Jump to content

Nyaika owe Tooro

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rukirabasaija Kasunga Kyebambe Nyaika yali Omukama w’Obukama bwa Tooro, okuva mu 1862 okutuuka mu 1863, ne 1864 okutuuka mu 1874. Ye yali Omukama wa Tooro owokusatu (3rd).

Okutuuzibwa ku ntebe y'Obukama

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Rukirabasaija Kaboyo Omuhundwa Kasusunkwanzi Olimi I, Omukama ow’e Tooro eyasooka nga yafugira wakati wa 1830 ne 1861. Tewali kyogerwako ku nnyina. Yatta mukulu we Rukirabasaija Kazana Ruhaga, mu 1862, n’alinnya ku ntebe n’amaanyi.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Si bingi ebiwandiikiddwa ku bufumbo bw’Omukama Kyebambe Nyaika.

Abaana b'eyazaala

[kyusa | kolera mu edit source]

Omukama Nyaika kigambibwa nti yazaala abaana ab’obulenzi kkumi na bana (14) nga bwe bawandiikidddwa wansi:

  1. Rukirabasaija Nyaika Mukabirere Olimi II, Omukama ow’e Toro, eyafugira wakati wa 1874 ne 1876.
  2. Omubiito Mukarusa. Yajeemera muganda we Nyaika Olimi II n'awamba Busongora mu 1872. Yalangirirwa nga Omukama wansi w'erinnya lya Rukirabasaija Mukarusa Kyebambe II . Yawangulwa era n’attibwa mu 1875, ab'eggye ly’e Bunyoro eryali liduumirwa Omutaka Kikukele ow’e Bugangaizi.
  3. Rukirabasaija Isingoma Rukidi II, Omukama ow’e Toro, eyafugira mu 1875.
  4. Rukirabasaija Rubuubi Kyebambe II, Omukama ow’e Toro, eyafugira mu 1875 ne wakati wa 1877 ne 1879.
  5. Rukirabasaija Kakende Nyamuyonjo, Omukama ow’e Toro, eyafugira okuva mu 1875 okutuuka mu 1876 n’okuva mu 1879 okutuuka mu 1880.
  6. Rukirabasaija Katera, Omukama ow’e Toro, eyafugira wakati wa 1876 ne 1877.

7. Rukirabasaijja Daudi Kasagama Kyebambe lV

Obukulembeze bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawalirizibwa okudduka ng’Obukama bwa Toro bulumbiddwa eggye okuva e Buganda, nga liyambibwako Kato Rukidi I, eyayeekera kojja we (Nyaika), yawamba entebe y’obukama era ne yeerangirira nga Omukama. Oluvannyuma lw’emyezi mitono, Kato Rukidi I yagibwa mu ntebe nga kino ky'akolebwa abantu be yali afuga era Omukama Nyaika n’adda ku Ntebe.

Emyaka gye egy'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Omukama Nyaika yafa mu 1872.

Engeri Abakama gy'e bazze b'eddiringana:Omulundi ogwasooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Engeri Abakama gy'e bazze b'eddiringana:Omulundi ogw’okubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]