Jump to content

Okisigyeni(Oxygen)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Oxygen Atom

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! "Akaziba ka okisigyeni" ,ekitegeeza "Atomu ya Okisigyeni" (Oxygen atom) .

Enjuba bw’eba ekyusizza atomu za nayitogyeni, efuuka omulangatira omumyufu, n’etandika okufuuka obuziba (atomu) bwa keriyamu, obwa kaboni ne okisigyeni.

Okisigyeni yenna mu bwengula yakolebwa mu njuba munda. Kati keriyamu yenna bwe yakozesebwa, omulangaatira omumyufu ne gutandika okukyusa kaboni ne okisigyeni okuzifuula obuziba(atomu) obuzito okusingawo nga sirikoni ne kkalwe.

Enjuba, omulangaatira omumyufu bw’ebwatuka n’efuuka semufu (supernova), obuziba(atomu) bwa kaboni ne okisigyeni obusigaddewo buwaguza ne bufuluma, olwo ne bufuuka kitundu ky’enkulungo nga Ensi. Akaziba ka okisigyeni kaba kazito okusinga aka ayidologyeni oba aka keriyamu era nga kazito okusinga aka kaboni. Kino kiva ku kuba nti akaziba(atomu) ka okisigyeni kaba n’obukontanyo 8, nampawengwa 8 n’obusannyalazo 8 obuweweenyuka okwetoloola ekire ekisembayo ku ngulu mu kaziba(atomu).

Obuziba bwa okisigyeni butwala ekifo kimu kya kuna ¼ eky’empewo yonna ku nsi era bwetaagisa mu kussa kw’ensolo zonna ezimuyingiza. Obumu ku buziba(atomu) bwa okisigyeni bwegatta ne kaboni okukola kaboni-bbiri-okisayidi (carbondioxide) ebimera gwe biyingiza mu kussa. Obuziba bwa okisigyeni obulala bwegatta n'obuziba bwa ayidologyeni bubiri okutandekawo molekyo y’amazzi.

Obuziba bwa okisigyeni era bwekyusa mu buziba(they react) ne molekyo za kaboni owa nakazzi (hydro carbon molecules) oba ebyuma ebimu nga magineziyamu okukola omuliro era ziyinza okwekyusanya mu buziba n’ebyuma ebirala nga kkalwe okukola entalaggo (rust).