Okukunuukiriza n'Okuzingako namba

Bisangiddwa ku Wikipedia

"Okukunuukiriza"(approximation) kitegeeza "okugezaako okutuuka ku kintu naye nga obulako katono okukituukako oba okukikwatako". Muwanga yakijja mu kugaziya makulu(semantic extension).

Engeri emu ey'okukunuukiriza namba oba emiwendo kwe "okuzingako namba"(rounding off a number) nga ogizingirako ku:

(i)Kkumi erisingayo okuba okumpi

(ii)Ekikumi ekisingayo okuba okumpi

(iii) Olukumi olusengayo okuba okumpi

(iv)Obutundutundu bw'ekkumi obusingayo okuba okumpi

(v) Obutundutundu bw'ekikumi obusingayo okuba okumpi

(vi)Obutundutundu bw'olukumi obusingayo okuba okumpi

n'okweyongerayo


From IALI NGO with authority from terminologist Muwanga Charles.

Okukukunuukiriza n’okuzingako

    (Approximation and rounding off numbers)

Okukunuukiriza (estimate) kikozesebwa nnyo mu kibalangulo ne mu bulamu bwa bulijjo.

Oyinza okuzingako omuwendo gwa sente, ebiseera, olugendo (distansi), n’endagabungi (quantities) endala nnyingi. Okuzingako (rounding off) ngeri ya kukunuukiriza. Oku zingako emitonnyeze: 

i. Funa omuwendo gw’ekifo (place value) gw’oyagala okuzingako olwo otunula ku digito eziddako ku ddyo.

ii. Singa digito (digit) eba wansi wa 5, tokyusa digito ezingako (rounding digit) kyokka suula digito zona eziddako ku ddyo.

iii. Singa digito eba esinga ku 5 gattako emu ku digito ezingako osuuule digito zonna eziddako ku ddyo.


Okuzingako namba enzijuvu


Okuzingako namba enzijuvu (whole number) :

i. Zuula omuwendo gw’ekifo gw’oyagala (digito ezingako) olyoke otunuulire digito eddako ku ddyo.

ii. Singa digito eba wansi wa 5, tokyusa digito ezingako (rounding digit) kyokka kyusa digito zonna eziddako ku ddyo wa digito ezingako ozifuule ziro.

iii. Singa digito eyo eba 5 oba okusinga wo, gatta emu ku digito ezingako bw’omala okyusa digito zonna ku ddyo wa digito ezingako ogifuule ziro.

Mu namba 785 . 3862 :

1000 y’esingayo okubeera okumpi mu nkumi

790 y’esingayo okubeera okumpi mu makumi

785 y’esingayo okubeera okumpi mu nsusuuba

800 y’esingayo okubeera okumpi mu bikumi

785.4 y’esingayo okubeera okumpi kimu kye kumi

785.39 y’esingayo okubeera okumpi mu kimu ku kikumi

785.386 y’esingayo okubeera okumpi mu kimu kya lukumi


Okukunuukiriza oba olina okuba n’obusobozi okuteebereza n’osemberera ansa entuufu kintu ekikozesebwa ennyo mu kibalangulo ate ekyangu ennyo mu bulamu obwa buijjo

Ebikunizo

Zingirako buli namba ku kigo ekimsabiddwa

1) Zingirako 6,329 ku kikumi .Ansa: 6,300

2) Zingirako 646 ku kifo ky’ekumi . Ansa 650.

3). Zingirako 91, 480 ku kifo ky’olukumi . Ansa 91,000