Okunywa

Okunywa kye ki?
[kyusa | kolera mu edit source]Okunywa kwe kumira ekintu nga amazzi, omubisi, sooda n’ebirala nga biyita mu kamwa. Okunywa, kikolwa buli muntu ky’akola buli olukedde. Omuntu asobola okunywa olw’ennyonta, olw’enjala, olw’okwesanyusaamu n’olw’ensonga endala.
Omuntu asobola okunywa mu ngeri ez’enjawulo.
Engeri z'okunywa
[kyusa | kolera mu edit source]
Okwekatankira
[kyusa | kolera mu edit source]Kuno kwe kunywa ennyo ekintu awatali kuwummuzaamu okutuusa ng’ekinywebwa kiweddemu. Omuntu asobola okwekatankira amazzi, sooda oba omwenge. Omuntu eyeekatankira ayinza okuba ng’akikola lwa mululu nga yeewala okuwaako banne oba ayinza okukikola olw’obudde okumuyitako.
Okwekatankira era kitegeeza okunywa ekiyitiridde mu ngeri ya lutentezi. Gamba oli ayinza okugamba nti gundi mu kifo ky’okukola yeekatankira bwekatankizi mwenge; nga kitegeeza nti omuntu oyo anywa buli lunaku.
Okukutamira
[kyusa | kolera mu edit source]Kwe kwe kufuba okunywa ekintu okutuusa lw’olaba nga kiweddemu. Omuntu ayinza okukutamira endeku y’omwenge, kuleeti ya sooda oba okukutamira akadomola k’amazzi. Omuntu akutamira eky’okunywa abeeramu amaddu n’obutakkuta oba obuteebalirira ku ekyo ky’anywa. Empisa eno eyinza n’okweyolekera mu bintu ebirala ebikolebwa omuntu oyo nga teyeebalira oba nga teyeepimira.
Okukubisa
[kyusa | kolera mu edit source]Kuno kwe kuteeka eky’okunywa ky’otayagala ku mumwa n’onywa nga tokiggyeeko okutuusa lw’olaba nga kiweddemu. Okukubisa kuli nnyo ku kintu omuntu ky’anywa nga takyagala ng’akinywa kweggyako; gamba nga omululuuza, kwiniini n’ebirala. Ekintu ekikubisibwa oli akinywa mu ngeri ya butaagala kuwulirirza kukaawa okwo okutuusa nga kiweddemu.
Olulala okukubisa kweyolekea mu baana abato oba mu bantu abakulu abataagala kugabirako bannaabwe. Gamba, oli ayinza okulengera munne ng’ajja n’akwata ky’abadde anywa n’akikubisa kyonna oli asange ng’amazeemu. Awo nno okukubisa olumu kwandyoleka obukodo oba omululu mu muntu.
Okunywa kkutukkutu
[kyusa | kolera mu edit source]Kuno kwe kunywa ekintu mu ngeri y’okukubisa. Enjawulo eriwo nti okunywa kkutukkutu kwo tekuli ku kintu kikaawa, kuli ku byokunywa birala. Okunywa okw’engeri eno kuba kwa mbiro era ng’anywa aba amirira ddala kingi.
Okunywa nkuba ejja
[kyusa | kolera mu edit source]Okunywa nkuba ejja kweyolekera mu banywi ba mwenge. Kiri nti oli bw’alaba ng’enkuba ejja afuba okukola kyonna ky’abaako mu bwangu. N’oyo anywa nkuba ejja, anywa ku mbiro za maanyi n’atamiira mu bwangu obw’ekitalo.
Okuwunzika eccupa
[kyusa | kolera mu edit source]Kuno kwe kunywa eccupa n’ogimalamu ne mutasigalamu wadde ettondo liti. Omuntu anywa n’awunzika eccupa aba munywi ddala, kubanga bw’amalamu eno ate n’akwata eri.
Okunywa n’ogangayira
[kyusa | kolera mu edit source]Kuno kwe kunywa omwenge omuntu n’atamiira nnyo ddala nga n’okweyamba tayinza kweyamba. Abantu abanywa mu ngeri eno be abo abateebalirira ku kye basobola kukola; kwe kugaba nga ne bwe kituuka ku kunywa tebamanya nti basobola kunywa mwenge kigero gundi.
Okunywa ng’osimba amannyo
[kyusa | kolera mu edit source]Kuno kwe kunywa nga omuntu tayasama bulungi era nga alinga atayagala ky’anywa oba nga alinga atabiriiko. Okunwa okw’engeri eno kweyolekera nnyo ku balwadde, ku baana abato ate ne mu bawala abaagala okwekoza. Kino abawala bakikoma mu ngeri nga baddira akaseke ne bakassa ku mimwa nge bagyasamyako katono ddala kumpi butaagala kuyingiza kaseke mu kamwa. Bwe baba balina ggiraasi, basikako tutono nnyo ddala nga balinga kumpi abakomba obukombi eggiraasi. Abawala baagala nnyo okunywa mu ngeri eno olw’obutaagala kulaga nti banywa nnyo oba nti bayinza n’okukubisa eky’okunywa kyonna. Kino bakikola lwa kwekoza.
Okugudula
[kyusa | kolera mu edit source]Kwe kunywa ng’omira kingi nga ne mu mumiro muwulikikamu eddoboozi eryeggunda. Kino abaana abato abakola omuzannyo be batera okukikola.
Ebisoko ebigendera ku kunywa
[kyusa | kolera mu edit source]Okunywa empewo: omuntu okweyagala nga mulimu n’okwewulira.
Omuntu okunywa mu banne akendo: okuwangula.
Okunywa ekintu obuzzi: obutazibuwalirwa mu kukola kintu.
Okunywa ku g’ennyanja: okubeera mu bizibu ebingi ennyo.