Okulya ekisusse
Msamiati wenye maana ya neno kula. Kulya ni lugha ya kibantu yenye maana ya kula.
Okulya ekisusse
[kyusa | kolera mu edit source]Okulya ekisusse kitegeeza okulya ekisusse mu ngeri etali ya bulijjo. Endy ey'engeri eno, egambibwa okuba nti ereetera omuntu obuzibu mubiri gwe wamu ne ku bwongo. Olw'okuba nti omuntu alina kulya mu ngeri eya bulijjo, oyo alya n'asukka ku ngeri abantu abalala gye balyamu mu ngeri eya bulijjo, alabibwa ng'alimu obulwadde.[1]
Engeri z'obulwadde buno
[kyusa | kolera mu edit source]- Binge eating disorder nga wano omuntu alya emmere nnyingi nnyo mu kaseera akatono
- Anorexia nervose, wano omuntu alya katono ddala era ne kimuleetera okukogga
- Bulirvia nervose, wano omuntu alya nnyo n'atuuka n'okwetamwa emmere
- Pica, wano omuntu alya n'ebintu ebitali mmere.
- Avoidant disorder, wano omuntu alya emmere nga talina kigendererwa.
Ekiviirako endya embi tekimanyikiddwa bulungi. Kiteeberezebwa nti, ebintu ebiri mu bwebulungulule bw'omuntu ne mu musaayi bisuubirwa okuba nga bye bimu ku biviirako omuntu okulya ekisusse, Obuwangwa bw'omuntu wamu n'engeri endala. Okulya ekisusse okw'engeri za Pica ne Rumination zisinga nnyo mu bantu abasomyeko.
Obujanjabi
[kyusa | kolera mu edit source]Obujjanjabi bungi obw'enjawulo ku ndya embi nga muno mulimu nga okwogerako n'abantu abalina obuzibu buno, okulya emmere erimu ebiriisa, okugenda mu malwaliro okufuna Obujjanjabi n'engeri endala.
Abantu abakwatibwa obulwadde buno
[kyusa | kolera mu edit source]Mu nsi ezaakula edda, obulwadde bw'okulya ekisusse obw'engeri ya Binge busumbuwa nnyo abakyala era nga abakyala abakwatibwa bali ebitundu 1.6% ate bo abasajja bali 0.8% buli mwaka. Anorexia buli ebitundu 0.4%, Bulimia buli ebitundu 1.3% era nga bwo butera kukwata nnyo abawala. Anorexia ne Bulimia businga kukwata nnyo abakazi okusinga abasajja wabula omuwendo gw'abantu abakosebwa engeri endala ez'endya embi tegumanyikiddwa.