you for wonderful work, Kabaka to Nnabagereka". New Vision. Kampala. Retrieved 5 June 2020.
  2. 1 2 John Roscoe. The Baganda. London: Frank Cass.
  3. Conrad Ahabwe (15 April 2019). "Nabagereka Blasts Government For Neglecting Health Sector At Her Father's Funeral". Kampala: PML Daily. Retrieved 5 June 2020.
  4. Buganda Kingdom (5 June 2020). "Nnabagereka Development Foundation (NDF)". Mengo, Kampala: Buganda Kingdom Official Website. Archived from the original on 5 June 2020. Retrieved 5 June 2020.
  5. "A decade long journey of King Philip Olarker Rauni III – Kingdom Post" (in British English). Retrieved 2024-05-20.