Jump to content

Obulamu Obusirikitu obw'obulabe

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO was authorised by terminologist Charles Muwanga to post articles from his scientific translations to Luganda Wikipedia for public consumption) .

Micro-organisms;


Obulamu Obusirikitu obw’obulabe ku bulamu

Waliwo obulamu obusirikitu nga bbwo bwa bulabe ku bulamu. Mu butuufu ebikula bya bbakitiiriya bingi bireeta endwadde mu Bantu, ensolo, n’ebimera. Abantu beeraliikirira nnyo bbakitiiriya ezireeta obulwadde nga tetanaasi(tetanus) n’obukooli ( E. coli). Kyokka waliwo ate era ebika by’obukooli ebirungi obusangibwa mu byenda byo okuyamba okukutulakutula emmere gy’olya ekigireetera okuwunya ng’ewedde okukolebwako obukooli buno. Waliwo n’obukooli bw’oyinza okufuna nga olidde ennyama etayidde bulungi. Obukooli buno bbakitiiriya embi eziyinza okukuteeka ku ndiri n’okukutta.

Manya: Mu bulamu obusirikitu kimanyiddwa nti mulimu bbakitiiriya ennungi ne bbakitiiriya ez’obulabe naye tekimanyiddwa oba nga waliwo vayiraasi ez’omugaso mu Nsi. Vayiraasi ez’obulabe zirimu :

(i)“Lebbiizi” (rabies),

(ii) Lubyamira (Pneumonia),

(iii) Mulalama ( Meningitis).

Okuyita mu ssomo lya Tekinologia w’ebiramu (Biotechnology) bannasayansi banoonyereza n’okukola enkakaso ku vayiraasi, bbakitiiriya, ne fungi olw’ensonga ez’enjawulo ney ensonga esinga obukulu lwa kuba nti obulamu obusirikitu buno buyinza okuba obw’obuvune ennyo okusinga ensolo zo mu nsiko enkwambwe nga empologomma oba goonya.

Kyokka era obuamu obusirikitu bukola ebitoolo (compounds) okukola eddagala eppya eriyamba mu kujjanjaba endwadde oba oli awo lumu omuntu ayinza okugemebwa okuziyiza sennyiga oba ebbola oba HIV aids. Mu butuufu laabu ziri mu kukola eddagala eppya oba ery’amaanyi okusingawo mu kulwanyisa bbakitiiriya.