Jump to content

OKUYONSA

Bisangiddwa ku Wikipedia
Breastfeeding

OKUYONSA Okuyonsa kwekuliisa omwana omuto oba omuwere nga omuwa amata agava mu mabeere g’omukyala. Omwana atandika okuyonka okuviira ddala ku ssaawa ye esooka era nga abakugu mu by’obulamu bategeeza nti kisaanye omwana n’ava yekka ku mabeere. Mu nnaku omusanvu ezisooka ez’omwana, omwana ayonsebwa buli luvannyuma lw’essaawa bbiri oba ssatu ng’amala eddakiika kkumi ku kkumi nataano (10 – 15) ku buli bbeere. Ositula otya omwana n’omuyonsa Obukodyo bungi maama bw’asobola okweyambisa okwewala okuzimba ennywanto z’amabeere ge n’okuyamba omwana okufuna amata ge yeetaaga. • Omwana bw’agaana okubikkula akamwa, osobola okunyonyogera amatama ge n’engalo zo n’obwegendereza obutamulumya ppaka ng’akamwa ke keebikudde awo n’osembeza mangu enywanto y’ebbeere ku bumwabwe. • Owanirira omutwe gw’omwana nga enkoona etudde mu nnyingo y’omukono gwo olwo nga omwana omwebasizza bukiika okudda ku ludda lw’ebbere ly’agenda okuyonka (cross-body hold) • Amagulu g’omwana ogeebasa kumpi n’omubiri gwo nga omutwe gw’omwana gukutunuddemu buwanvuyirivu (football hold) • Osobola okusalawo okugalamira ku mugongo gwo olwo omwana n’omwebasa waggulu w’olubuto lwo nga asobola okutuuka ebbeere (supine position) • Oba okwebakira kumbiriizizo n’omwana n’omwebasa nga akutunuddemu. Lwaki wetaaga okuyonsa? Singa ba maama beeyunira okuyonsa abaana baabwe, omuwendo gw’abaana abafiira wansi w’emyaka etaano gusobola okukendeera. Okuyonsa kuziyiza endwadde ez’enjawulo mu baana abato okugeza: okuddukana n’endwadde z’omu lubuto endala, kuziyiza Asima oba okuziyira, Lukemia, endwadde ezikugaana okulya ebika by’emmere emu (food allergies) n’endala. Okuyonsa kukendeeza ku mikisa gy’omukyala okufuna ebizimba by’omumabeere (breast cancer), kukendeeza ku buzito bw’omukyala, kuziyiza n’okuyiwa omusaayi omungi, kuyamba omukyala obutaddamu mangu kugenda mu nsonga n’ebirala bingi.