Okufumuuka n'Okutondowala (Evaporation and condensation)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga

"Okufumuuka" tekikyategeeza kudduka mbiro wabula kati kitegeeza kufumuuka(evaporation) kwa mazzi nga gabugumye ne gafuuka "enfuumo y'amazzi"(water vapour).

Amazzi bwe gabuguma "amasoboza aga nabbugumya" (thermal energy)gagaleetera okujugumira(vibration), ekintu ekigaleetera okwokya. Ekiva mu kwokya bwe buzibba oba molekyo y'amazzi okwetaggulula ne gatandika okufumuuka(evaporating) ng'omukka (gas).Ekyo ekirabika nga omukka nga kifumuuka ky'ekiyitibwa "enfuumo"(Vapour).

Enfuumo y'amazzi bw'etuuka mu bwengula n'etomera ebire oba ekintu kyonna etandika okutondowala (to condense).Okutondowala mu essomabuzimbe(physics) kitegeeza "okufuuka ettondo ly'amazzi"(turning into a water drop) agatonnya wansi ng'amatondo.

The act of water vapour(enfuumo y'amazzi) turning into water drops(amatondo) is what we refer to as okutondowala(condensation) in scientific Luganda.

Bivudde eri Muwanga Charles