Obufo,Obusangiro, Obwolekero (Position, Location, and Direction)
Endabika
Okusinziira ku Muwanga Charles, obufo(Position), obusangiro(Location) , n'obwolekero (direction) miramwa girinaaniganye nnyo mu makulu naye ate mu nsi eya sayansi oba ka tugambe nti mu Luganda olubalanguzi(mathematical Luganda) girina amakulu ga njawulo:
(i) Obusangiro (location)
(ii)Obufo= obusangiro bw'ekifo (position)
(iii) Obwolekero (Direction)
Oluganda we lutuuse omuntu ajja kuba yetaaga okusoma ennyo okwawula buli kintu ku kilara ne bwe biba bifaanagana nnyo. Tewakyaali bigambo bibiri birina makulu ge gamu kukimu ku kikumi.