OTANDIKA BIZINENSI ENTONOTONO

Bisangiddwa ku Wikipedia

EMITENDERA 8 GY’OBA OGOBERERA NG’OTANDIKA BIZINENSI ENTONOTONO NTANDIKA ntya bizinensi entono? Okutandika biziness ky’ekimu ku bintu ebizibu kyokka okusalawo okusanyusa okukola mu bulamu. Waliwo ebintu bingi ebyetaagisa n’okulowoozaako. Okutandika bizinensi kitwala omuntu okubeera omuguminkiriza n’okwewaayo mu bingi. Bizinensi entono okusobola okuyimuka, okubeera ng’eriko ekizibu kyegonjoola, okumatiza obwetaavu oba okuleeta ku katale ebintu ebyetaagibwa. Kino olina okukikola oluvanyuma lw’okunoonyereza n’okwebuuza. Waliwo n’ebibuuzo ebirala by’olina okweddamu, okugeza byenjagala okukola ani abyetaaga, waliwo abantu abalala ababitunda, okuvuganya kuli kutya? N’ebirala bingi. EMITENDERA GY’OBA OGOBERERA o Ggula obwongo: Funa ekirowoozo ekitandika bizinensi. Wadde nga tosoose kutunuulira nsimbi, ekifo, akatale n’ebirala, ekirowoozo kye kirina okusooka n’ofuna n’engeri gye kiteekebwa mu nkola. o Sooka okole okunoonyereza: Oluvannyuma lw’ekufuna ekirowoozo, weebuuze nti otuuse okukiteeka mu nkola? Weepimeepime olabe obwetegefu bwo butuuse wa? Funa okuwabulwa okwenjawulo olabe nga kikola, bwekiba tekikola olabe ng’okola ekirala. o Kola pulaani: Olina okubeera ne pulaani eneekusobozesa okutuukiriza bizinensi yo ey’ekirooto. Bw’obeera onoofuna obuyambi bw’ensimbi okuva mu bitongole nga bbanka, bamusigansimbi, weetaga pulaani ennambulukufu eggyayo byonna by’otegeka okukola. Era olina okulaga ebigendererwa byo, ekiri emabega waakyo, engeri gyogenda okutundamu bizinensi n’ensimbi gye zigenda okuva. o Balirira eby’ensimbi: Okutandika bizinensi entono, tekyetagisa nsimmbi nnyingi kyokka kijja kwetagisa ez’entandikwa. Waliwo engeri eziwerako mw’oyinza okuyita okusiga ensimbi ze weeterekera, looni n’endala z’onoonyeza mu makubo amalala. o Funa era owandiise erinnya lya bizinensi gy’ogenda okukola: Erinnya likola kinene okutambuza bizinensi. Londa eryo eddungi. Bw’omaliriza olina okugenda ew’omuwandiisi wa kkampuni. Bwe mubeera babiri, laba nga mulinaempapula zonna ezeetaagisa. o Funa layisinsi ne pamiti: Bino biri kitundu mu kutandika bizinensi kyokka ng’ozifuna okusiinzira ku kika kya bizinensi gy’ogenga okukola ne wa gy’esangibwa. N’olwekyo olina okusooka okunoonyereza layisinsi ne pamiti ki ezigya mu bizinensi gy’oyagala okutandika. o Olina okubeera n’ekifo w’egenda okubeera: kuba kikulu bizinensi okubeera n’ekifo weesangibwa. Woofisi yo osobola okubeera awaka, eengabane awantu, edduuka n’ebirala. Naye olina okukimanya nti w’oteeka bizinensi wakola kinene mu kukufunira amagoba ogitambuza. Olina okulowooza ku byonna ebineetagisa okubeezaawo eno era laba ng’ekifo kino kiyamba okutwala bizinensi gy’okola mu maaso. o Olina okutumbula bizinensi eno okuyita mu bintu ebisikiriza bakasitoma. Olina okubeera ne ssaayansi bakitunzi gwe bakozesa okunoonya abaguzi. Mu ngere y’emu osobola okusalawo amakubo mw’ogenda okuyita okumanyisa bizinensi yo eri abantu. Bino byonna bw’omaliriza, bizinensi egenda kutumbula.