Jump to content

Obuzimbe bw'Akaziba (the structure of the atom)

Bisangiddwa ku Wikipedia
structure of an atom

Gakuweebwa Charles Muwanga ! "Akaziba" kitegeeza "atomu". Obuzimbe bw'akaziba (the atomic structure).Buno wammanga bwe butonniinya (sub-atomic particles) obukola akaziba(atom):

(i) Konta (kikontana): Eno erina kyagi ya pozitiivu era esangibwa munda mu nyukiriyasi y'akaziba. Akatonniinya kano kayitibwa “kikontana” , kakontanyo oba "konta" mu bufunze okulaga nti ekisannyalazo kyako ekya pozitiivu kiri mu kukontana n'ekisannyalazo eky’akasannyalazo ekya negatiivu era okukontana kuno kwekukuumira akaziba awamu ne katabumbulukuka. Jjukira nti poola ezitafaanagana z’esikiriza (attract). (ii) Nampa (Nampawengwa). Eno erina kyagi ya kibogwe era nayo esangibwa mu nyukiriasi ya atomu. (iii) Akasannyalazo (electron). Kano kalina ekisannyalazo kya negatiivu era ko katambulira mu kire oba ekisosonkole okwetoloola nyukiriyasi y'akaziba. Akaziba ka ayodologyeni (hydrogen) ke kasingayo obwangu mu buzimbe kubanga kalina akasannyalazo kamu, konta emu ne nampa emu.

iAkaziba ka keriyamu (helium atomu), ke kaddirira aka ayodologyeni (hydrogen) obwangu kubanga kalina Obusannyalazo bubiri, Konta bbiri, ne Nampa bbiri.

Nabuzimbe yonna (all matter) ebaamu obutoffaali obuyitibwa obuziba(atoms). Luno lwe lukalala lw’ebinnyonnyozo by'obuziba ebisookerwako: (i) Obuziba tebusobola kwabuluzibwamu nate ng’okozesa kikyusabuziba. Bulina obuzimbe omuli obusannyalazo, nampa, ne konta . (ii) Buli kasannyalazo kalina kyagi y’amasannyalazo eya negatiivu. (iii) Buli konta erina kyagi y’amasannyalaze eya pozitiivu. Kyagi ya konta n’akasannyalazo zenkana mu kipimo kyokka nga zirina obulaga bwa kikontana. Obusannyalazo ne konta bulina ensikiriza ey’awamu mu masannyalaze. (iv) Buli nampa eba ya kibogwe mu masannyalaze. Kino kitegeza, nampa teziba na kyaagi era tezisikirizibwa mu masannyalaze okudda eri obusannyalaza oba okudda eri konta. (v) Konta ne nampa bulina ekigero kye kimu kyokka bunene okusinga obusannyalaza naye enzitoya ya konta y’emu n’eya nampa. Enzitoya ya konta eri emirundi 1840 okusinga ey’akasannyalazo (vi) Nyukiriyaasi ya atomu ebaamu konta (proton) ne nampa (neutron). (vii) Obusannyalazo butambulira wabweru wa nnyukiriyaasi (omubeera konta ne nampa). (viii) Kumpi enzitoya ya atomu yonna esangibwa mu nyukiriasi kyokka kumpi volima ya atomu yonna erimu busannyalazo. (ix) Namba ya konta (namba ya atomu) y’eraga ekika kya erementi .Bw’okyuusa namba ya nampa ofuna atonu (isotopes.) Bw’okyusa namba y’obusannyalazo ofuna atovu (ions) ya atomu ne namba ya konta etakyuka. Bino byonna bibeerawo mu erementi emu. (x) Obutonniiya bw'akaziba ekibukuumira awamu eba empalirizo ez’amaanyi ennyo.

Okutwalira awamu obusanyalazo bwangu okujjibwa (okutoolwa) oba okugattibwa ku atomu okusinga nampa ne konta. Okutomeggana kwa atomu okusinga kubaamu obuziba oba ebirimba by'obuziba n’okukolagana wakati w’obusannyalazo bwabwo. Ogwo gwe mugereeso gw'obuziba (atomic theory).