Jump to content

Obukwafu n'Obukwafuwavu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Obukwafuwavu (Density) kipimo ekigerageranya obungi oba omugerageranyo gw’enzitoyo eri mu kintu ne volima yakyo. Ekintu ekirina enzitoyo ennyingi mu volima engere kiba n’obukwafuwavu bungi. Ekintu ekirina enzitoyo entono mu volima y’emu kiba n’obukwafufuwavu butono.

Tempulikya erina ky’ekyusa ku bukwatufuwavu bw’ekintu. Tempulikya y’ekintu bw’erinnya, obukwafuwavu nga bukka kubanga atomu ziba mu mugendo okwetoloola volima yonna ne kiba nti wabaawo enzitoyo ntono mu kifo ekimu.

Kyokka mu mbeera ezimu, tempulikya bw’ekka ennyo ,ebintu ebisinga bikwata olw’obunnyogovu. Kyokka kino waliwo we kitakolera. Amazzi bwe gakwata olw’obunnyogovu, molekyu zongera bwe yongezi kweyawula mu kifo ky’okuba awamu. Kino kiva ku kuba nti molekyu zekolamu sempeke (crystals) .Engeri molekyu z’amazzi gye zisengekeddwamu mu sempeke y’omuzira ogukutte kigufuula obutaba mukwafu nnyo nga mazzi ga kakulukusi .Amazzi aganywebwa (fresh water) ye kakulukusi yekka alina obukwafu obwa 1.

Enjawulo wakati w’obukwafuwavu n’obukwafu

Obukwafu (thickness) bwe bunyigirivu bwa atomu ezizimba enzitoyo(ekintu) ate Obukwafuwavu(density) lwe ludda olupimibwa olw’ekintu bli namunigina ya volima.

Obukwatuwavu n’obukwafuwavu

Obukwatuwavu n’obukwafuwafu (Viscosity and density) binnyonnyozo bibiri ebya kakulukusi ne ggaasi (ebitengejjeso) era biyinza okunnyonnyolwa ebinnyonnyozo ebisukka mu kimu kya kubiri eby’ebitengejjeso (fluids).

Obukwatufu kiva mu kigambo ky’oluganda okukwata. Obukwatufu (Viscosity) kisonjolwa nga ekipimo ky’ekigugubiro (resistance) ky’ekitengejjeso wakati mu kunyigirizibwa oba kawereege (tension).

Mu ngeri endala tuyinza okugamba nti obukwatufu ky’ekikuubagano ekyo munda” (internal friction) mu kitengejjeso.

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Obukwafu n'Obukwafuwavu (Thickness and density )!

Obukwatufu  kyeyolekera ku kikuubagano wakati w’emitendera gy’ekitengejjeso ebiri nga emitendera ebiri egyeyitinganako (moving relative to each other). 

Obukwafuwavu (density) kyo kisonjolwa nga enzitoya buli namunigina ya volima(mass per unit volume).Obukwatufu mulamwa gwa mugaso nnyo mu kitambuzo ky’ebitengejjeso (fluid mechanics). Ebibaawo nga ensukumawaggulu (up thrust) egenda mu maaso bisinziira ku bukwafuwavu bwakitengejjeso(fluid density) .Obukwafuwavu kye kiringa obuzito bw’ekitengejjeso . Obukwafuwavu buyinza okubazibwa ne nakyenkanyanjuyi ennyangu eno:

Obukwafuwavu = enzitoya / volima.

Namunigina z’obukwatufu ze Kgm-3.

Yadde ng’abantu bangi balowooza nti obukwatufu (viscosity) n’obukwafuwavu (density) bitegeeza ekintu kye kimu, ekituufu kiri nti gino miramwa ebiri egy’enjawulo. Obukwatufu bupimibwa ku buzito bwa migattiko gya molekyu. Kino kitegeeza:

Obukwatufu = namba ya molekyu x obuzito (volima) ya molekyu

So nga ate obukambivu kipimo kya mpalirizo eziri wakati wa molekyu n’enkula za molekyu. Obukwatufu kikutegeeza kikuubagano (friction) wakati w’emitendera gy’ekitengejjeso ekimu so nga ate obukwafuwavu bukyukaamu katono okusinziira ku tempulikya.