Jump to content

Ntalaganya Clan

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekika kya Ntalaganya ky'ekimu ku bika ebingi mu Bwakabaka bwa Buganda obuliwo kati. Kino ky'ekimu ku bika ebyaliwo nga Ssekabaka Kintu tannajja. Ntalaganya linnya lya Luganda eritegeeza Blue Duiker (Ntalaganya). Amaka ga bajjajja b’ekika ky’e Ntalaganya gali Kiwawu (Busujju). [1]

Kino kifaananyi ky'e Ntalaganya ekiikirira omuziro gw'ekika kya Ntalaganya mu Bwakabaka bwa Buganda.

Ebyafaayo biraga nti omulwanyi Bulamaga Wasswa yawangula Omutaka wa Bunyoro e Ggomba ku mulembe gwa Ssekabaka Kateregga. Oluvanyuma lwa Ssekabaka Kateregga okugoba Abanyoro e Ggomba, abantu b’e Ntalaganya baasenga nebagumba mu kitundu ekyo. [1]

Era Ebyafaayo bya Buganda bikkaatiriza nti abantu b’Ekika ky’e Ntalaganya bazzukulu ba Ssekabaka Wadda agambibwa okuba Kabaka wa Buganda eyasooka nga Kintu tannajja. Ate era Ebyafaayo bya Buganda biraga nti Buganda yalina ba Ssekabaka nga Kintu tannajja era kigambibwa nti kabaka Wadda ye eyasooka okuba Kabaka wa Buganda. [1]

Bassekabaka b'e Ntalaganya

[kyusa | kolera mu edit source]

Kigambibwa nti waaliwo ba Ssekabaka mwenda oluvannyuma lwa Wadda okuli:

  1. Bukulu I,
  2. Bukulu II, 2019.
  3. Bbanga,
  4. Musisi,
  5. Ssemandamuntu,
  6. Nsingere,
  7. Buganda,
  8. Lubaalewattu
  9. Bemba.

Bakabaka bano bonna kigambibwa nti baali ba kika kya Ntalaganya. [1]

Abakulira Ekika by'e Ntalaganya

[kyusa | kolera mu edit source]

Abakulu b’Ekika (Abamasiga) n’obutaka bwabwe bwebuno wammanga:

  • Bbambaga wa Bbambaga e Bulemeezi
  • Ndimukazi ow'e Buwanguzi e Ggomba
  • Mugambajjoro ow'e Kyaliwajjala e Kyaddondo
  • Kalamazi ow'e Jjinja e Kyaddondo
  • Wadda wa Kiwawu e Busujju
  • Lutwama ow’e Kakiri e Busiro
  • Kyaddondo ow’e Kawempe e Kyaddondo
  • Nalumenya ow'e Njolo e Busiro
  • Bulijjanga e Bbambaga e Bulemeezi
  • Ssebabi ow'e Buggala e Bulemeezi
  • Kiribata ow’e Kibutamu e Gomba
  • Ssensamba owa Kalyabayoga e Gomba
  • Luzingo ow’e Kasozikake e Gomba
  • Bukulu owa Kabubula e Bulemeezi
  • Ssebunya owa Bunnya e Gomba [2]

Ebikwata ku kika kino

[kyusa | kolera mu edit source]
Ekika Obubaka
Ekika . Ntalaganya
Omuziro
  1. Maleere ( ekika kya butiko ) .
  2. Omussukundu
  3. Amazzi g'ekisasi
Omukulu w'Ekika(Omutaka) Bbambaga
Obutaka Bbambaga, Bulemezi
Omubala
  1. Omusajja Kalamazi ne jjo ndiramaga.
  2. Mussukundu Butiko [3]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 https://www.obutaka.com/en/clans/clan-history/ntalaganya-history
  2. "Ntalaganya Heads". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-08. Retrieved 2024-02-12.
  3. "Ntalaganya Heads". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-08. Retrieved 2024-02-12.