Jump to content

Okuggwamu amaanyi(Discouragement)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Discouragement

Embeera y’Obuntu ey’Okuggwamu Amaanyi (the emotion of discouragement).

Obugunjufu kikwata ku kumanya obuvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’okuggwamu amaanyi oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo.

Embeera eno eviirako omuntu okuggwamu essuubi .Buli lw’olowooza nti waliwo ekikuziyiza oba ekikulemesezza okutuuka ku ky’oyagala, ofuna okuggwamu amaanyi era kino kiyinza okukuleetera okuggwamu essuubi . Okuggwamu amaanyi kikosa obulamu bwo bwonna kubanga toba musanyufu. Era kiyinza okukuleetera okwennyika kubanga tolaba ngeri ki gy’ova mu bizibu byo. Ky’olina okumanya kwe kuba nti tewali mbeera ya lubeerera.