Jump to content

Obuzimba bw’omu nnyindo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | kolera mu edit source]

Obuzimba bw’omu nnyindo bw’ebwo obuggyamu naye nga tebuliimu kookolo. Obubonero okulabirwa obulwadde buno buzingiramu okukaluubirirwa mu kussiza mu nnyindo, okulemwa okuwunyiriza, obutawoomerwa by’olwa n’ennyindo egikulukuta. Butera okukwata ennyindo zombi era nga omuntu bwe bumukwata atera okulumizibwa mu kyenyi.

Ekiviirako obulwadde buno tekitegeerekeka. Butera nnyo okukwata abantu abakosebwa n'enkyukakyuka mu mbeera y'obudde. Omuntu alina obuzibu buno asobola okwesulika nga ennyindo eri waggulu oba okukeberebwa n'ebyuma.

Steroids bwe bujjanjabi obuweebwa omuntu alina obuzibu bw'okufeekeera wabula singa bugaana omuntu ono asobola okulongoosebwa. Abantu 4% balina obuzibu bw'okufeekeera wabula ate abantu 40% be bafuna obulwadde buno mu kaseera konna mu bulamu bwabwe. Obulwadde buno butera kukabikira ku myaka 20 wabula buno bwo bukwata nnyo abasajja okusinga abakyala.