OMWEGAYIRIZI BYATEKEDDWA OKUKOLA

Bisangiddwa ku Wikipedia
Genda ku: Ndagiriro, kunoonya

1. Okuzukuka ekiro okusaba mu kwenenya n’okwegayirira. Omwoyo Omutukuvu wali okukuzukusanga ekiro okusaba oba ssawa munaana oba mwenda, zonna essawa zoba osazewo osabire mwebyo byaba akulungamizza mu birooto. 2. Twala essawa nga bbiri oba ku ssatu emisana nga osaba. Kozesa obudde obuwerako nga oli mu maaso ga Katonda kuba tewali kikupapya osinze, otendereze, wenenye, wegayirire, olwane entalo, ate olangirire n’omukisa ku nsonga ezo z’osabidde. 3. Manya akaseera mw’osabira . Bwe wabeerawo ebikukutte nga biyingidde mu budde bw’olina okusabiramu nkwegayirdde bisazemu oba tobikolera ddala bwomanya nti binayingira mu budde bwo obw’okusaba. Bikole oluvannyuma lw’okusaba. Era ogenda okuwulira mu ddoboozi ly’Omwoyo Omutukuvu ettono nga likujjukiza nti kano ke kaseera akalagane akokusabiramu ke twatesaako. 4. Goberera omugugu gwo Katonda gwaba akutaddeko ogusabiremu. Mu kusaba kwo, sabira ebyo Katonda byakutadde ku mutima. Waliwo nebyo ebirabwako omuntu w’abulijjo nga byetagisa okusabirako obisabireko naye ekyo okikola nga omaze kusabira guli Omugugu Katonda gwa kutaddeko. 5. Buli kaseera sabira mu mwoyo. Tomala gasaba olw’okuba nti olina okusaba. Kowoola Omwoyo Omutukuvu musabe mwenna,. Kiriza Omwoyo asabire mu ggwe era ayogerere mu ggwe. Abamu abegayirizi balina olulimi olw’omwoyo lwe basabiramu. NOTE; Omwegayirizi teyeraga mu kkanisa oba buli wantu. Ffe abegayirizi tuli magye agatalabika agakola wamu ne Katonda. Omwegayirizi musirise, yekuuma ekigambo ekimuwereddwa Katonda era teyetaba mu ngambo z’okumizigo oba mu butale. Teyegabangula eri buli muntu ku buli nsonga. Omwegayirizi alina okuba omukalaba kalaba nga alina eriiso egyogi n’okutu kwe nga kuwuliriza bulungi. Omwegayirizi yasooka mu kkanisa okusaba mu kwenenya n’okwegayirira eri Katonda ku lw’abantu abajja okusaba oba ekkanisa, ku lw’eggwanga lyaffe Uganda, ku lw’ekitundu ekyo ekkanisa mwesangibwa ne kulwa buli muntu ssekinoomu amuli ku mutima mu kaseera ako mwasabira. Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 oyongere okwezuula mu kuyitibwako nga Omwegayirizi. Abalala basomye Ekitambo,EKIKOLIMO,OBULOGOnebabitegeera.