Jump to content

Okugandawaza n'okuyugandawaza obuyivuwavu(gandanisation and ugandanisation of academics)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okugandawaza obuyivuwavu

"gandananisation" of intellectualism/academics

[kyusa | kolera mu edit source]

Obuyivuwavu kiva mu bigambo "obuyivu ekiwanvu". Omuntu ayinza okuba nga asomeyoko oba nga muyivu naye nga si muyivu kiwanvu. Omuntu amanyi okusoma aba munyukufu(literate) kyokka omuntu omunyukufu yadde amanyi okusoma naye nga atwala biseera kusoma bitabo oba ebiwandiiko eby'enjawulo asigala si muyivu . Mu butuufu n'omuyivu bw'alekera awo okunoonya okumanya ng'asoma ebiwandiike eby'enjawulo mu biseera bye eby'eggandaalo atwalibwa okuba nga si muyivuwavu.

Okugandawaza buyivuwavu kikwata ku boogezi b'oluganda:

(i) Okuwagira mu ngeri yonna okulaba nga olulimi oluganda luzimba emiramwa gya sayansi egy'etaagisa okugifuula olulimi olwa sayansi. Waliwo aboogezi b'Oluganda abamu ate bbo abagezaako okulemesa olulimi lwaffe olw'obu jajja okukulaakulaa olw'okuba bbo si be bakitandise. Ekyo tekijja kuyamba lulimim lwaffe kkulaakulana .ffenna tukwatire wamu twegatte era tuwagire mu ngeri yonna buli omu alina ky'akozeewo okukulaakulanya Oluganda mu kwogera okwa sayansi.

(ii) Okufaayo okuba abasomi b'ebitabo byonna ebiyigiriza ebya sayansi n'ebitali bya sayansi kubanga obutayagala kusoma bitabo oba biwandiiko eby'enjawulo y'ensigo y'obutamanya mu ggwanga.

"Okuyugandawaza obuyivuwavu" (ugandanisation of academics)

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuyugandawaza obuyivuwavu kikwata ku boogezi b'ennimi za Uganda zonna:

(i) Okuwagira mu ngeri yonna okulaba nga ennimi zaffe ez'ekinnansi zizimba emiramwa gya sayansi egy'etaagisa okugifuula ennimi zaffe zonna nga n'oluswayiri mw'olutwalidde okuba eza sayansi. Waliwo abaddugavu abamu ate bbo abagezaako okulemesa ennimi zaffe ez'obuzaaliranwa okukulaakulaa olw'okuba bbo balowooza nti ennimi ez'ebulaaya nga Olungerza ze nnimi eza sayansi zokka. Ekyo tekijja kuyamba nnimi lwaffe kkulaakulana .ffenna tukwatire wamu twegatte era tuwagire mu ngeri yonna buli omu alina ky'akozeewo okukulaakulanya ennimi zaffe eza Uganda mu kwogera okwa sayansi.

(ii) Okufaayo okuba abasomi b'ebitabo byonna ebiyigiriza ebya sayansi n'ebitali bya sayansi mu nnimi zaffe ez'obuzaaliranwa ne mu Lungereza kubanga obutayagala kusoma bitabo oba biwandiiko eby'enjawulo y'ensigo y'obutamanya mu ggwangga lya Uganda