Okumaanyuuka enviiri

Okumanyuuka enviiri[] kitegeeza omuntu okugenda ng'akuunyuuka enviiri ku mutwe oba okuva mu bitundu by'omubiri ebirala, naye ng'okusingira ddala ku mutwe. Okumaanyuuka oba okukuunyuuka kw'enviiri kuno tekutera kujja na obulumi oba okulekawo enkovu, newankubadde ng'abamu kitera okubaleetera okutaataagaanyizibwamu mu bwongo bwabwe.
Ekireetera okumaanyuuka kw'enviiri
[kyusa | kolera mu edit source]Mu bika by'obulwadde buno mulimu okukuunyuuka enviiri okw'abasajja, okw'abakazi, okumera ekiwalaata ssaako n'okuseenyuuka kw'enviiri. Ebiviirako abasajja okukuunyuuka enviiri kuliko ensonga ez'obuzaale ssaako obutaffaali obuba mu mubiri gw'omusajja. Kyokka yo mu bakazi ekiviirako ensonga eno tekyekakasika bulungi.
Ekireeta ekiwalaata
[kyusa | kolera mu edit source]Naye ekireetawo okumera ekiwalaata kisinga kwesigamizibwa ku ndya embi, nga n'eky'okuseenyuuka enviiri kisinga kuva ku kwerariikirira nnyo buli kiseera, ate era kitera nnyo n'okulabikira mu bakazi abali embuto.
Ebimu ku bireeta okukuunyuuka enviiri nga tafunye buvune bwonna kuliko: omuntu okuba ng'asikaasika nnyo enviiri ze, eddagala eritera okujjanjaba endwadde, okuba n'endwadde ya Mukenenya (Siriimu) ssaako endya embi, omuli n'obutaba na kirungo kya munnyo (iron) kimala mu mubiri. Kyokka byo ebireeta okumaanyuuka kw'enviiri okujja n'obulumi era n'okulekawo enkovu kuliko: endwadde ezireetebwa obuwuka gamba ng'ebiguuna, okuteeka omuntu mu byuma bye bakebeza endwadde, gamba ng'ekifaananyi (x-ray) n'ebirala.
Okukebera endwadde eno kisinziira ku kifo w'eba ekutte. Naye mu biyinza okuwonya endwadde eno kuliko okumanyiiza omubiri embeera y'obudde mw'oli, okukozesa eddagala ery'enjawulo, ssaako okulongoosa omutwe gw'omulwadde n'assibwako enviiri endala.