Jump to content

Ntare VI of Ankole

Bisangiddwa ku Wikipedia

.[1]

  1. Mubangizi, Michael (17 January 2010). "Barigye declared king of Ankole". The Observer. Retrieved 17 March 2011.

Ntare VI (omwezi ogusooka 10, 1940 – omwezi ogw'ekkumi 14, 2011) yeeyali Omugabe wa Nkore oba Ankole era nga ye wa 27 mu lulyo lwa Bahinda wadde nga teyafuga ku Ankole.[1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ntare VI yazaalibwa nga John Patrick Barigye mu mwezi ogusooka ogwa 1940 eri Omugabe Charles Godfrey Gasyonga II ow'obugabe bwa Ankole / Nkore, mu Uganda ne Namasole Constance Ndyomwishiki. Barigye yatikkirwa ddiguli mu by'enfuna mu Yunivasite y'e Cambridge e Bungereza mu 1962 era ekyaddako kuba mubaka mu West Germany ne Vatican[2] . Idi Amin, eyali pulezidenti wa Uganda mu kiseera ekyo, yawa Barigye omulimu nga omubaka oluvannyuma lwa Barigye ne kitaawe okusaba Amin mu lujjudde obutazzaawo bugabe.

Yafa mu mwezi gwa kkumi ogw'omwaka 2011 ku myaka 71 n’asikizibwa mutabani we, Kabaka Charles Rwebishengye amanyiddwa ngo'mugabe mu kiseera kino.

Okutuuzibwa ku ntebe y’obugabe

[kyusa | kolera mu edit source]


Okutuuzibwa kwe ku ntebe kwaliwo nga 20 ogw'ekkumi n'ogumu ,1993 era oluvannyuma gavumenti ya NRM n’emusazaamu. Yeeyali omukulembeze ow'enonno eyasooka oluvannyuma lw'obukulembeze obw'enonno okuwerebwa mu 1967. Obugabe mu Ankole n'okutuusa kati tebunnazzibwawo, okwawukana ku bukulembeze obw'enonno obulala mu Uganda nga Toro, Buganda ne Bunyoro . Pulezidenti Museveni yennyini yasazaamu okutuuzibwa ku ntebe mu 1993, ng’agamba nti abantu b’Ankole baalina okusalawo.

Ebimukwatako ng'omuntu[3]

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga tannafa, John Patrick Barigye yali wakati mu musango gw'okwawukana ne mukyala we Denise Kwezi era maama w'abaana be abana . Omusango gwali mu maaaso g'omulamuzi wa kkooti esooka . Wabula , kkooti yali ewadde abaagalana bano amagezi okugonjoolera obutakkaanya wabweru wa kkooti okwewala okwanjala obuziina bwabwe mu lujjudde.

Mu mpaaba ye ku kkooti e Nakawa, Barigye yagamba nti yagezaakao enfunda nnyingi okuzzza obuggya essanyo ly'obufumbo naye naye mukyala we teyali mwetegefu era teyalina kwagala kuddamu bya bufumbo.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

1. Mubangizi, Michael (17 January 2010). "Barigye declared king of Ankole". The Observer. Retrieved 17 March 2011.

2. `Mwakikagile, Godfrey (2009). Uganda : the land and its people (1st ed.). Dar es Salaam, Tanzania: New Africa Press. p. 89. ISBN 978-9987-9308-9-0.

3. ANKOLE

  1. Mubangizi, Michael (17 January 2010). "Barigye declared king of Ankole". The Observer. Retrieved 17 March 2011.
  2. https://www.vatican.va/content/vatican/en.html
  3. https://afriendofankole.wordpress.com/2011/10/20/ntare-vi-of-ankole/