Okumanya okw'embagirawo(Intuition)

Okumanya okw’Embagirawo (Intuition) okusinziira ku Charles Muwanga !!
Okumanya oba okutegeera okw’embagirawo kuyamba nnyo omuntu okukozesesa “amagezi aga bulijjo/amagezi agajjirawo” (common sense), naddala mu kumanya nti waliwo ekikyamu ku muntu omulala era yetaaga kuyambibwa mangu ddala oba okumanya nti wakyayinza okubaawo obuvune. Kino tekiba kyebikiro naye ekyebikiro nakyo kiyinza okuba okumanya okwembagirawo.
Mu kumanya okwembagirawo, okufaanana ng’ebikolwa ebigerekere, tewali kusooka kulowooza wabula okutegeera kujjirawo. Okumanya okwembagirawo tekukontana na kikolwa kya kwefumiitiriza oba okwebuuza, kuba nakyo kikolwa kya bwakalimagezi ekiva mu magezi agawaggulu omuntu g’alina.
Ssinga obadde otambula ekiro nga waliwo ensolo oba omuntu omukyamu ali mu maaso gy’olaga “okwatibwa ensisi” oba “enviiri okukuva ku mutwe”, ekintu ekikulabula nti gy’ogenda mu maaso waliwo ekikyamu. Kuno kuba kumanya kwa mbagirawo, awatali kukirowoozaako oba okukiteekako ebirowoozo.
Omuzadde oba omuntu omulala yenna bw’asanga omwana nga yebase mu musana afuna okumanya okwembagirawo nti kirabika omwana ono mulwadde. Ate era bw’osanga omuntu atunula nga munakuwavu oba alabika ng’ali mu birowoozo ofuna okumanya okwembagirawo nti omuntu ono alabika alina ekizibu ekimujje mu mbeera ez’obuntu.
Ate ssinga oba ovuga emmotoka n’otuuka mu kkoona ofuna okumanya okwembagirawo nti eyo mu maaso oyinza okusanga ekikwekiise mu kkubo n’okendeeza emisinde n’obwegendereza. Okumanya okw’embagirawo kuno kukuyamba okukendeeza sipiidi ng’otuuse mu koona w’otolabira mu maaso gy’olaga.
Omuzadde oba omukuza asaanye ayambe omwana okukulaakulanya engerekera y’okumanya okw’embagirawo naddala:
• Okwewala obubenje
• Okwekuuma embeera ez’obulabe
Okumanya okwembagirawo kiraga nti waliwo ensibuko y’okumanya eya waggulu oluusi eteetaaga na kusooka kulowooza ku kintu. Bw’oba otambula n’osanga omukka ogunyooka mu nju ofuna okumanya okwembagirawo nti enju egenda kukwata muliro. Ssinga osanga omuntu ng’ayagala kubuuka okuva ku balukoni ku kalina ey’emyaliiro abiri ofuna okutegeera okwembagirawo nti aliko ekikyaamu ku bwongo kubanga ekikolwa ekyo kiyinza okuteeka obulamu bwe mu katyabaga.
Mu kumanya okwembagirawo mulimu n’olulimi lw’omubiri oba enjogezamubiri eyogerera mu bikolwa. Omwana omugunjufu ateekwa okuba n’obusobozi okumanya enjogezamubuli (body language). Ssinga osanga omuntu ng’akutte ku ttama, ofuna okutegeera okwembagirawo nti waliwo ekizibu ekiguddewo.
Singa osanga omuntuatakumanyi n’akugamba akutwareko mu motokayo, bw’oba omugunjufu wekengera era n’omuddamu n’obuntubulamu nga omwebaza kyokka okyalina gw’olinzeeko.
Okumanya okwembagirawo kusobozesa omuntu okuba omwegendereza n’okwekengera okusinziira ku ki kyalabye. Ssinga omusajja atali mufumbo asendasenda omukazi oba omuwala agende amukyalireko ewuwe olw’ensonga emu oba endala, omukazi omugunjufu afuna okumanya okwembagirawo ne yekengera nti oba oli awo omusajja oyo ayagala kumusobyako; wano omukazi oba omuwala ono ky’akola butagendayo oba kugendayo nga waliwo amuwerekeddeko.
Singa omusamize omusajja ayagala okufera omukyala oba omuwala amutuukiridde nga alina obuzibu n’amugamba yeyambule omwambulule ebibamba, omukyala ono, okujjako nga aliko ekikyaamu ku bwongo, aba afuna okumanya okw’embagirawo neyekengeraera mu kifo ekyo n’avaamu mangu nga bwe kisoboka oba okulaba engeri endala ey’okwetasa.