Jump to content

Okello Sam

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okello Kelo Sam (yazaalibwa 8,Omwezi ogwekkumineebiri 1969) muyimbi, munnakatemba, era kazannyirizi. N'era ye mutandisi wa Hope North, essomero lya siniya era ekifo ekikuumirwamu abavubuka abaakosebwa olutalo, mu Uganda . [1]

Okello Kelo Sam yazaalibwa nga 8 Omwezi ogwekkumineebiri 1969 mu bukiikakkono bwa Uganda. Ye mwana owookusatu maka agaalina taata omu , abakyala basatu ,ne bagandabe amakumi abiri. Maamawe ye Eromina Alal Oting Lahee ne taata we ye Oneka Sam. Maama we yeeyali omukyala wa kitaawe eyasooka. Ku myaka kkumi na mukaaga (16), bwe yali agenda ku ssomero okunona obubonero bw'ebimu ku bigezo bye, ye n’ekibinja ky’abayizi beyali nabo, baawambibwa ne bawalirizibwa okubeera ekitundu ku ggye lya Lords Resistance Army. Ekibinja ky’abaana kyatwalibwa e Syria mu kutendekebwa okwa kaasammeeme okw'entisa . Okuva awo, baabawulamu ne baleetebwa mu ntalo ez’enjawulo. Nga wayise emyaka nga ebiri, mu lutalo olw’amaanyi, Okello yazuula omukisa n’asobola okutoloka. Yasobola okufuna emmotoka emutwalako e Gulu, gye yalowooza nti famire ye gyeyinza okwekweka.Bwatabasangayo,Okello yaddayo ku kyalo kye, n’akisanga nga kyali kilekeddwawo ttayo nga kisigadde matongo olw'olutalo.

Okello yasalawo okugenda ku kibuga ekikulu Kampala, kojja we gye yali abeera. Kojja wa Okello yawa Okello awookusula. Okello yasula mu nnyumba ya kojjaawe ey’ebisenge ebibiri ng’ali wamu ne bakyala ba kojjaawe babiri n’abaana bana. Olwo Okello n’akola emirimu egy’enjawulo nga, okwoza engoye, okukima amazzi , okwoza emmotoka okufuna ssente n’okugenda mu maaso n’emisomo gye. Yasomera ku yunivasite y’e Makerere ng’asoma dipulooma mu by’okuyimba n'okuzannya .

Mu kiseera kino, Okello yazuula kkampuni y’amazina eyitibwa Ndere Troupe era okukkakkana ng’afunye yintaviyu era ne bamusaba okwegatta ku kkampuni. Okuyita mu kino, ekitone kya Okello ng’omuzinyi, omuyimbi, munnakatemba, atonda n'okutegeka entambula y'ebigere omubiri, n'emikono , omutumbula w’ebyobuwangwa, omutendesi, era dayirekita w’ebyemikono, kyamanyibwa. Bweyali mu ttendekero ekkulu, Okello yawasa Marian Lubega era mu 1994, baazaala omwana waabwe eyasooka, Lawino Mieke Marilyn.

Mu 1998, muto wa Okello Sam, Godfrey, yawambibwa ng’asoma n’ekibinja ky’abaana abalala amakumi ataano (50).

Okello yabeera mu ssuubi nti olunaku lumu ne muganda we yali ajja kusobola okutoloka. Kwe kugamba, okutuusa lumu ku makya, Okello bwe yazuula ebifaananyi eby’entiisa mu lupapula lw’amawulire olwokumakya, eby’abantu 300 abattibwa ku kyalo kye gyazaalibwa .Kuno kwaliko ne muganda we. Okussaamu mugandawe ekitiibwa, Okello yatonda omuzannyo ogw'omulembe nga gwesigamiziddwa ku nnyumya y'engero za Uganda n'ezekichooli n'ennyimba eziyitibwa "okutondebwa oba okukolebwa mu muliro" ("Forged in Fire"). [2]

Mu bigambo bye, "... ab'eŋŋanda zange, mikwano gyange, abaana bensoma nabo , era bwe nafuna amawulire, namenyeka. Bwentyo ne nnyingira mmotoka yange, nga nvuga nzira e bukiikakkono, nga nkikola lwa busungu, mu kusoberwa kale abantu bangi b'omanyi bafudde ate nga tomanyi kirala kya kukola. Bwetutyo tweyongera okuvuga, netuvuga, netuuvuga ne nyimirira. Era ekirowoozo nekinzijira"

Okello Kelo Sam ye Ssentebe w’ekitongole ky’ebyobuwangwa ekya Uganda National Cultural Centre (UNCC), ssenkulu w'ekitongole kya Roots Retreat and Camping Resort era omutandisi wa Hope North Uganda. Firimu ze ezisinga obukulu zaafulumiza mulimu "Abducted: War Child", eya Robert E. Altman, "Silent Army, eya Jean Van de Velde, eyasooka okulagibwa mu kivvulu kya firimu ekya Cannes mu 2009. Yazannya ne mu firimu ya The King of Scotland eyalimu abavubuka okuva mu Hope North.

Yateekateeka amazina ng'okozesa omubiri n'emikono era n’ayiiya ennyimba mu firimu ya Last King of Scotland. Yawandiika omuzannyo ng'ayambibwako muganda Godfrey oguyitibwa "Vessels of Fire" ogwakolebwa ku yunivasite y'e Dartmouth ne ETI, East Africa ne Theatre without Boarders. Omulimu gwe ne Hope North gumuleetedde okusiimibwa n'okutenderezebwa okuva mu bawagizi abamanyiddwa nga Forest Whitaker, Susan Sarandon, Mary-Louise Parker,Josh Ritter ne Rufus Wainright, era abadde ku zipulogulaamu nga WNYC eya "The Brian Lehrer Show", "The Big Picture with Thorm Hartmann" n'endala . Okello akulemberamu emisomo mu Bulaaya yonna ne Amerika ku mazina n’ennyimba za Uganda.

Okello Kelo Sam yatandikawo Hope North mu 1998 oluvannyuma lw'okufa kwa muganda we. Hope North ssomero era kifo kya bavubuka abaakosebwa olutalo lw’omunda. Hope North eyamba bamulekwa, ababundabunda, n’abaali abaana abajaasi. [3]

Hope North ekkirizibwa ng’essomero lya siniya ng’erina abasomesa 26 abeewaddeyo. Essomero lirina okukola n’ebizibu ebingi ng’obutaba na bitabo bya kusoma n’obutaba na kompyuta. Essomero lirina enteekateeka y'ebyembera z'abantu ey'ensi yonna , okutendeka amaloboozi, ne faamu ekola nga eno eddukanyizibwa abakozi. Abakozi balafuubana okuwa abaana obuyigirize obutegekeddwa obulungi ekivaamu emirimu.

Ekigendererwa kya Hope North, okusinziira ku Okello n’abasomesa ba Hope North, kwe kuwa abaana eddoboozi okusobola okwogera n’okukola enjawulo.

Omusomesa mu Hope North agamba nti, "Bano be bakulembeze ab'ebiseera ebyomumaaso. Kye tukola kye bagezaako okukoppa. Kale okudduka ekizibu tekiba kukigonjoola." [4]

Okello bweyabuuzibwa lwaki, oluvannyuma lw'ebyo byonna bye yali ayiseemu, teyamala gaggwaamu maanyi, yaddamu nti: "Sijja na kulowooza ku kulemererwa / kugwa. Sijja na kulowooza ku kuyimirira. Kubanga singa ffenna tulina okusoomoozebwa ne tuyimirira, olwo kiki ekyinza okubaawo?" [4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Talbott, Chris (August 15, 2012). "Okello Kelo Sam Gives Former Child Soldiers an Education and a Future". cntraveler.com. Retrieved 29 October 2015.
  2. Sam, Okello (May 7, 2015). "Escaping War Saved My Life. Song and Dance Saved My Soul". www.huffingtonpost.com. Retrieved 4 November 2015.
  3. Weidman-Grunewald, Elaine. "Hope North after a year". www.ericsson.com. Retrieved 29 October 2015.
  4. "The Thing That Happened- A documentary short about Hope North by Andrew Walton". vimeo.com. Retrieved 29 October 2015.
  1. Talbott, Chris (August 15, 2012). "Okello Kelo Sam Gives Former Child Soldiers an Education and a Future". cntraveler.com. Retrieved 29 October 2015.
  2. Sam, Okello (May 7, 2015). "Escaping War Saved My Life. Song and Dance Saved My Soul". www.huffingtonpost.com. Retrieved 4 November 2015.
  3. Weidman-Grunewald, Elaine. "Hope North after a year". www.ericsson.com. Retrieved 29 October 2015.
  4. 1 2 "The Thing That Happened- A documentary short about Hope North by Andrew Walton". vimeo.com. Retrieved 29 October 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "vimeo" defined multiple times with different content

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]