Okufuga embeera z'Obuntu(Controling human emotions)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omuntu afuga atya embeera ze ez'obuntu obutakalaamuka?

Okufuga oba okuyigiriza omwana okufuga embeera ze ez’obuntu kulimu okumuyigiriza okwang’anga oba okufuga embeera ze ez’obuntu embi okuva mu buto kuba kitwala ekisera. Bw’oba nga oli muntu mukulu newesanga nga tewayambibwa kufunga mbeera zo za buntu okuva nga oli muto, ky’okola fuba okulaba nga :


 otegeera ekikuleetedde oba ebikuleetera okuva mu mbeera ez’obuntubulamu . Kkiriza nti ova mangu mu mbeera .

 okkiriza nti waliwo ekintu oba ebintu ebikujja mu mbeera .

 Okola enteekateeka okwang’anga embeera ezo , gamba okubuulirako abaagalwa bo bakuyambe oba genda mu bakugu mu kukakkanya embeera z’obuntu ezikyankalanye.

 Tambulako mu bifo omuli ebiyinza okukusanyisa.

 Genda mu bantu abasanyufu. Osekemu.Wewale abalyolyomi , ab’enge, effutwa, n’empiiga kuba bano mu biseera ebisinga basekabusesi oba basanyukabusanyusi.

 Genda ew’abakulu b’amadiini, era wekwase Katonda. Soma ebyawandiikibwa ebitukuvu.

 Kola dduyiro (exercise) kikuyambe okukkakkanya ebirowoozo n’embeera y’omubiri okutwalira awamu.

 Beera mu b’emikwaano n’abenju be wesiga abanakuzzaamu amaanyi. Weware abo abayinza okwogera ebyongera okukumalamu amaanyi naddala abo abasanyuka nga omulala ali mu mbeera emunyigiriza.

 Tandika okulowooza nti omuntu asobola okubeera ow’omugaso mu ngeri endala oba eri abantu abalala ne Katonda wo.

Ebyo byonna mbikulaze naye ekisinga kwe kwekwasa Katonda.


Eby’okulabirako :Engeri y’okufuga okunyiiga

 Manya ekiviiriddeko okunyiiga okwo.

 Kakkana (rerax) nga weyunira ekintu ekirala okkakkane.

 Weyunire abantu oba omuntu gwe wesiga akuyambe okukkakkana.

 Wekwase Katonda atalemererwa.Okunoonyereza kulaze nti abantu abalina okukkiriza mu Katonda okwa namaddala be basinga okufuga embeera z’obuntu.

Ebiseera ebisinga , omuntu avudde mu mbeera ze ez’obuntubulamu talowooza nti embeera gy’alimu si ya lubeerera . Okudda mu mbeera.:

• Salawo okutandika okubaako ky’okola.

• Beera mugumiikiriza ate okkirize nti waliwo ebintu by’otayinza kukyusa.

• Teeka ebirowooza byo ku by’okukola ebirala

• Lowooza ku bintu ebiyinza okuleeta essanyu mu bulamu bwo nga okusoma ebyawandiikibwa ebitukuvu, okunaaba amazzi agookya, okutambulako ne mikwano gyo n’ebirala.

• Sengejja by’oyogera. Wewale samwasamwa kuba ajja kukwongera kwennyika. Yiga okuwuliriza okusinga okwogera.

• Wewale omuntu oba abantu abayanza okukola oba okwogera ebiyinza okwongera okukujja mu mbeera.

• Genda ew’ omukugu mu mbeera z’ebirowoozo.

• Wekwase mukama Katonda wo atalemererwa.


Okwang’anga embeera ey’okwennyika

Omuntu omulamu aba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu naye kino bwe kiba ekizibu wano omuntu aba alina kweyunira mwoyo wa Katonda okusobola okukkakkanya mwoyo w’obuntu aba apaluuse oba alemaganye okukkakkana.

Mu butuufu omuntu omugunjufu aba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu okusinga atali naye era ono bw’aba afunye okulemererwa aba alina okwekwasa mwoyo wa Katonda atalemererwa.

Ky’etagisa nnyo n’olwekyo buli muntu okuyiga embeera z’obuntu eziyinza okujja muntu munne mu mbeera ate era n’ayiga n’engeri ey’okufuga embeeza ze zino. Ekyo kye kiyitibwa obwakalimagezi mu mbeera z’obuntu (emotional intelligence).


Waliwo ebintu bye tulaba ebigenda mu maaso mu ntabaganyi zaffe ne tutabifaaako naye nga bya kabenje eri entabaganyabantu yonna. Bw’oba otambula, olumu osanga abantu, abaana , abavubuka, olumu n’abakulu abamu, nga basekerera oba bajeregerera omuntu ali mu mbeera y’obulamu gy’ateyagarira nga obulemu ku mubiri , ,obwanakampiginya(dwarfism), nakalanga ow’omutwe omunene , omukadde akootakoota, kiggala , ananaagira, omwavu, oba okusekerera omuntu olw’eddiini ye ,eggwanga lye oba olulimi lw’ayogera , oba olw’okuba addiridde mu nfuna ye oba agudde ebigezo oba afunye okulemererwa ku ky’abaddeko..

Mu ngeri y’emu , osanga abantu, omuli n’abebitiibwa oba obuvunaanyizibwa mu ntabaganyabantu nga bannaddiini, abakulembeze, abasomesa mu masomero n’amatendekero nga bawa enkizo abantu obamu omuli n’abaana abato olw’okuba bagagga oba baavu oba olw’eddiini oba eggwanga oba enkula n’endabika .

Ate nno era waliwo abakuza, abazadde, oba abakulembeze abatayawula wakati wa kutulugunya na kugunjula oba okuwabula nga bbo okuwabula oba okugunjula tebakyawula na kikolwa kya kuboggola oba kukayukira muntu. Bino byonna biretera omwana okukula ng’embeera ze nkyankalamu.

Okwogera eri omulala oba abalala mu ngeri ey’obukambwe oba ey’okuboggoka buli bbanga nakyo kikolwa kya kutulugunya kubanga kimujja mu mbeera ez’obuntu so ng’ate okuwabula oba okuyigiriza tekyetaagisa kuboggolera muntu .

Ebikolwa ebyo byonna bijja omuntu mu mbeera ey’ebirowoozo ebiteefu .Ky’olina okusooka okumanya kwe kuba nti engerekera y’okuva mu mbeera erina ekigendererwa okukusobozesa okwetaasa embeera ey’obulabe mu bulamu bwo. Oli bw’akusekerera olw’obulemu bw’olina oba n’akuboggorera manya nti oyo aliko ekizibu, omwekengere era omwegendereze, oba oli awo n’okuva w’ali.

Omuntu avudde mu mbeera bw’atakozesa bwongo kuzza mbeera ye mu nteeko asobola okwekyaawa era omuntu bwaba nga tasobola kufuga mbeera ze za buntu enkyankalamu (control emotions) nga obusungu, bagamba nti ava mangu mu mbeera ze ez’obuntu era nga yetaaga kuyambibwa.

Omuntu okuba omusunguwavu mu kiseera ekimu tekitegeeza nti wa busungu kubanga oyinza okusunguwalamu olw’ensonga emu oba endala eba ekujje mu mbeera naye olw’okukozesa obwongo, n’okkakkana. Awo aba asunguwadde naye olw’okuba akozesa obwongo okufuga embeera ze ezitali za buntu (negative emotions) tatwalibwa kuba musunguwavu wa lulango.

Okutwalira awamu, omuntu avudde mu mbeera ayinza okusanyuka, okunyumirwa, okunyiiga, okusunguwala, okwekyawa, okukyawa, okwetya, okutya, okuboggola, okukambuwala, okufuna obujja, obukyayi, obunakuwavu n’enneeyisa endala ezitali za bulijjo ow’ensonga ez’enjawulo. Ky’olina okumanya kwe kuba nti tewali mbeera ya lubeerera. Baako ky’okola okukkakkana.

Engeri y’okuyamba oyo avudde mu mbeera oba eyekyaye

(i) Okusooka wekakase kw’osenziira okulowooza nti omuntu wo aliko ekikyamu oba embeera emukyankalanyizza ebirowoozo. Kifuneko obukakafu obumala(fakikya).

(ii) Gezaako okukakasa oba nga n’abalala balaba ggwe ky’olabye era nga balina obukakafu; yadde tebamumanyi nga ggwe bw’omumanyi , bayinza okulaba enneeyisa ye oba endabika nga bikyusemu .

(iii) Lowooza kubiyinza okuba nga bye bivaako obuzibu era webuuze ku ki ekiyinza okuddako .

(iv) Wetegekere okukwesamba n’okutwalibwa obubi lw’osooka okukyogerako n’omuntu wo ono avudde mu mbeera . Yadde kino kibaddewo toggwamu maanyi. Nywerera ku nsonga ; sigalawo yadde nga akulaze nti takwetaaga.

(v) Beera mukkakkamu era oyogere nga olaga nti ofaayo eri omuntu wo oyo yadde nga atandise okwekamwana n’okuyomba, sigala nga oli mukakkamu ;tokalaamuka nawe !! Sigala ku mulamwa kubanga omuntu wo ayinza okugezaako okukutabula ove ku kigendererwa ng’akukonjera n’okwekwasa ebyayita. Ky’olina okwesibako kwe kumugamba nti “”ndi wano ku lulwo , okulaba nga embeera yo edda mu nteeko”.

(vi) Singa omuntu wo asalawo nti yetaaga obuyambi bwo , laba nga oli mwetegefu okubumuweerawo kyokka mukubirize okufuna obuyambi obw’ekikugu oba oli awo n’eddagala.

(vii) Naye singa ogezaako okwogera n’omwagalwa wo emirundi egiwera n’olemererwa ku mbeera nga ey’okutulugunya abalala, okuyombayomba, okwekatankira omwenge n’ebiragalalagala obutayagala kulya, obusunguwavu, ettumbiizi, n’olemererwa, lowooza ku kulaba nga wabaawo ekirala ekikolebwa abalala be kikwatako oba abakugu. Manya nti abaagalwa be gye bakoma okubeerawo abangiko gye kikoma okubeera ekirungi.

(viii) “Ekirala eky’okukola” kwekukolagana n’ abaagalwa abalala bonna. Wano ntegeeza abagalwa be n’emikwano abalala, nga mulimu n’abenju ye. Okumulumba mu kibinja kirina kukolebwa nga ekisembayo

(ix) Ekyo bwe kigaana muyite oba mumutwale mu basawo abakugu ab’embeera z’ebirowoozo ebikyankalamu.

(x) Tosamwassamwa na bigambo ku buzibu buno nga obitambuza wano na wali ne mu bekitakwatako oba abatalina kye bayinza kuyamba.


Okuyamba omutiini n’omuvubuka avudde mu mbeera

Buli muzadde oba omukuza alina okumanya engeri y’okuyambamu omuvubuka ali mu mbeera y’okwennyika oba nga mu buzaale bwe mukyankalamu.N’awe omuvubuka olina okumanya engeri gy’oyinza okuyamba muvubuka munno oba omuntu omukulu alina ekizibu okufuga embeera ze ez’obuntu Okwennyika mu bavubuka naddala abatiini tekikwata bukwasi ku kuva mu mbeera kumala kaseera katono naye kikosa obulamu bwe bwonna era singa tewabaawo kikolebwa kuyamba mwana ono okuva mu mbeera eno ey’okwennyika kiyinza okuviirako ebizibu bingi , omuli okuddirira mu kusoma , okukozesa ebiragalalagala eby’akabenje , okwekatankira omwenge, ebikolwa eby’obukambwe , obumenyi bw’amateeka ,omuli n’ obutemutemu oba omwoyo w’okwetta.


Ekirungi kwe kuba nti okwennyika oba okuva mu mbeera okwa buli kika kuyinza okuwonyezebwa era ggwe nga omuntu , ow’omukwano, omuzadde, omukuza, oba omusomesa ow’obuvunaanyizibwa , kikwetagisa okumanya bintu ki bw’oyinza okukola okuyamba omuntu yenna aba avudde mu mbeera , naddala okwennyika oba ebirowoozo.


Kino kikwetaagisa okufuna obumanyirivu mu bubonero bw’okwennyika oba obw’embeera z’ebirowoozo endala embi ez’enjawulo omuntu z’ayinza okuyingiramu. Bino bya mugaso nnyo , si eri abakuza bokka naye ne bw’oba muvubuka oba mutiini nga oyita mu mbeera erimu okwennyika oba nga oyagala okuyiga engeri gy’oyambamu ow’omukwano ali mu mbeera ng’eyo.

Sooka okimanye nti emyaka egisinga okuba emizibu mu bulamu bw’omuntu gy’emyaka egy’ekitiini, okuyita mu gy’ekivubuka , okutuuka ku gy’ekikulu. Okwennyika mu myaka egy’ekitiini kuyinza okuviirako enneeyisa y’omuntu okukyankalanira ddala awatali kudda mabega ppaka lw’akaddiwa , okujjako nga waliwo ekikoleddwa okumuyamba. Ayinza okubeera awo obulamu bwe bwonna nga yekubagiza, talina ssuubi , musunguwavu, ava mangu mu mbeera ate kino nakyo n’akirandiza mu baana be , ne kifuuka nga ekikolimo ; naye nga ate si kikolimo.


Obubonero bw’okwennyika mu bavubuka


Kavubuka oluusi areetera abavubuka abamu okunyigirizibwa okw’enjawulo , naddala kubanga baba bakyetaaga okuyiga engeri y’okweyisaamu n’eyokukolamu ebintu ebyetaagisa mu ntabaganya naye ate nga omubiri gukyali mu mbeera ey’obutonde(state of nature).


Mu mbeera ey’obutonde omuto aba ayagala okukola buli ky’ayagala ne bwe kiba kiyingirira edembe ly’abalala , awatali kukubwa ku mukono era okugezaako okumukugira okukola buli ky’ayagala nga bw’akyagadde ne w’akyagalidde kye kimu ku bintu ebisooka okumujja mu mbeera n’okumutuusa ku kwennyika singa omuzadde, omusomesa , oba omukuza aba si mutendeke mu ngeri ya kukuzaamu mwana okumujja mu mbeera gy’azaalibwamu ey’obutonde. Naye era okumuboggolera ,okumuswaza n’okumulaga obusungu wakati wakati mu kumujjamu embeera ez’obuto era kiyinza okwongera obwongezi okumujja mu mbeera ez’obuntu.


Buno wansi bwe bubonero kw’oyinza okulabira omuvubuka oba omutiini avudde mu mbeera :

 Entondo  Okwekyanga  Okwekandula(rage)  Okunakuwala  Okubulwa essuubi  Okuba ng’abeera mu maziga buli bbanga  Okwejja ku mikwano n’abantu abamu, ng’abeera yekka awatali bo b’ayagala  Obutayagala kwenyigira mu bikolebwa eby’awamu  Okukyusa endya n’ebiseera eby’okwebaka  Obutatereera n’okukalambira ku kintu  Okwetya  Okwekubagiza  Okwesaasira  Obutaba mukyamufu  Okulabika nga omukoowu atalina maanyi mu mubiri  Obuzibu okuteeka ebirowoozo ku kintu oba omulamwa  Okwerabirarabira  Obulumi obujja embagirawo nga omutwe oba olubuto naddala nga abasawo bakebedde nga tebalaba kibuleeta.  Okusunguwala oba okukuulako waya amangu  Obutasaagirwako.


Singa omwana oba omutiini abeera mu mbeera ey’okwennyka ne watabaawo kikolebwa:

• Alemwa okuteeka ebirowoozo ku musomesa by’aba asomesa ku somero ate nga namaanyi talina, yerabirarabira, tajjukira mangu era ekivaamu kwe kuddirira mu misomo. • Ayinza okudduka awaka. Okukola kino kuba nga kwekalakaasa okusobola okufuna okufiibwako n’okukyuusa embeera ye gy’alowooza nti y’emuviirako obuzibu bw’alimu. • Okwekatankira ebiragala n’omwenge ng’alowooza nti kino kimuyamba okukkakkanya embeera gy’alimu ey’okwennyika. • Okwetya ng’alowooza nti tewali asobola kumufaako oba okumuwuliriza olw’endabika gy’alimu. • Obwenzi oba obwa malaaya • Ebikolwa eby’obukambwe ku balala yadde baana bannabwe. • Okutabuka omutwe • Okulowooleza mu kwetta. Kino tekitera kubaawo naye kisobola okubaawo mu Bantu abamu.


Obubonero obw’okwagala okwetta

Okusobola okuyamba omuntu ali mu mbeera ey’okwagala okwetta oba okufa olina okunnyonnyoka obubonero bw’embeera eno , omuli :

• Omuntu okwogera ng’asaaga ku kwetta ng’alabika akitegeeza • Omuntu okugamba nti “ng’enda kwekola ekintu” nga waliwo embeera emukyankalanyizza. • Omuntu okugereesa ku kufa ng’araga nti okufa kisinga obulamu. • Okuwandiika ku kufa oba okwetta • Okubeera mu mbeera ey’akabenje nga okunywa enjaga, omwenge ne kimuviirako okuba ng’alwaanalwaana nnyo ne banne oba awakula entalo n’obutabulako binuubule na bubenje. • Okwegabako ebibye naddala eby’omuwendo • Okusiibula abaagalwa be ne mikwano gye mu ngeri etategeerekeka. • Okweyunira ebissi, ebiragalaagala , oba engeri endala ey’okwetta nga okwesuula mu motoka oba mu nnyanja.

Okuyamba Omuvubuka oba omwana eyennyise

(i) Mulage nti ofaayo gy’ali era w’oli okumuyamba mu mbeera zonna awatali kuddirira . (ii) Wesonyiwe eby’okumukangavvula oba okumunenya wabula mukwate mpola nga omulaga omukwano . (iii) Gezaako nga bw’osobola okumuwuliriza ye by’agamba mu kifo ky’omumunenya oba okumukangavvula. (iv) Togezaako kumugamba nti akomye okwennyika kw’alimu oba nti byayogera oba by’akola bya kisiru, wabula gezaako nga bw’osobola okulaga nti otegeera okunyigirizibwa kw’ayitamu era olage nti nawe kikkola bubi. (v) Kola enteekateka mangu omwagala wo okulaba omukugu mu ndwadde z’ebirowoozo ebikyankalanye n’okwennyika. (vi) Nga omulwadde wo ali mu kujanjabibwa omukugu, kyolina okukola kwe kulaba ng’omulaga nti w’oli ku lulwe era omuyamba era atwalibwa okuba nga wa mugaso alina okufiibwako. Kino okikola okuyita mu :  Kulaga nti otegeera embeera gy’abadde ayitamu . Okubeera n’omuntu eyennyise kintu kizibu nnyo naye olina okumanya nti omuntu wo waliwo ekimutuusizza ku kizibu ky’alimu , olage obugumiikiriza n’okutegeera embeera ye.  Mukubirize okukola dduyiro. Nga okutambulako naye , okuzannyako n’abalala, okuvuga akagaali, , n’ebirala.  Musikirize okubeera mu bantu. Laba nga abeerako mu mikwano era abudabudibwe ng’ali mu banne.  Goberera enzijanjaba gy’afuna. Laba nga agoberera ebiragiro ebimuweebwa abakugu mu kumujjanjaba era eddagala eriba limuweereddwa olabe nga alimira mu biseera ebigere.  Obubonero bw’okwennyika bwe buba bugenda mu maaso, tegeeza omusawo.  Naawe wefeeko. Okusobola okuyamba omulwadde wo, nawe olina okwefaako okulaba nga oli mulamu bulungi . Wegendereze ekwennyika kw’omwagalwa wo n’awe kuyinza okukosa embeera yo.Laba nga olya bulungi, webaka bulungi ekimala , n’okwewummuzaamu mu bikusanyusa.  Buulirako abaagalwa bo abategeevu basobole okukugumya nga ojanjaba omulwadde wo.  Tokweka ba nju yo buzibu buliwo. Bw’oba nga olina omwana awaka eyetaaga obuyambi okudda mu mbeera ze ez’obuntu , n’abawaka abalala bategeezeeko nti munnabwe alina ekizibu ekyetaagisa okujjanjaba mu ngeri ey’enjawulo baleme kulowooza nti oli mu kutinkiza na kutiitibyako omu.  Abaana abalala tobasuulirira nga ojanjaba omu. Abaana abalamu nabo olina okubalaga nti obafaako kubanga ebirowoozo byonna bw’obiteeka kw’omu ate nabano bayinza okuva mu mbeera.  Wewale okusala omusango. Oyinza okweteekako omusango oba n’oguteeka ku muntu omulala mu nju. Kino kya kabenje nnyo kubanga kyongera kusajjula kiwundu kya mbeera eba eriwo mu maka.


Okufuga obusungu


Oyinza okuba nga oli mukulembeze mu maka, mu ntabaganyo, mu kitongole oba omusomesa ow’ obusungu oba nga olina omwana nga mu buzaale bwe wa busungu . Ky’olina okukokola okukkakkanya obusungu , kwe :

• Okumanya embeera evaako okusunguwala: Bw’oba Taata oba maama mu maka , oba omukulembeze mu ngeri endala yonna , wewale okunyiigira buli mwana , mukyala wo oba omuntu omulala yenna ky’akola kubanga okunyiiga kuviirako ebikolwa eby’obukambwe nga okutulugunya n’okutta mu butanwa oba obugenderevu. Ng’osazeewo okubonereza omwana sooka wefumiitirize era okakase nti kyetaagisa ate nga tokikola mu busungu. Bw’oba okyasunguwadde sooka otambulemu obusungu bukkakkane olyoke omubonereze mu ngeri ensaamusaamu etamutuseeko buvune ku mubiri.

• Okumanya nti singa omwana omutusaako obuvune mu kumubonereza oba ozzizza omusango era Poliisi ekusiba yadde nga ggwe omuzaala ate naye ayinza okukula ng’alina obukyayi gy’oli. Manya nti ggwe oli mu kukaddiwa ate ye ali mukukula ; wewale okukyayibwa abanaakulabirira mu bukadde bwo.

• Kakkana: Kizibu okusigala n’obusungu nga okkakkanye . Singa oba ofuze obusugu bwo, oba osobola okukola ku nsonga z’abantu bo, n’obuvunaanyizibwa awatali kubatusaako buvune bwa mubiri oba mu birowoozo.Okukkakkana , va awali abantu ofune okussa okuwanvu kyokka mu bwongo bwo okkirize nti “bibaawo”. Awo oba otandise okwefumiitiriza okutuuka ku ky’okukola eky’amagezi.

• Kola dduyiro: Oyinza okuteekamu jjaze ey’emizannyo n’ofuluma okukola dduyiro nga odduka mpolampola , oba ovuga akagaali k’emizannyo, oba nga otambulako . Okukola dduyiro kiyamba okukkakkanya obusungu oba embeera eya kawereege mu mubiri. Bw’okola dduyiro omubiri gwo gufulumya ebikemuluzi(hormones) ebiyitibwa enzikakkanya(endorphins) ebiyamba okukujja mu kiwuggwe n’otereera ebirowoozo.

• Wewale olusirika: Kizibu nnyo okwogera n’omuntu akunyiizizza k’abe mukyala wo, mwami , abaana bo, muzadde wo oba omuntu omulala yenna , naye ate mu kwogera mulimu eddagala okusinga okusirika . Bw’oba osazeewo okwogera yogera ku bintu ebizimba so si ebyabuluza , bwe kiba kyetaagisa funa omuntu gwe wesiga akuyambe mu kino; ono aba muzzang’anda.

• Kyuusa endowooza yo: Kkiriza nti tewali kizibu kitavaawo . Waliwo abantu abamu nga bbo balaba kazigizigi yekka mu maaso (pessimism) . Tandika okukkiriza nti obulamu bulimu ebiwonvu n’ebikko; buli nkuba lw’etonnya manya nti omusana gulina okwaaka, n’olwekyo embeera eriwo egenda kuvaawo.

• Oyinza n’okugendako mu bakugu b’ebirowoozo ebikyankalanye.

• Ebyo byonna nga biremye manya nti waliwo oyo ataremererwa; ye Katonda. Mwekwase ajja kuzza mu mbeera ey’essanyu !