Okusitula obuzito mu mizannyo gya Olympics egy’omusana mu 1988 – Abasajja abazitowa kkiro 67.5
Empaka z'abasajja abazitowa obuzito bwa kkiro 67.5 ez’okusitula obuzito ze zimu ku mpaka z’okusitula obuzito ezaali mu mizannyo gya Olympics egy’omusana mu 1988, nga bassa ekkomo ku buzito bwa kkiro 67.5 ku bavuganya. Empaka zino zaaliwo nga 20 Ogwomwenda era abeetaba mu mpaka zino baayawulwamu ebibinja bibiri.
Buli musituzi yakola bulungi mu kusitula ebyuma okubijja wansi (Snatch) era n'okubyambusa waggulu (clean and jerk), ng’obubonero obwabaweebwa ku nkomerero bwagattibwa mw'obwo omusituzi bweyali asinze okukola obulungi mu buli muzannyo. Omuzannyi waweebwanga emikisa gya mirundi esatu okugezaako mu mizannyo gino ebiri; obubonero ku kusitula bwaweebwanga oluvannyuma lw'okusitula obulungi.
Angel Genchev yeyasooka kuwangula ku mutendera guno kyokka n'agibwaamu oluvannyuma lw'okukeberebwa n'azuulibwamu ng'akozesa eddagala lya furosemide . [1]