Okusumululwa okw'Omwoyo(Deliverance)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekiwandiiko kino kiva mu Katabo k'Omubuulirizi w'Enjiri ya Yesu Muwanga Charles ate Omunoonyerezi ku nkulaakulanya y'Oluganda.Akatabo kano kayitibwa "Ebyokulwanyisa eby'Entalo ez'Omwoyo" (The Weapons of Spiritual Warfare).


Omukristayo atasumuluddwa aba asinza Katonda mu mubiri, si mu mwoyo. Sooka webuuze nti oyagala kuba mukristayo wa kika ki? Alowooza ku kigambo kya Mukama ng’ali mu mwoyo oba mubiri? Agoberera ekkubo eggolokofu /etteeka lya Mukama oba ayagala okusalinkiriza (okuyita mu panya) okutambulira mu bukristayo naye nga talina Mwoyo wa Katonda?

Abantu bangi ekisooka okututwala mu kanisa biba bya nfuna oba kweraga mu bantu bannaffe nti tuli bantu ba Katonda, si kuzimbibwa mu mpisa za bwakatonda (christian character building). Tetumanya nti Katonda ayagala kusooka kutuzimbamu mpisa z’etutambulire mu bulamu obuwangula entalo ng’abalwanyi ab’omwoyo abasobola okulwana entalo ez’omwoyo n’ez’omubiri mu Mwoyo wa Katonda. Kuno kwe kusumululwa buli mukkiriza kwe yetaaga.

Tosobola kulwana n’owangula myoyo gya kizikiza (sitaani n’emizimu gye) nga tomanyi nsibuko yagyo   yadde okumanya nti waliwo agisinga, agirinako obuyinza obw’enkomeredde.

Abantu banji bakozesebwa oba okulumbibwa emyoyo egy’ekizikiza nga gyeyolekera mu bikolwa ebirabika okuba embeera ez’obuntu (human emotions). Embeera z’obuntu eza bulijjo bwe tuba tetufuddeeyo ku zifuga, olwokuba ze zirimu obunafu bwaffe obw’omubiri, obwogerwako mu Bagalatiya 5:19, ge gamu ku makubo sitaani g’ayitamu okutulumba.

KImanye nti waliwo enjawulo wakai w’ebigambululo (statements): “embeera ez’obuntu” (human emotions) ne “embeera y’omuntu (health condition ofa person) oba embeera z’abantu (economic conditions of people). Omuntu atasobolakufuga mbeera ze za buntu ayogerwako ng’omuntu ava amangu mu mbeera ez’obuntu (an emotional person).

Embeera z’obuntu (human emotions) Bayibuliz’eyogerako nga “obunafu bw’omubiri” (weakness of the flesh). Zino sitaani bw’aziyingiriramu mu bulamu bwaffe, zifuuka embeera z’obuntu ez’olutentezi (pathological emotions), olw’emyoyo gy’ekizikiza egy’obusungu, obujja, obukyayi, amalala, okuduula, okuswazibwa, okuboggoka, effutwa, enge, n’empiiga eby’olutentezi, okunokoolayo egimu. Emyoyo gino era oluusi giyinza okutulumba ng’ebirwadde oba mu bifaananyi eby’emizimu, emisambwa, emisangwa, amagiini, oba ebyokoola mu birooto oba butereevu nga tetuli mu kuloota, mu bifo ebimu. Emyoyo egy’ekizikiza giyinza n’okutusindikirwa abalabe baffe nga ebikolimo oba eddogo erisindika emizimu nga gyerimbise mu myoyo gy’abaagalwa baffe abaafa, nga mu ttuluba lino ne balubaale mwe bagwa.

Yadde nga Yesu yatulabula nti amaanyi ag’ekizikiza tegayinza kugoba maanyi ga kizikiza, abantu bangi abalumbiddwa emyoyo emibi egiyita mu basamize abalinnyibwako emmandwa, gino nga gy’emizimu gyennyini egikulemberwa sitaani, nga balowooza nti banaayambibwa wabula ne basigala nga bakootakoota mu ga lumonde ate nga n’ensimbi zabwe n’ebintu ebikalu babiwaddeyo. Yesu takusaba yadde ennusu oba ensolo ey’okusaddaaka okukusobozesa okugoba emizimu mu linnya lye.

Wetaaga okuyambibwa okuba n’obusobozi okulwana entalo ez’emyoyo egy’ekizikiza nga totawaanye kugenda ku ndagu, wabula nga weyambisa amaanyi ga Mwoyomutukuvu okuyita mu linnya lya Yesu.

Okimanyi nti naawe oyinza okweyisa butereevu ng’omusambwa oba omuzimu eri bantu banno singa okkiriza sitaani okukuyingizaamu omuzimu gw’obukyayi obw’olutentezi (pathological hatred), obujja obw’olutentezi (pathological envy), obulimba obw’olutentezi (pathological lying), okuboggoga okw’olutentezi (pathological temperament), effitina, okuduula n’okukudaala, effutwa, enge, n’empiiga eby’olutentezi? Mu butuufu, abamu abakozesebwa emyoyo egy’ekizikiza okukulumba baba bantu bo bennyini, mikwano gyo n’ab’enju yo (Soma Matayo 10:36; Zabbuli 55:12-19) b’olina okulaga okwagala era n’ofuna okwagala okuva gye bali kyokka ate ne bafuuka ensibuko z’obulumi mu bulamu bwo. Ekitabo kino kigenda kukulaga nti okusumululwa okw’omwoyo kitegeeza kubasonyiwa n’obasabira mu mukwano gwa Katonda. Mpulidde bangi nga bawaana abasamize, endagu oba abalogo be beyunira nga bwe bazuukusa emizimu gy’abafu ne bagisindikira abantu .Mu kitabo kino, ogenda kumanya nti tewali mwoyo gwa mufu guzuukusibwa wabula emizimu gyonna egitulumba okutukozesa okutukola oba okutukozesa obubi ku nsi kuno myoyo gya bamalayika abajeemera Katonda ne bagwa ne sitaani, eyali ssabamalayika mu ggulu era agikulira. Abasamize n’abo ababagula okugisindikira bantu bannaabwe baba baayingira mu ndagaano ne sitaani n’emizimu gye.

Omwoyo gwa sitaani ne bamalayika bano abaagwa (emizimu) kye gikola kwe kwerimbika mu kifaananyi ky’omuntu wo oba abantu bo abaafa osobole okugiwogomya ng’olowooza nti gino myoyo gya bantu bo abaafa.

Mu kwefuula kye gitali, emyoyo egy’ekizikiza mwe giyita okukukola obubi obw’omwoyo n’obw’omubiri n’abenju yo, n’ekigendererwa eky’okukusanyaawo. Ekitabo kino kikulaga engeri gy’oyambibwako amaanyi ga Mwoyo Mutukuvu ng’okoowodde erinnya lya Yesu, okugoba “empalirizo ez’ekizikiza” (dark forces) mu buli mbeera gye ziba zikulumbiddemu.


Kati nno waliwo sitaani b’akwata obwongo ne baba nga tebalaba mukono gwa Katonda ogw’amaanyi mu kyewuunyo ky’obutonde n’obulamu. Bano be bavvoola Katonda nga balowooza n’okukkaatiriza nga Katonda bw’ataliiwo. Ne bateebuuza ngeri ya kyewuunyo ebabezaawo ng’ebiramu ebirala byonna.