Jump to content

Nvubu Clan

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekibumbe kino ekika ky’e Nvubu n'omuziro ekisangibwa e Mengo, Kampala

Ekika kya Nvubu kyekimu ku bika ebingi mu Bwakabaka bwa Buganda obuliwo kati. [1] Kye kimu ku bika ebyajja mu Buganda ne Kintu. Nvubu linnya lya Luganda eritegeeza Envubu. Omukulu w’ekika ky’e Nvubu ye Kayita. [2]

Ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu, waaliwo omusawo w'ekinaansi eyakuŋŋaanya ng'emiddo egy’eddagala ekiro. Omusawo ono ow’omu kitundu erinnya lye yali ayitibwa Kayita. [3]

Buli Kabaka bwe yayitanga Kayita agendeyo gy'ali, yalabikanga mu lubiri ng'obudde tebunakya. Kino kyawaliriza Kabaka okumubuuza nti, " Gwe oli kayita kiro? " ekitegeeza nti "Oli mutambuze wa kiro?" Wano wano wewaava erinnya lya Kayita.

Omu ku batabani ba Kayita, Nkukunala yali mutuuze omututumufu mu Saza ly'e Busunju. Mutabani wa Nkukunala eyali ayitibwa Ssemuwooya yabuuza kitaawe ekika kyabwe kyekyali. Taata we n'addamu nti, "....ensolo ennene ebeera mu nnyanja naye ng'eriira ku lukalu." Awo era erinnya lya Ndiira we lyaggyibwa nga litegeeza ‘okuliisa oba okulya.’ Omubala gw'ekika nagwo gwajibwa mundowooza eno eyali egamba nti, "Mu nnyanja weddiramu ki? Nvubu, Nvubu, Nvubu." [3]

Omulimu gwabwe omukulu mu Bwakabaka bwa Buganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekika ky'e Nvubu kirina emirimu emikulu ebiri egyabalagirwa mu lubiri lwa Kabaka .

  • Okuwonya abalwadde/abalumiziddwa. Okusinziira ku byafaayo bya Buganda, kigambibwa nti buli abalwanyi ba Kabaka lwe baafuna ebisago, okugeza singa omulwanyi oyo yakubwa effumu mu kifuba, omusawo "Kayita" yasengula ekiwundu okuva mu kifuba okutuuka ku kigere n'atandika obujjanjabi okuva awo.
  • Okukoleeza emimuli gy’omu lubiri (ekitangaala ky’emuli) nadala okusinga mu kiseera kya Kabaka ng'ali ku ky'eggulo oba mu lukungaana n’abaami be. [4]

Abakulira ekika ky'Envubu

[kyusa | kolera mu edit source]

Bano be bakulu b’ekika abali wansi wa Kayita:

  • Kavubu ow’e Ntonnyeze, Busujju
  • Sserumaga ow’e Bwendero, Ssese
  • Nkambo ow’e Busaabala, Kyaddondo
  • Kasimaggwa ow’e Mbazi mu Kyaggwe
  • Kisongole ow’e Mbazi, Kyaggwe
  • Ggambira ow'e Masujju, Kyaggwe
  • Namugunde ow’e Mbazi mu Kyaggwe
  • Sebabi ow’e Mbazi mu Kyaggwe
  • Mbuge ow'e Mbazi, Kyaggwe
  • Sempuuwo owa Zzinga, Busiro
  • Jjita ow’e Matanga mu Busiro
  • Kibowa ow'e Ddamba, Kyaggwe
  • Mutwe ow’e Bugolo, Kyaggwe
  • Mawagajjo ow’e Bugolo, Kyaggwe
  • Ndobera ow'e Buuje (Koome), Kyaggwe
  • Walyato ow’e Kkerenge, Buvuma
  • Kikondo ow'e Bugolo, Kyaggwe
  • Sserufusa ow’e Buligo, Ssese
  • Kanaaba ow’e Mbazi, Kyaggwe [5]

Ebikwata ku kika

[kyusa | kolera mu edit source]
Ekika Ebikikwatako
Clan (Ekika) Nvubu
Totem (Akabiro) Njovu
Clan Head (Omutaka)
Kayita
Entebe y'Ekika (Obutaka) . Mbazi, Kyaggwe
Omubala (Omubala) Mu nnyanja weddiramu ki? Obudde bunzibiridde, Sula. Gabalama, gabalama,

gabalama, gabalama ennyanja.[6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Nvubu History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-07. Retrieved 2024-02-07.
  2. "Nvubu History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-07. Retrieved 2024-02-07.
  3. 1 2 "Nvubu History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-07. Retrieved 2024-02-07.
  4. "Nvubu History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-07. Retrieved 2024-02-07.
  5. "Nvubu History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-07. Retrieved 2024-02-07.
  6. "Nvubu History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-02-07. Retrieved 2024-02-07.