Obulimi obuyimirizikawo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Waliwo ennyinyonnyola ez'enjawulo ku bulimi obuyimirizikawo. Wabula ng’ennyinyonnyola zonna zirina kye zifaanaganya mu zoera kye kino nti: obulimi bulina okuba n’obusobozi obuwa ebika by'emmere eby'enjawulo eri abantu.

Ebintu nga bisatu ebitunuulirwa mu bulimi obuyimirizikawo:

  1. Obutataataganya butonde bwansi
  2. Obusobozi bw'okutuukiriza ebyetaago by'omu kitundu
  3. Okuba nga busoboka eri buli mulimi.

Newankubadde ng'obulimi bwatandikibwawo emyaka omutwalo mulamba (10,000) egiyise , abantu bangi naddala mu nsi ezikyakula bakyalina ekizibu ky'ebbula ly'emmere olw'emiwendo gy'abantu abali mu nsi zino egirinnya buli lukya.

Olusuku O'lutto

Emu ku nkola eyeeyambisibwa mu bulimi obuyimirizikawo y’ey'okukyusakyusa ebirime mu nnimiro era ng'erina emigaso nga gino:

  • Okukendeeza okukulugguka kw'ettaka
  • Okukuuma obugimu mu ttaka
  • Okuziyiza ebiwuka ebitawaanya ebirime
  • Okwewala okwesigama ennyo ku ddagala ly'ebirime
  • Okwewala ebirime okukosebwa enkyukakyuka mu mbeera y'obudde
  • Okwongera ku magoba agava mu bulimi

Mu mirimu egikolebwa abantu naye nga gikosa obutonde bw'ensi, obulimi butwalako ebitundu 13%. Enkola abalimi ze bakozesa ezikosa obutonde bw'ensi kuliko zino wammanga:

  1. Okwokya ebikoomi
  2. Okukaliza entobazi
  3. Okutema emiti
  4. Okusaawa okuyitiridde
  5. Okulimira ennyo ku ttaka

Ebiva mu bino:

  • Okufiirwa empewo ey'obutonde eva mu bimera ne mu ttaka.
  • Okweyongera kw'empewo efulumizibwa mu kussa (cabondioxide) mu bbanga eritwetoolodde.
  • Okusaanyaawo obulamu bw’ebitonde ebibeera mu bibira ne mu mazzi.
  • Okutta ebiwuka by’omu ttaka eby’omugaso ebiyamba okigimusa ettaka
  • Okukulugguka kw’ettaka