OBULAMU BW’OMWEGAYIRIZI

Bisangiddwa ku Wikipedia
Genda ku: Ndagiriro, kunoonya

• Katonda ateeka Omugugu ku bulamu bwo nga omugugu ogwo kye kigambo kye eri abantu be oba omuntu gwa ba akutumyeko okumwenenyerezaako oba okwegayirira ku lw’ekyetaago kyaba alina. [Mathew 11:29 ne 30] Mwetikke ekikoligo kyange…….vs30- Kubanga ekikoligo kyange ssi kizibu, N’OMUGUGU GWANGE MWANGU. Ekyo kye kigambo ekikujjira ne kikuteganya n’obulwa emirembe ppaka nga okoze kye kiragira. • Tokola kintu nga bwolowooza oba nga bwe kikolebwa bulijjo wabula okola ebintu nga Omwoyo Omutukuvu bwalungamya obulamu. Okukkiriza kwo kutekebwa mu kugezesebwa osobole okulinnya ku ddaala eriddako. Abantu abakwetoolodde balabira ku KUKKIRIZA kwolina nabo ne banywera mu Katonda. Nabwekityo kikugwanira okusaba essaala eno nti “Yesu Kristo okwagala kwo n’ebisuubizo byo bibeere okufumitiriza kw’omutima gwange bulijjo – Amiina.” Okwagala kwa Katonda kujja kkukozesa ebitakirizika mu maaso g’abantu. • Omwegayirizi tatekeddwa kukola mirimu gireeta sente nga abantu babulijjo n’abalokole gyebakola nga biziness ze midaala, oba mirimu gya w’office. Oli MWAWULE eri Katonda okukola emirimu gye so ssi ejiijo gyoyagala kubanga gino gitwala obudde bunji n’omala ebiseera nga omutima gwo gutegana mu bintu ebitagasa. Ffe abegayirizi bwetuzukuka tunaaba olumala nga tukwata EKTABO EKITUKUVU nga tusoma nyiriri era nga bwe tusaba nokwegayirira. Oyera oluggya, ofumba emmere, ogenda mu katale okugula ebintu naye tewenyigira mu mirimu egikukooya, tewenyigira mu mirimu egikumalira ebiseera negitwala obwongo bwo n’endowooza yo. • Omwoyo wo alina kubeera mu Katonda essawa zonna ez’olunaku. Tolina kulaba oba kuwulira bintu oba mboozi ezijja omwoyo mu kuberawo kwa Mukama Katonda. Nyweza Omwoyo Omutukuvu ku lusegere lwo obe ng’owuliza ekigambo kye. Jjukira nti ne Sitaani asobola okwefuula Malaika ow’ekitangala nakuletera ekigambo ekyefananyiriza okuva ewa Katonda songa bulimba. • Ebiseera ebisinga Omwegayirizi yesanga nga yetoloddwa abantu abali mu bwetaavu okugeza; abalwadde, abalema, abakadde ba jjajja. Amafuta golina ku bulamu bwo n’omutima Katonda gwa kuwadde bisikiriza abantu be kikula kino mu bulamu bwo kubanga y’entekateeka ya Katonda eri obulamu bwo okuwereza abantu be. • Omwegayirizi akolerawo ekigambo ekiba kimutumiddwa Katonda. Nga Yeremiya bwayogera nti ekigambo kya Katonda muliro, kimwokya mu ndaye tasobola ku kyebeera wabula okukifulumya. Towa bbanga Sitaani ayinza okukikubbako oba n’akugamba nti tokikola kati ogira olindako…….hhhmm ow’oluganda tokiwa ndowooza yakubiri, buuza Omwoyo Omutukuvu engeri gy’oba okola ekigambo kya Katonda naye anakuyamba. • Entalo ez’omwoyo kitundu ku bulamu bw’omwegayirizi. Omwegayirizi alina okumanya entalo abantu ze balwaana. Olina okumanya EKITAMBO kye ki, EKIKOLIMO kye ki, OBULOGO bwe buki? Kubanga bino biri ku bantu Katonda bayagala oyambe. • Abantu babulijjo balaba abegayirizi nga abasazi be misango, abakambwe, abatagumikiriza, abamalala mbu bamanyi nnyo naye ekyo kyoli mu Katonda. Tokola era teweyisa nga ensi bweyagala. Tewetowaza eri omwana w’omuntu wabula wetoowaze eri ekigambo kya Katonda. • Okusiiba kitundu kubulamu bw’omwegayirizi. Mu kusiiba mwetufuna amaanyi, amafuta, ekisa okukola ebyo Katonda bya tutuma okukola. Obulamu bwo bujjuze okusiiba okuva January ppaka December oba mu wiiki siiba ennaku ttaano oba mukaaga okusinziira nga Omwoyo Omutukuvu bwakulungumya. Okusiiba kukuletera okugenda ebuziba ne Katonda n’okufuna amaanyi okukuwanguza entalo z’olwana. Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 okutegeera EBIRABO BY’OMWEGAYIRIZI Abalala basomye Ekitambo,EKIKOLIMO,OBULOGOnebabitegeera.