Jump to content

Obulemu mu kuwulira

Bisangiddwa ku Wikipedia

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | kolera mu edit source]

Kino kitegeeza omuntu okuba ngawulira mu katono[], oba nga tawulirirako ddala(kiggala) kyandibaawo ku kutu kumu oba gombi. Mu baana obulemu ku matu kiyinza okubaleetera okulemererwa okuyiga okwogera olulimi, ate ku bakulu kiyinza okubalemesa emirimu. Kyokka mu bantu abamu, gamba ng’abakadde, kino kibaviirako okulekebwa mu bbanga ne babeeranga bokka. Omuntu ayitibwa kiggala, y’oyo awuliramu akatini ennyo oba abatawulirirako ddala.

Okufuna obulemu ku matu kisobola okuleetebwa ensonga ez’enjawulo, okuli ebintu nga; ensonga z’obuzaale,okukaddiwa mu myaka, okubeera mu kifo ewali ebiwoggana ennyo, ebizibu ebitera okutuuka ku baana nga ba bazaala, endwadde, obuvune obuyinza okuva ku bubenje ne bukosa amatu, oba eddagala erimu ku lye tukozesa.

Ezimu ku ndwadde eziyinza okuleetawo obulemu ku matu, kuliko ezo ezitera okukwata amatu ne zitwala akaseera katono okuwona. Okukebera obulwadde buno bakozesa enkola y’okugezesa amatu nga bakozesa ebipimo by’amalobozi eby’enjawulo ekiyitibwa ‘hearing test’. Era okugezesa omwana aba yaakazalibwa oba ng’awulira bulungi kikubirizibwa nnyo abasawo. Endwadde eno , ebitundu ataano ku buli kikumi esobola okwewalika nga tuyita mu bintu ng’okugemesa abaana,okulabirira obulungi ba maama nga balina embuto,okwewala ebifo ewali ebintu ebiwoggana ennyo, wamu n’okwewala eddagala erimu eriyinza okuleeta embeera eno.

Ekitongole ekikulira ebyobulamu munsi yonna kikubiriza abavubuka okwewala okukozesa obuzindaalo bw’omumatu okumala ebbanga lya ssaawa ng’emu n’okusingawo, okwewala okwonoona amatu. Okuzuula omwana ayina obulemu ku matu ng’akyali muto kirungi nnyo okusobola okuyamba omuntu oyo, okuyita mu nkola ng’okuyiga okukozesa obubonero obw’engalo,okuteeka ebigambo ebiba nga bitambulira ku ntimbe nga binnyonyola ebigenda mu maaso olwo ne basobola okugoberera,n’oluusi okubayigiriza okusoma ebyo ebiba byogerwa nga batunula ku ntambula y’emimwa(lip reading).Naye nga okufuna ebiyambako okuwulira obulungi kikyali kizibu mu nsi yonna.