Okukongola kasooli

Edda mumyaka egy'ensanvu n'egyekinaana (1970s to 1980s) kasooli twali tumukongoza ngalo okuva ku ndebe npaka ku kutiiya, olusi nga bwaba mungi kangambe ekutiya emu kubiti n'okweyongerayo twakozesanga miggo nga ali mukutiya n'okuba okutuusa bwava ku bikongoliro
Okukongola n'engalo
[kyusa | kolera mu edit source]kyatwalanga obudde bungi kasooli okuva ku bikongoliro nga okozesa engalo nga ogya kugyako mpeke ku mpeke emu kwemu ekyavirangako engalo okufuna amabavu.
Olw'obulumi obwavanga ku mabavu abantu kyabawaliriza nga okuwumula ebanga eddene nga nga tebakongola, okufuna obujanjabi kubiwundu oba obulumi bwengalo okuweweramuko.
Kino ate kyatalanga obudde bungi okukongola kasooli okuwera.
Ebirungi
[kyusa | kolera mu edit source]Mpozi ekirungi kugyo kasooli yali tabeeramu kasaniko nakamu era nga abera munyirivu era tewabanga manyi malala gatekebwamu kuwewa.
Olwokuba tewalinga kyakukola ng'ogguma okutusa bwomala.
Kyayamba nga omuntu okuba nga oli muzza nganda oba okuba omuntu wabantu kikuyambe okufuna abantu abakukwasizangako mu biseera eby'okukongola.
Mukino kyaleteranga abantu okuzaala ennyo olwokwagala okufuna omuwendo gw'abantu abango mu maka gabwe balyoke bangange ebizibu by'emirimu nga egyo okugeza okukongola kasoli nebirara.
Okukuba kassoli nga mukutiya kyalinga kyangu okusingako ekyokukongola n'engalo lwaki?
nga ofuna ekutiya etaliko kituli kyona n'otekamu kasooli akaze obulungi kubikongoliro nomutekamu nga wakigero nosibako awo oluvanyuma nolyoka otandika okukuba n'omuggo. Era wano wakubanga kasooli ono nga bwokyusa eludda olulara olwekutiya emirundi egiwerako nga nti oyagala buli wamu wakubwe era awo n'omugyamu eyasigalangako kubikongoliro awo ab'engalo nga ba mukongola okumumalako.
Ebibi
[kyusa | kolera mu edit source]Kasooli w'okukuba mu kutiya yasigalangako kubikongoliro so nga ate wakudibwamu okukongolwa ab'engalo.
Yasigalangamu obukongoliro obukutusekutuse nga bwakuwewa
Ebyobyona nga bitwala obudde bungi.