Okulowooza okusegeevu n'Okulowooza okugereefu(Concrete and abstract thinking)
Okulowooza okusegeevu (Concrete thinking) n’okulowooza okugereefu (abstract thinking) okusinziira ku Charles Muwanga.Sooka omanye enjawulo wakati w'emiramwa gino esatu:
(i) Okusegeera(sense perception)
(ii) Okugereesa (to theories, to guess)
(iii) Okutegeera (to understand objectively)
Weetegereze:
(a)Omuntu agereesa aba teyesigamye ku kutegeera kituufu kyennyini wabula okujjakookukozesa obwongo bwokka awatali kunoonya nkakaso(proof).
(b)Okusegeera kiraga kwesigama ku nketteso(body sense) emu yokka.
(c)Okutegeera kitegeeza kwesigama ku nketteso z'omubiri zoona ettaano awamu n'okulambika ebirowoozo(inductive reasoning).
Omuntu alowooza mu busegeevu atunuulira essinzizo nga ekizimbe obuzimbe naye oyo alowooza mu bugereefu atunuulira essinzizo nga ekifo ekiraga obutonde bw’omuntu kalimagezi alaba Sabagezi, Namugereka, Katonda mu kibalo ne sayansi ali emabega w’obutonde n’obwengula.
Katonda oyo ali emabega wa sayansi n’ekibalangulo ekiri emabega w’obutonde agereesebwa okuba ow’ekyewuunyo, asaanidde okutenderezebwa mu kifo eky’enjawulo ekiyitibwa essinzizo.
Kino kitegeeza nti okulowooza okukoma ku kusegeera, kukoma kw’ekyo ky’olabako n’amaaso go, ky’owunyiriza n’enyindo zo, ekisensera olususu lwo nga okikutteko, ky’owulira n’amatu go; ezo ze fakikya (facts). Yadde nga okulowooza okusegeevu nakwo kulimu enkola za mulegera, kukoma ku fakikya eziba zisegeddwa sensa.
Okulowooza okugereefu (abstract thinking) kwetaagisa okukozesa obwongo oba omulengera gwo okusobola okufuna amakulu amakusike agali mu fakikya z’osegedde ne sensa zo. Abasegeevu (concrete thinkers) bafuna ekifaananyi kimu mu kintu ekiri awamu ate abalowooza abagereefu (abstract thinkers) balina ebifaananyi bya njawulo ebiri emabega w’ekintu ekiri awamu.
Okulowooza okugereefu kwekuusuza ku kutaputa makulu ag’enjawulo g’ojja mu fakikya z’osegedde n’ennyindo, amaaso, olulimi, okukwatako oba okulegako. Okulowooza okugereefu bwe kuba nga kwekuusiza ku birowoozo, okulowooza okusegeevu kwekuusiza ku fakikya zokka nga bw’oba ozisegedde oba ka tugambe nga bwe ziba ziketteddwa sensa z’omubiri.