Obuwangwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

ekiwandiiko kino kikwata ku buwangwa nga bwe bukozesebwa mu mbeerabantu ez'enjawulo. Endabika y'omuntu yakulaakulanyizibwa abantu ab'edda okubaako enkyukakyuka n'eneeyisa ze baatuukako. Enzikiriza n'empunda y'ebintu bikulu nnyo mu buwangwa bw'abantu. Obuwangwa bw'eby'obufuzi n'enneeyisa z'abantu zaawukana okusinziira ku buwangwa bw'abantu obw'enjawulo. Enkulaakulana omuntu gy’atuuseeko gamba ng’okuwandiika biraga enkulaakulana mu buwangwa bw’abantu. Obuwangwa busobola okunnyonnyolwa mu ngeri nnyingi ez'enjawulo. Munnabuwangwa E.B.Tylor Annyonnyola nti Obuwangwa buzingiramu amagezi, enzikiriza, empisa, amateeka, ennono n'ebiralala omuntu by’ayinza okuyigira mu kitundu mw’abeera. Enkuluze y'olungereza eya "Cambridge" ennyonnyola Obuwangwa ng’embeera y'abantu ey'obulamu okusingira ddala ennono n'enzikiriza. Mu kwekenneenya ebyobuwangwa, Obuwangwa kye kinyusi ekizingiramu ebintu eby'enjawulo omuntu ssekinnoomu by’ayiza okuyigira mu mbeerabantu. Kye kigambo ekyawamu ekiyinza okukozesebwa okulaga obusobozi, obukugu, obubonero n'ekifaananyi ky’obuyiiya bw'omuntu. Obusobozi buno buzze n'enkyukakyuka mu nneeyisa y'abantu mu myaka nga 50,000 egiyise. Obuwangwa buyamba okusaasaanya emirimu emyekusifu, amagezi n'ebirowoozo eri abantu ababeera awamu. Ebintu ebimu nga ekikula ky'omuntu, eŋŋanda, olulimi, obufumbo n'ebintu ebyolesebwa ng’ennyimba, emikolo n'ensinza, enkyukakyuka ng’ennyambala, enzimba by'ebimu ku biraga obuwangwa obwa buli mbeera bantu. Obuwangwa bw'ebitundu busobola okwawulwamu nga tusinziira ku ddaala ly'obuyigirize "Obuwangwa obwawaggulu" n'obatali bayigirize " Obuwangwa Obwawansi". Mu ngeri y’emu, Obuwangwa bulabibwa nga ebintu ebikolebwa eggwanga erimu okwawukana Ku ddala mu bintu nga ennyambala, enzikiriza, emikolo n'ebirala. Kigambibwa nti Obuwangwa bwakozesebwanga abayivu okufuga abantu ba wansi. Mu ngeri endala Obuwangwa z’ennono, ebigobererwa n'ebintu eby'omuwendo eby'eggwanga oba ensi. Mu ngeri eno, omuyungiro gw'obuwangwa ly'ekkowe eryekenneenya omuwendo n'entegeeragana ey'awamu wakati w'obuwangwa obw'enjawulo. Mu biseera ebimu Obuwangwa kikozesebwa okutegeeza ebintu ebikolebwa ebibiina by’abantu mu ggwanga erimu. Mu buwangwa bw'abantu, obuwangwa busobola okwekenneeyezebwa n'okusengekebwa kubanga enneekenneenya yonna esinziira Ku bintu ebitwalibwa ng’eby'omuwendo mu buwangwa.

Enkyukakyuka mu buwangwa[kyusa | edit source]

Mu kyasa kya 19, tulaba banna "Australia" nga bawakanya okujja kwa Captain James Cook mu 1770. Okuvumbula mu buwangwa kitegeeza enkyukakyuka yonna empya etwalibwa nga ey'omugaso era ne yeeyolekere Mu neeyisa y'abantu. Omuntu mu nsi yonna afuba okukyusa Obuwangwa ng’asinziira ku nkyukakyuka mu by'enfuna by'ensi yonna, ku mikutu gy'amawulire n'ebirala. Obutabanguko mu bantu n'enkyukakyuka empya bye bireeseewo enkyukakyuka mu buwangwa nga mu by'enfuna, embeera ezeekuusa ku bwebulungulule n'ebirala. Obuwangwa bukyukakyuka oluvannyuma lw'amawanga okwe tabulatabula ne gannaago; obuwangwa obw’enjawulo ne busisinkana. Obuwangwa busobola okukyukakyuka olw'okuseebengerera mu buwangwa bw’abantu abamu. Gamba ng’okukozesa ebintu by’obuwangwa obulala ne mulekawo ebyammwe. Enkyukakyuka Mu buwangwa endala yaggyawo olw'obufuzi bw'amatwale okukakaatika obuwangwa bwago ku bantu be baali bafuga. Enkyukakyuka eno si ya kyeyagalire.[1]

Okuvumbula ezasooka[kyusa | edit source]

Immanuel Kant (1724- 1804), yagunjawo ennyinnyonnyola ng’alaga emitendera omuntu gy’ayitamu okufuuka omuntu. Yategeeza nti omuntu okubeera nga yali tannakula kutuuka ku ddaala ly’aliko kyali tekitegeeza butamanya wabula yali tannaba bubeezi kwetongola. Omuwandiisi Omugirimaani omulala "Johnn Gottfied Herder (1744 - 1803) y’agamba nti obuyiiya bw'omuntu tebuteeberezekeka kuba obuyiiya bwe bweyolekera mu ngeri ez'enjawulo. Mu 1795, Munnannimi "Wilhelm con Humboldt" (1768 - 1835), yateekawo enkola y'okusoma embeerabantu okwekenneenya ebigendererwa bya "Kant" ne "Herder". Ku mulembe Omurooma, abayivu mu Bugirimaani naddala abo bamwoyogwaggwanga mu nsi yonna, baalaba nga buli ggwanga lirina endaba yaalyo ey'enjawulo ku buwangwa mu nsi yonna newankubadde ng’enkola eno yali egatta buli ggwanga naye yalimu okusosola eri abo abakulaakulannye okusinga abalala. Mu 1860, Adolf Bastian (1826-1905), agamba nti wadde ng’Obuwangwa bwawukana naye ate waliwo ebintu ebimu ebifaanagana mu buwangwa obw'enjawulo. Enkola eno Franz Boas (1858-1942) gye yakuliramu bwe yali ng’akyali mu Bugirimaani nga tannagenda mu Amerika. Mu kyasa kye 19, abatontomi n'abawandiisi b'emboozi empanvu abangereza nga "Mathew Arnold" Baakozesa ekigambo eby'obuwangwa okutegeeza engeri omuntu ssekinoomu gy'ategeeramu n'okulowooza ku ebyo ebijja bibaawo mu nsi. Endowooza eno yageraagerannyizibwa ku y'Abagirimaani eya "Bildung". Waliwo abeekaliriza ebyobuwangwa ebeesowolayo okuwakanya endowooza ez’enjawulo ku by'obuwangwa. Okugeza Obuwangwa obwa waggulu n'obwa wansi obw'abayivu n'obutali bwa bayivu. Baawa ensonga nti abo abaali batwalibwa okuba n'obuwangwa obwa wansi be baali bagyiddwako obwetwaze bwabwe. Ensonga endala bagamba nti okwawulamu Obuwangwa obw'abayivu n'abatali bayivu kiraga okwawulamu wakati w'Abazungu abayivu n'abatali bayivu. Ebikwata ku buwangwa bw’abantu tebiggwa malojja. Naye kye tusaana okwetegereza kye kino nti obuwangwa bw’abantu buzze bukyukakyuka okusinziira ku mirembe nga bwe gizze gibaawo: ensangi zino abantu tebakyasobola kwewla kwetaba na mawanga malala. Oba nga twagala oba tetwagala, waliwo ebikyukakyuka mu buwangwa bwaffe nga tumanyi oba nga tumanyi. Wabula, waliwo amawanga ageefubako ne gatakkiriza ebyo bye batwala ng’ebyomuwendo era ebibaawulira ddala ku buwangwa obulala obutabavaako. Kinyuma nnyo omuntu okubeera ng’amanyi obuwangwa bwe era nga abusanyukira.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Culture