OKUBUULILILA

Bisangiddwa ku Wikipedia

EBISOOKA


We mpandiikidde ebilowoozo bino nga ensi yettanila kugaggawala, kwogiwala mu bwongo, kufuga, wamu ne ebyamasanyu okukila ebyobwakatonda, ebyempisa ne ebyennono ebigasa obunnabantu. Ebintu ebina bye nsoose okubamenyera, abantu aba omulembe guno abasinga obungi babitunuulilila mu kkowe lya kusiŋŋana. Olwo abo ababilina ne baba ku ludda lwabwe ne abo abatabilina nabo ne baba ku ludda lwabwe. Byo ebibili bye mbamenyedde oluvannyuma, abantu abasinga obungi babitunuulila nga ebitagasa oba ebyobwewussa, ebya wansi ela ebitagya mu mulembe gwabwe ela nga bibabuzaako bubuza milembe.


Embeela eno nga bwe mulaba tevaamu kalungi konna wabula okutabulatabula omulaala mu bantu, olwo abali ‘obulungi’ ne baba nga balina kunyigiliza bali ela nga tebabeesembeleza olwa okutaasa ‘obulungi’ bwabwe. Ne bali ‘abali obubi’ batunuulila abali obulungi nga babeegomba olwa okuba ‘obulungi’ kyokka nga baayita mu kubaggyako byabwe. Ekyoyooyo kino kye kiviiliddeko abantu okulowoozanga nti balina kuyita mu kunyaga, kubba, kutiisatiisa na kutta okutuuka ku mbeela ya obulungi buli omu bwe yeegomba.


Nze ndowooza nti kino kya nnaku, kubanga entabwe eva ku kuba nga ensonga ezo zitabuddwatabuddwa mu ngeli etategeelekeka. Ekyadibadde ekituufu kwe kusooka okutegeela bye twetaaga lwaki tubyetaaga, ate ela bitabagana bitya ne obunnabantu, ne obwakatonda ne embeela zaffe.


Ensonga zino mu mazima amatuufu zitabagana bulungi nnyo. Tetusobola kwawula bugagga ku bwakatonda kubanga Katonda ye Ssegaali asingayo. Musaanye mujjukile nti ate ku bintu bye twafuna obufunyi okuva gyali nga tuyita mu bugabilizi bwe kwe tusinziila okubaako ne ke tulina ela nga kwe tusinziila okugabilagana mu bwetaavu bwaffe obwa engeli zonna ne okuwanilila obunnabantu.


Ebyobufuzi ne Katonda ne obunnabantu bye bimu ddala, kubanga bigendeleddwamu kukulembela bantu kubatuusa ku kwesiima ate mu ngeli eya essanyu.


Ebyokwesanyusa nabyo tebyawulwa ku bwakatonda kubanga Katonda yennyini ensi yamusanyusa, ela bwe atyo yagituwa tugilye, tugisanyukilemu nga bwe tulisanyuka mu bulamu obutaggwaawo.


Awo nno ebbuyaga elituyuuza liva ku butamanya kwawula ate ne tutaba buto ebintu ebyo oba ensonga ezo. Tewali ayagala kuba mwavu kuba ela ne omwavu tewali amwagala. Amagezi ge tunoonya gandituyambyenga kutuuka ku bugagga obwa ensibo sso ne butatwawulayawula mu bubinjabinja obutatugasa.

Nze ndowooza nti singa ekyo kye tukola twandituuse ku kisumuluzo ekiggulawo enkuluze ya obuwanguzi ku ebyo bye twettanila ne abantu bonna bye beetaaga.


AWO NNO:

Baana bange mwetaagila ddala empangi ennyweevu kwe munaayima okuggumiza akasolya. Obulamu bwa ensi bulimu ebbuyaga elya amaanyi ennyo ela nga lyakunse liti lisigula buli kintu kyonna ekitali kinywevu, ekilamu ne ekitali. Kale nno kye nva mbasaba okweteekelateekela obulungi obunaabasobozesa okwaŋŋanga ebbuyaga elyo lileme kubasaanyaawo, wabula mube empangi ya essuubi ne obuwanguzi bwammwe ate ne obwa abantu abalala ababeebunguludde.

Munaayinza mutya okutuuka ku ekyo?


1. Mwettanilenga Okubuulililwa!

Musaana mujjukilenga engelo zino ezaagunjibwawo bajjajjaffe be tutaasobola kulaba nako kabekasinge ne obutabawulilako, sinakindi ne obutabeefumiitilizaako. Naye bwe mwetegeleza ennyo mujja kuzuulamu obumanyilivu ne obugezi obwa ekikugu ennyo mu zo. a) Amagezi tegaba ga omu,----------------------- b) Omuweesi ekyamuzimba ku kkubo kulagililwa, ne c) Kayemba nnantabuulililwa alisaabala bwa bbumba …

Kye mpise okubuulililwa, si kilala, wabula okuweebwa amagezi agabatuusa ku butuukilivu. Nkakasiza ddala nti omuntu yenna atuukilidde ye oyo asobola okusongwako olunwe, abantu bonna nga bamweyunila olwa okubajuna nga mpozzi Yezu Kristo bwe ali eli abantu bonna. Wadde okubuulililwa kwonna si kubayamba kutuuka ku butuukilivu, naye ela kwonna mukuwulilize. Oluvannyuma mwefunile akaseela akeekusifu mwefumiitilize ku kubuulililwa okwo nga mukkiliza ekyo ekikola ekinyusi kya obwomuntu bwammwe ela entabilo ya emmeeme zammwe okubalambululila ekyo kye musaanidde okukola. Obulamuzi obukolebwa mu ngeli nga eyo bwe bunaabayamba okukenenula mu kubuulililwa kwonna ne mutuuka ku okwo okusingayo omugaso.




2. Mwettanilenga Obumanya!


Baana bange obumanya buva mu bumanyi ne okumanya. Lino lye kkula lya obutegeezi ne obugezi. Obumanya bwebunguluddwa ebintu bingi ebiyinza okububuutikila ela ne busaanyizibwawo ela nga ne ebimu ku byo bwe bumanyi ne obugezi ebintu ate ebya ensibo mu bumanya. Obumanya buva mu kwefumitiliza ku ebyo bye mumanyi ela bye mutegeela obulungi olwo ne bubatusa ku bye mufaanana obutamanya ne bye mutategeela bulungi, nabyo ne bibatangaalila ddala bulungi mu ngeli ya bakalimagezi. Obumanya obwo bwe bujja okubayamba okukenga ebbuyaga elyandisobodde okubakkulubbya ne libaggya ku butuukilivu bwammwe nga libazza eli obuzikilivu. Awo nno mwettanilenga nnyo engeli zonna ezinaabasobozesanga okutuuka ku bumanya obwa engeli yonna.


3. Mwettanilenga Obulungi bwa Abatonde!


Baana bange omukisa gwammwe gwonna gubali mu batonde, ŋŋamba abo Katonda be yatonda. Abatonde abo balimu obulungi bwa Katonda, obulungi obujjudde. Obulungi obwo bwe bufaabiinyisa abantu bonna okuba mu ssanyu ne emilembe egya nnamaddala nga bali wamu ne bannaabwe. Tewali ssanyu lilibaviila mu kwebengula ku bunnabantu oba okukontana ne obunnabantu. Oba nga omuntu omu ati wa mugaso nnyo gye oli ate alabisa abantu bonna abali mu nsi eno! Mwefanaanyilize nga buli muntu omu yenkanankana omukisa gwo gumu, olwo olina emikisa emeka mu nsi?

Obulungi nno buzuulibwa mu kutakabanila mikisa gyonna egyo. Baana bange gye munaakomanga okutakabanila obulungi bwa abatonde ba Katonda gye mulikoma ne okutuuka ku bulungi bwammwe.

Ebintu ebigwawo mu bulamu nga tuli ne bannaffe si bye bisaanidde okubawugula ne okubawabya. Wabula ne bwe binaagwangawo, amaaso gammwe mugasimbe ku ekyo ekilungi Katonda kye yassa mu bantu abo, ela ku ekyo kwe muba musinziilanga okutuuka ku bulungi.



4. Mwettanilenga Obutukuvu!


Baana bange ekintu ekitukula konna kiba kiwewufu ku bwakyo kyennyini. Kino kitegeeza nti obuzito obwandikibaddeko nga buva ku bucaafu tebubaawo kubanga obucaafu obwo tebukibaako. Nammwe nno bwe mutyo. Obuzito obukembya abantu tebuva walala wabula ku kukabililwa mu mutima olwa obukyayi bwe baba nabwo eli bantu bannaabwe. Obukyafu bwembeleddwa enge, ettima, effutwa, omululu, olwetumbu, okwemanya, obwenzi, obugwenyufu, obutamiivu, obutemu, ne okuwoolera eggwanga…

Abakola ebintu ebyo baba bagendelela kwewonya bizibu; bo bwe balowooza. Baana bange nze mbagamba nti mutyo si bwe mukolanga. Kubanga ekiva mu bikolwa nga ebyo, kuzitoowelelwa, kulemelelwa ne okusaanawo oba okuzikilila nga mpozzi bwe olaba ekintu ekijjudde obukyafu bwe kizikilizibwa kyonna.


5. Mwettanilenga Obuteefu!


Baana bange, kino nno mukitegeele bulungi! Obuteefu tekitegeeza bubondeevu, butiitiizi, busilifu oba buteeyanila. Obuteefu bugelelwa ku bunywevu (bugumu), buzila, bumalilivu, kuba na ddoboozi ne obwelwanilizi; wabula nga ate ebintu ebyo wadde obilina ela we wandyeyambisilizza, weeyamba bukkakkamu, obukkaanya, obuteesa ne obwesimbu okutuuka ku kye oluubilila ela awatali kukifiilwa.

Baana bange, ffenna kye tufaabiinila bwe buwanguzi ate obuwanguzi obwannamaddala. Obuwanguzi obutafunilwa mu buteefu bukontanila ddala ne obuwanguzi bwe tuba tutuuseeko oba bwe tuluubilila okutuukako, ela ne ekiva mu kyo kwe kufiilwa obufiilwa, oba ne tuwangulwa mu kifo kya okuwangula. Obuwanguzi obujja olwa obuteefu tewali amanyi muwendo gwabwo we gwenkana bunene ela nga bubeerldde ennaku zonna.


6. Mwettanilenga Obuzila!

Baana bange, obuzila kwe kuba omulwanyi nnamige owa ekyo ekikila obwegombesa. Omuzila si ye oyo amalila amaanyi ge ne emmeeme ye ku kulwana obulwanyi ne emikono gye ela ne azikiliza buli kintu, naye ye oyo alwanyisa obulabe ne abusaanyaawo sso ate ne ayamba abalabe be okulaba amazima ne bagasiima ela nabo ne bageeyagalilamu. Obuzila nno, tebukoma ku kusaanyaawo busaanya bulabe, wabula buzingilamu ne okutakabanila obulungi obubadde buzindiddwa sinakindi obubadde busaanyzibbwaawo obulabe, olwo ne buzzibwawo ela ne bukuumibwa butilibili.

Obuzila bwammwe buleme nno kuba mu kusaanyaawo bantu oba ebintu, wabula okuwanilila abantu bonna ne obunnabantu. Obuzila bujja kubeetaagisa okugumila okutulugunyizibwa kwonna okwa omu mutima, mu mmeeme ne mu mubili, sinakindi mutuusibweko ne ebisago. Ebyo byonna bisobola okubaawo, ne mulabila ddala nga muli nga abagenda okuzikilila. Omuzila asigala nga mumalilivu ela nga alina essuubi elitagooka nti ajja kuwangula. Ekyo bwe kibalema, ne mumala mukkiliza empagi eyo ebalimu okuwangulwa, olwo endowooza yammwe eliba esiguukuluddwa ela nga mupondoose. Mukubeemu ekifaananyi nga mulinnyiddwa ku nfeete ela nga mwesengeleza omulabe wammwe!!

Obuzila bwammwe bubali mu mulowooza, mu ekyo kye mukkiliza, ne mu kumalilila okukituukako. Ekyo kye mukkililizaamu kiteekwa kuba kituufu ate nga kitukuvu ela nga kye kivaamu essanyu lya bonna. Oyo yenna atakola ekyo, aba mutiitiizi, taba muzila.

Mmwe temubanga batiitiizi, mubanga bazila!


7. Mwettanilenga Obuteekuluntaza!

Baana bange, mwewalanga nnyo okwewanika ku muntu yenna. Wano nno muntegeelele ddala bulungi: omuntu yenna, ye buli mutonde yenna.

Omuze gwa obutassa kitiibwa mu bantu, gwe guvaako okusosola mu bantu, olwo abantu ne bapimilwa ku ngelezo ne abalala ne bassibwa ku milengo. Abo abakikola baabuwe bafaanana okwepankila ku bantu bo be balowooza nti ba wansi okubasinga ate ne beelyanyiza ku be balowooza nti ba waggulu. Baana bange, tewali kibala kyonna kitayima ku ttaka kubala sso ate ne ebimu bibalila mu ttaka. Kya busilu bugwagwa okwelyanyiza ku bibala bye olaba nga binyilittukila eyo waggulu ela nga byepankila ku ttaka okuli emilandila, enkolo ne enduli ebiwanilidde amatabi okuli amasanso, amakoola ne ebibala bili. Okwo kuba kufukilila lunnyo ku nkolo…

Baana bange, ekitiibwa kye munassanga mu bantu abo, bwe bugimu bwe munaafukililanga ku nkolo ewanilidde ebibala bye munaanoganga ennaku zonna. Buli omu ku mmwe asaana amanye nti buli muntu ali ku nsi kuno ateekwa okubaako ne kye amusinza. Sso ate ela ne ekyo kye olowooza nti okimusinza, obusobozi obwo tebuba bubwo, buba bwesigamiziddwa ku balala. Musaana mukimanye nti abantu abo bonna Katonda be yatonda obeele nabo buli omu alimu emikisa gyo egya obuwanguzi gye atelese egisukka ku gumu.

Baana bange, ekitiibwa mukiweelanga bweleele. Gye mulikoma okukiwa abantu, nabo gye balikoma okukibawa; olwo ne muva mu kuweebwa ekitiibwa ne mutuuka ku Beekitiibwa ne okuba abeekitiibwa. Nga mutuuse ku ssa elyo, obwekitiibwa bwammwe mubutuusize ddala ku buli muntu nga buli muntu yenna mumuwa ekitiibwa. 8. Mwettanilenga Okukolela Awamu!

Baana bange mmujjukilenga lunye olugelo oluganda olugamba nti “Agali awamu ge galuma ennyama” ne “ Ekyalo ddiba lya mbogo telizingwa omu.” Ekinyusi ekili mu ngelo zombi, kwe kuba nti buli muntu ali ku nsi kitundu ekikola omuntu omujjuvu nga mpozzi bwe olaba ebitundu bya omubiri gwa omuntu ne ebintu ebitalabika bwe bijjuuliliza omuntu yenna omujjuvu. Singa ekimu ku bintu ebyo kyesuulilayo gwa nnaggamba twandibadde tetulina kye twetuusa. Mwefaanaanyilize obukuyege engeli gye buzimbamu esswa eddene. Okutuuka ku kwezimbila ekisulo bukolela wamu ela obunnawamu obwo bwe bubusobozesa.

Ggwe omuntu nga omuntu osobola bulungi nnyo okulemelelwa singa toba na bunnawamu obwo oba okuwangula singa oba nabwo mu ggwe. Obunnawamu mu mmwe bujjawo ggwe nga ssekinnoomu okkiliza okutabaganya obulungi omutima gwo, emmeeme yo, enkenzo zo, obwongo bwo, ebitundu bya omubili gwo byonna, ela byonna awamu ne bikola kyenkanyi mu kwewaayo okwa ekitalo ekyo ekisaanidde okukola mu kiseela ekyo olwa okukujuna oba okukuwanguza.

Mu ngeri ye emu ne obunnawamu bwo naddala ne baganda bo ne bannyoko ko ne abantu abalala bukulu nnyo mu buwanguzi bwammwe. Singa buli omu ku mmwe akola kyenkanyi mu kwewaayo ne okwagala okutaliiko kkomo, olwo muliba muzudde ekkula abantu abalala osanga lye baali bazudde mmwe lye mutazuulanga oba lye batazuulanga kyokka mmwe nga mulizudde. Okuzuula ekkula elyo kye kileetawo enjawulo mu nkulaakulana ya abantu. Tewali buwanguzi bwonna bwali butuukibbwaako awatali kukolela wamu.

Okusobola okukolela awamu muteekwa okuba abenkanya mu nnamula yammwe. Obwenkanya buleme kupimilwa ku kyenkanyi mu kintu ekimu, naye ku kyenkanyi ekiva eli obusobozi ne obuvunaanyizibwa bwa buli omu ku mmwe.

Baana bange, kyangu nnyo okwelimba nti mukolela wamu kasita muba nga temulina bwenkanya mu mmwe ko ne ekluubililwa ekimu. Buli omu ku mmwe lwe ayawula obwenkanya bwa ekiluubililwa kye ku ky abalala, olwo obunnawamu nga buziŋŋamye. Ekyo nno kye kiviiliddeko ebitongole ebingi okugwa ne ebibiina bya abantu okulemelelwa sinakindi ne okusaanawo.

Baana bange, obuwanguzi obuva ku bunnawamu tebuleetebwawo kintu kilala wabula ebyo bye mbamenyedde.





9. Mwettanilenga Obwesigwa!


Baana bange, ensi nyingi ezikulaakulanye, ebitongole nabyo bwe bityo, sso ne abantu abatonotono ne bassekinnoomu bwe batyo bakulaakulanye ela ne batuuka ku ddaala elyegombesa. Wabula ne ensi nnyingi, ebitongole ela ne abantu balemeddwa okutuuka ku nkulaakulana lwa kubulwa ela lwa butaba na bwesigwa. Obwesigwa kye kilabo ekikubaamu ggwe nga omuntu nga tekiwaanyisibwa. Ku bwesigwa abantu kwe basinziila okukubaamu ne obwesige, ela bwe batyo ne baba nga ggwe gwe beesiga okukutelesa ebyama byabwe, ela ebinu ebikulu ennyo eli obulamu bwabwe, ela ne ebyobugagga byabwe.


Obwesigwa nsulo ya bugagga, nsulo ya milembe, ela nsulo ya ssanyu. Essanyu lye ofuna teliba lya nkiso, wabula liba lya buli omu. Obwesigwa nsulo ya butebenkevu, kubanga abantu abakwesiga be bannannyini kutakabanila milembe gyo ne obutebenkevu bwo, anti kuba baba bayaayaanila ekkula lyabwe obutatuusibwako kabi konna. Olwa okuba nga oli mwesigwa, abantu banaakweyunilanga olwa okubayambanga, olwa obwesige bwe bakulinamu. Ettutumu lyo bwe lityo linaatendwanga abantu aba buli mulembe, kubanga ggwe onoobanga owanlridde obugagga bwabwe, essanyu lyabwe, ate ne obwesige bwabwe. Abantu bangi nnyo mu nsi abeetaaga be bayinza okwesiga kyokka batono ddala, ate ela nga bakyeyongela okukendeelerl ddala. Ne ensi ne ebitongole ebimanyifu, bwe bityo bwe bikoze. Olwa empeeleza yaabyo ejjuddemu obwesigwa, abantu bettanila okussa obulamu bwabwe mu bitongoe ne ensi ezo, ela ne okussaawo ebyobugagga byabwe.

Omuntu oba ekitongole oba ensi okuba ne obwesigwa, aba amanyi bulungi kye ali, ekyo kye asobola okuweeleza ate nga ateebeleza bulungi kiki kye asobola okubeela. Obumanye obuli awo bwe bukuyamba obutayuugana, ne okola kye okola ne omutima gumu, kyokka nga tosuubila mpeela wadde okusiimibwa. Wabula ekya essanyu, ate ebintu ebyo bijja bigobelela ekyo kye oli ela bwe otyo ne obifuna.



10. Mwettanilenga Obuteesa!


Baana bange teli kilabo kya bantu babili ne okusukkawo kikila kuteesa. Tewali nsonga yonna eliyinza kubalemelela singa muba ne okuteesa nga engabo yammwe. Temwetantalanga okwemalila ensonga zammwe nga mweyawudde ela nga temukkaanyizza! Mufubanga okweddiza ensa yammwe eya obwenda ya nnakalaama ne mudda ku mmeeza emu ne muteesa, musalewo ku nsonga yonna eba ebakaluubilidde. Okusunguwala ne okunyiiga olwa kino na kili bya bwamuntu ela bibaawo mu bulamu bwaffe abantu. Wadde embeela eyo emaze ne ebaawo, temugiganyanga kubabuutikila, mwewanga akadde ne mukkakkana, ettumbiikano ne limala okukka ne mudda mu nteeko musobole okuteesa. Ebyo byonna bazadde bammwe bye baakola ku lwammwe baabibategekela mu buteesa ela nga baagala mubeele mu milembe. Muteesanga nga mwagala okubiganyulwamu. Obuteesa bwe bukuumidde ensi eno mu mbeela eya emilembe. Singa si buteesa twandibadde mu ntalo ezitaggwa ela ne abantu tetwandibaddengamu mutima gwa milembe. Awo nno nga mwagala emilembe gibukale mu mmwe, muteesenga buteesa! Mujjukilenga lunye nti okwagala kuva mu kuteesa, ela ne ebilungi byonna biva mu kuteesa.

Mu kuteesa mwe muva obuwanguzi obwa nnamaddala, kubanga enjuyi zombi eziba zitakkaanya ziwangula. Mu kuteesa mwe muva obuwangaazi, kubanga mu mmwe munaasibukangamu emilembe ne mubeelanga ne essanyu elinaabataasanga ku bilwadde bya olukonvuba ebitwala abantu e kaganga. Mu buteesa mwe munaggyanga obunywevu nga olwazi. Mujjukilenga okuddangako mu kyama ne mwegeyaamu nga wabaddewo obwetaavu bwonna. Okwegeyaamu okwo kwe kubazuulila obuteesa ne mutuuka ku kulamula mu bwenkanya ekyo kye mwetaaga.

Mwekakenga okuteesa, kubanga ye nsulo ya obuwanguzi bwammwe obwa nnamaddala.

NZE KITAMMWE ABAAGALILA DDALA,

KIRIGGWAJJO ANATOLE JESERO LUGO.