Obulwadde bw'Akafuba

Akafuba[] bulwadde obuleetebwa akawuka akayitibwa "mycobacterium tuberculosis". Akafuba kasinga kukwata mawuggwe naye ng’era kasobola okukwata ebitundu by'omubiri ebirala. Obumu ku bubonero bw'akafuba kuliko okukolola omusaayi, okulwalalwala, okutuuyana n'okukogga.
Akafuba kasinga kuyita mu mpepwo nga singa omuntu akalina akolola, ayogera oba anyiza. Akafuba kasumbuwa nnyo abantu abalina akalwadde bwa mukenenya wamu n'abanywa sigala.
Akafuba kasobola okutangirwa ng’abantu bakeberebwa, okuweebwa obujjanjani wamu n'okugema n'eddaga lya "Bacillus calmetta_Guierin vaccine". Abantu abali mu katyabaga k'okukwatibwa obulwadde bw’akafuba beebo babeera okumpi n'omuntu alina obulwadde buno, abakola nabo wamu n'abo babeera nabo. Obujjanjabi bw'akafuba butwala ebbanga ddene wamu n'okukozesa eddagala ery'enjawulo nga "" Antibiotic resistance ".
Mu 2014, abantu abali mu bukadde 9.6 baalina akafuba ekyaviirako abantu 1,500,000 okufa era nga ku bano ebitundu 95 Ku buli kikumi baali mu nsi ezikyakula wabula okuva mu 2000, omuwendo bw'abantu abazze bafa obulwadde bw'akafuba guzze gukendeera.