Jump to content

Okutulugunya abantu ku mikutu gya yintaneeti okusinziira ku kikula

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekifaananyi ekyatondebwawo UNESCO okulaga ezimu ku ngeri z’okutulugunyizibwa abakyala ze bayitamu ku yintaneeti

Okutulugunya abantu ku mikutu gya yitaneeti okusinziira ku kikula bugendereddwamu okutulugunya n’okusosola nga bayita mu tekinologiya eri bantu n'abakyala mu ngeri etasaana, ng'abasinziira ku kikula ky'abwe. Ekigambo kino era kifaananako n'enkola y'okutulugunya abantu okusinziira ku kikula ky'abwe nga biwagilwa tekinologiya ekya technology facilitated gender based violence, okusindikiriza abalala ku yintaneeti, okutulugunya ku mikutu gya yintaneeti n’okusosola mu kikula ku mikutu gya yintaneeti, naye ebigambo ebisembayo tebikwata ku kikula ky’abantu. Okutulugunyizibwa mu kikula ky’abantu kwawukana ku buno olw’embeera gye buleeta ku kusosola n’okutulugunya ku yintaneeti obugendereddwamu naddala olw’ekikula kyabwe, okusingira ddala eri abakyala. Emikutu gy’amawulire gitera okubuusa amaaso okutulugunyizibwa ku yintaneeti n’okutulugunya abakyala, ebisibuka mu nkola ezimaze ebbanga eddene ez’obuyinza bwa bajjajja n’okugoba abantu abasuuliddwa ku mabbali mu bifo eby’olukale. Emma Jane's "Misogyny Online: A Short (and Brutish) History eraga nti okutulugunyizibwa ku yintaneeti si kipya wabula kwegatta ku ebyo ebyaliwo mu kikula ky'abantu ezaali zimaze ebbanga (Jane, 2017). Agamba nti ebikolwa nga okwemulisa, okugabana, n'okwetaba mu by'obuwangwa kitegeeza nti abasajja abanyooma abakyala basobola okutuuka ku balabi abangi n'abawagizi abalina endowooza emu. Mu mbeera ezimu, ebibinja bino bisobola okukwasaganya okutulugunyizibwa, okusindika obulumbaganyi obuddiŋŋana eri abakyala. Mu ngeri eno, yintaneeti ekuza enkola ez’okusosola mu kikula n’okutulugunyizibwa ku yintaneeti (Jane, 2017) Okugatta kw'ebyo eby'ava mu mirimu gya Dr. Rajeev Yadav abyatuumibwa “Gender and its Digital Discontents: Decolonial Perspectives from the Global South” biraga engeri emikutu gya digito mu mawanga agakyakulakulana gye ginywezaamu ensengeka z’ebika n’endowooza z’amatwale. Bangi basanga okusoomozebwa n'okulabibwa ennyo, okubuusibwa amaaso, n'okuyigganyizibwa, nga bwe kirabibwa mu Buyindi n'abasasi b'amawulire abakazi abalumbibwa olw'ekikula kyaabwe n'eddiini zaabwe, oba mu Afirika abalwanirizi b'eddembe ly'abantu aba LGBTQ bwe bawanjaga okukumanyisa abantu n’obutalabika ku mukutu (Yadav, 2025) Emikutu gitondawo enkola ey'obwa sseluganda, okukolera awamu n’okwegatta mu bisinde nga: #PinjraTod ne #MeTooIndia, enteekateeka z’abakyala ku mikutu gya yintaneeti mu Latin America, n’emikutu gya LGBTQ+ egy’omu Afrika bakozesa emikutu gy’empuliziganya, okunyumya emboozi okusomooza okunyigirizibwa, okuzimba ebibiina byaabwe, n’okuwandiika obutali bwenkanya (Yadav, 2025). Enkola ezimu nga ebyuma eby'eyambisibwa mu kunoonyereza olumu bileetawo obuttakaanya, okuvvoola n'obulabe eri ebibiina ebinyigirizibwa okugeza omukutu gwa Google gw'andivvunula obulala obutonde n'elaagi y'omuntu. Mu ngeri y'okusoosowaza ennono y'amawanga g'ebulaaya eri obulungi, ekikula n'obuyinza enkola zino zikola okusinzira ku butya omuntu bw'ataputamu olulyo n'ekikula ky'omuntu (Jonker & rogers, 2024). Kino kya bulabe kubanga kinyweza endowooza enkyamu, kireetera abantu abatalina mwasirizi okutwalibwa ng'ebintu ebitalina bulamu, era kibalemesa okulabibwa n'okukiikirirwa ku mikutu gya yintaneeti.

Engeri ezikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutulugunya abantu ku mikutu gya yintaneeti okusinziira ku kikula kukolebwa mu ngeri ez'enjawulo omuli Okwogera ebigambo ebikwata ku by'obukaba ebitasaana, okusaasaanya ebifaananyi eby'obuseegu, okutiisatiisa, okusaasanya ebigambo ebitali bituufu ku muntu, okulondoola ku mikutu gye egy'enjawulo n’okutulugunyizibwa ku mikutu gya yintaneeti, n’okukozesa obufaananyi obuvvoola n’ebiwandiiko n’ebirala. Okutulugunya abantu ku mikutu gya yintaneeti kiva mu obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula ky’abantu naye nga buyita mu byuma bikalimagezi. Ebibinja ebisoomozebwa enkola zino mulimu abantu abatalina kwagala kwa mukwano eri ekikula kyonna, abalina okwagala n'omukwano eri abantu eb'ebikula by'ombi, ab'etaba mu mukwano ogw'ekikula ekimu. Okutulugunya abantu ku mikutu gya yintaneeti kuyinza okuyita mu ngeri ez’enjawulo. Okugeza okweyita ky'otali, okuyingirira kompyuta ey'omulala, okusindika obubaka obukyaamu, okulondoola n'okulingiriza, okusaasaanya obubaka oba ebifaananyi by'obukaba. Okuva yintaneeti lwe yatandikibwawo, kutulugunya abantu ku mikutu gya yintaneeti olw'ekikula kyaabwe kwalinnyira ddala enkandaggo. Wadde ng’okutulugunyizibwa mu kikula ky’abantu ku yintaneeti busobola okutunuulira omuntu yenna, bugendera ddala butereevu eri abo abeeyita abakyala. Obulumbaganyi buno n'okutulugunyizibwa bikolebwa mu ngeri nnyingi. Omukutu ogusinga okutumbula okutulugunya abantu ku mutimbagano gumanyikiddwa nga blogosphere . Kino kifo ekisingamu abasajja nga ba Bulooga abakyala bavumirirwa nnyo ku mukutu guno okusinga ba bulooga abasajja. Waliwo ebigambo ebitera okuwandiikibwa ku bibeera biwanikiddwa abakyala nga bino bivvoolera ddala abakazi. [1] Okutulugunyizibwa era kukolebwa ne munkola emanyikiddwa nga trolling . nga muno mulimu ebigambo ebinyooma n'okuvvoola ekikula ky’abantu, ebikuma omuliro mu bantu. Bino byonna bikwekeddwa ng'enkola ezitalina bulabe bwonna era ebitalina kigendererwa newankubadde nga bizaalaendowooza ezitali ntuufu ku bantu, obutabanguko, n’ensengeka z’obuyinza ez'esigamiziddwa ku kikula ky’abantu ezifuga ensi zombi ezitali ku mutimbagano ne ku yintaneeti. [2] Memes nazo ngeri endala eyitibwaamu okutulugunya abantu ku yintaneetii okusinziira ku kikula ky’abwe. Bino bifaananyi ebitondeddwa mu kkusaagirira okulaga ebisesa ebikwata ku kikula ky’abantu, okukabasanyizibwa, n’okusosola mu kikula ky’abantu ate nga bizannyibwa ng’ekintu ekisesa kyokka. Hashtags zikozesebwa okusobola okufuula okukomentinga n’emitwe egy’ekikula ky’abantu okusaasaana, oluvannyuma ne kiyingiza endowooza y’ekikula ky’abantu mu mikutu gya yintaneeti emikulu. [3]

Ebika eby'enjawulo

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kunnyonyola okugazi, waliwo ebika eby’enjawulo eby’obukutulugunya abantu ku yintaneeti. Ekika ekimu bwe butabanguko mu maka ku yintaneeti, ng’ababikola bakozesa yintaneeti okukozesa eby'ama by'ebalina ku bagalwa baabwe n'ekigendererwa eky'okubalumya. Era bakozesa ebifaananyi n’obutambi obw’omukwano okubateekako amaanyi n'obulumbaganyi eri abaagalwa baabwe. [4] Okunoonyereza okwakolebwa Sameer Hinduja ne Justin Patchin basobola okuteegera enkola eno bbo gye bayita "digital dating abuse," era bakizuula nti abayizi 28% abaali mu mukwano gw'okweganza omwaka oguwedde baali batulugunyizibwa mu ngeri eno. Abasajja (32%) baali batulugunyizibwa nnyo, bw’ogeraageranya n’abakazi (24%), era obutabanguko mu mukwano obutalabikira ku mikutu gya yintaneeti bwe bwasinga okuzuulibwa. Ebirala ebikulu ebyazuulibwa mwalimu akakwate ku kwennyamira, okuweereza obubaka obw'obukaba, n’okutulugunyizibwa ku mikutu gya yintaneeti . [5] Okulondoola ku mikutu gya yintaneeti kika kirala eky’obutabanguko obuva ku kikula ky’abantu ku yintaneeti. Kigambibwa nti abakyala 26% abali wakati w’emyaka 18–24 baategeeza nti baali balondolwa okuyita mu nkola yigganyizibwa nga bayita mu by’empuliziganya n'addala ebikozesa yintaneeti n'emikutu emigattabantu . [4] Okwekenenya ebiwandiiko okutegekeddwa gye buvuddeko okwakolebwa Puneet Kaur et al., kwazuula nti obungi bw’okulondoola ku mikutu gya yintaneeti tebutegeerekeka bulungi, ng’okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti emiwendo gya wansi nga 6.5% ate nga gya waggulu nga 46%; enjawulo eno ennene eyinza okuba nga evudde ku nkola ez’enjawulo ez’eyambisibwa mu kunoonyereza, okwetamwa okukola lipoota, n’okutuuka ku njawulo mu bibinja by’abantu. [6]

Okutulugunya abantu ku mikutu emigattabantu kiva ku bukyaayi eri abakyala mu bifo eby'enjawulo n’empisa z’obuwangwa ezilungamya obulamu bwaffe. Engeri ezikkirizibwa ez’okutulugunya abantu mu kikula mulimu okukwatagana mu buntu nga: obutabanguko mu bagalana, okutulugunya abantu ku nguudo, okusobya ku bakazi, n’ebirala ebyogerwako mu okutulugunya abakyala . Bino byonna bivuddeko okutondawo enkola z’okutulugunya abantu ku yintaneeti. Ebirala ebivaako okutulugunya abantu mulimu ebibanja by'okumitimbagano n’obutaba na mateeka gakugira okutulugunya n’effujjo ebikwata ku kikula ky’abantu mu bibanja bino.

Eby’obuwangwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Okukkiriza kw'abantu mu mpisa ezitwalibwa okuba ‘ez'obukyayi eri abakyala’ kulina kinene kye kukola ku bungi bw’okutulugunya abantu obuva ku kikula ky’abwe ku yintaneeti. Emisingi n’enzikiriza z’obuwangwa bitwalibwa okuva mu bitundu gy'abawangalira n'ebitwalibwa n'eku mikutu nga bikolebwa abo ab'enyigira mu nkola zino era abakkiriziganya n'enkola ey'okusiga obukyaayi eri abakazi. Abantu abakola effujjo ku bakyala nabo boolekedde okwenyigira mu ngeri z’effujjo ku yintaneeti. [7] Okuyita mu nsonga z'obuwangwa, abayivu bagamba nti tekinologiya mu kifo ky'okuleetawo obutabanguko ku mutimbagano, awa bantu mukutu mupya gwe bakozesa okutuukiriza bye baagala, ebimu ku byo nga mwe muli ebikolwa nganga doxing, okutiisatiisa, oba okulondoola abakazi. [8] Ebyobuwangwa era bisobola okuleetera ebikolwa eby'obukambwe okweyongera mu bantu singa abantu abatutumufu babikola oba ne babitwala ng'ebitalina kabi oba ebibi. Kino era kituufu singa ebikolwa eby'obukambwe eby'esigamiziddwa ku kikula bikolebwa ku bantu naddala abakyala abatutumufu n'aba abamanyikiddwa ennyo. [9] Ensonga zino ez'obuwangwa zisobola okuba n'akakwate akatono oba akanene okusinziira ku muntu aba akoleddwako oba embeera. Okugeza, ebikolwa by'obutabanguko mu maka biyinza okubaawo mu bintu ng'eby'obufuzi ng’endowooza ez’amaanyi ku mirimu gy’abakyala n' obukyayi eri bakazi w'ezikiikirirwa. Kino kizingiramu emisango gy'obutabanguko mu maka nga omuntu akosebwa ali mu byobufuzi oba okutiisibwatiisibwa n'okukola ebikolwa eby'obukambwe nga kiva ku kifo ky'obukulembeze. [10]

Enkola ya algorithm

[kyusa | kolera mu edit source]

Newankubadde empisa z'obuwangwa zimu ku nsonga ezireetera abantu okutulugunya abalala olw'ekikula kyabwe, enkola n’enneeyisa ku yintaneeti bisobola okuba ensonga endala ereeta enneeyisa ey’effujjo. Ebigambo by’olukale ku mikutu migattabantu nga Twitter ne Facebook bisobola biviirako abalala okukkiriza n’okugattako ebigambo byabwe ebirala. Mu mbeera y'okutulugunya abalala ku mutimbagano, ebikolwa by'abantu abalala bino biva ku kutiisibwatiisibwa oba abaanukula ebitali ku mulamwa gw'ebyo ebiba biwanikiddwa okutwalibwa ng’ebikkirizibwa oba nga bifuuse ebya bulijjo era nga bisinga kubeera mu feed y’omukozesa. [10] Okutulugunya abalala ku mutimbagano kusobola okuva ku nneeyisa y'abakozesa abalala; emirundi egisinga enkola z'oku mutimbagano "zinyweza" ebiwandiiko ebibi ne kibireetera okutuuka ku bantu abangi n'okufuna okuddibwamu okw'obukambwe. [11] Emisango egizuuliddwamu effujjo gye gikubirizibwa era ne gikula olw’endowooza z'obumenyi bw’amateeka awamu n’emisango nga enkola z’oku yintaneeti ze zivunaanyizibwa ku kukula kw’okutulugunyizibwa byombi by’ebyokulabirako by’engeri obutabanguko obusinziira ku kikula ky’abantu gye buyinza okusindikibwa ku mutimbagano.

Engeri gy'ebizimbibwamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutulugunyizibwa okumu okwesigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano kuleetebwa olw'okubeerawo kw'ebifo by'oku mutimbagano ebikozesebwa abantu abalina endowooza ezitaliimu nsa era ez'obukambwe ku bakazi. Enkola ezigaba ensengeka z’oku yintaneeti nga Reddit oba Tor zitera okufuuka ez’ettutumu mu bibinja ebirina ebirowoozo eby’obutabanguko oba abaagala okusigala nga tebamanyiddwa mannya. [12] Ebifo ebiri ku mutimbagano ebitali bya mannya bisobozesa subcultures nga incels okukula. Mu bifo nga bino, obukyayi eri abakazi n'ebirowoozo by'okusobya ku bakazi bitera okuteesebwako era ebifo bino bisobola okuyigiriza abantu ssekinnoomu nti ebikolwa n’enneeyisa ey’effujjo bikkirizibwa. Mu mbeera ezimu, enkiiko za incel zibadde n’omulimu mu kukubiriza enneeyisa ey’effujjo mu bammemba baayo. [13] Okusaasaana kw’ebigambo eby’effujjo n’eby’ekikula ky’abantu tekwawuddwa ku buwangwa bumu era kuyinza okufuuka okwa bulijjo n’okusomesebwa mu bibinja eby’enjawulo.

Obutali bwenkanya mu tekinologiya kiviirako ebikolwa eby'onusosoze mu bakazi. Abakyala bakuumibwa nga tebali ku mutimbagano olw’omulimu gwa digito oguyinza okukaayanirwa nti tegulina bukuumi ogubadde gulimibwa nga bayita mu nkola ezikyayisa abakyala, ez’obusungu, n’okutiisatiisa. [14] Enkola ezitwala abakyala ng’abatalina mugaso nnyo mu kuleeta amagezi n’okuba nga tebalina mugaso mu bantu zireetawo ebbanga mu kufuna amagezi ku yintaneeti nga kino kiva ku kuba nti abakyala bawulira nga tebalina bukuumi ku yintaneeti okwetaba mu by’okukola. Okuba nti abakyala n'abantu abalala abali mu mbeera embi tebatera kuba na bingi bya kuteeka ku mikutu gya yintaneeti kiremesa okukozesa obulungi yintaneeti.. [15]

Wadde nga Wikipedia kye kibanja ekisinga okukozesebwa ku yintaneeti, kireetawo obutali bwenkanya buno era tekikola ng'ekifo eky'okumanyisa abantu eky'obukuumi eri abakyala. Okwonoona n'ebituli okweyongera mu kumanya kikosa abakyala nga kikoma ku busobozi bwabwe okuyamba mu nsi ya digito era ne kiremesa okutambula kw’abantu nga bayita mu butafuna mawulire agakwata ku mawulire agakolebwa abakyala n’ebibakwatako.

Eky'okulabirako ky'obutafaanagana mu kikula ky'abantu obugenda mu maaso ku Wikipedia kirabikira mu kutaputa olulimi olw'ekikula ky'abantu, naddala ku biwandiiko ebikwata ku bakyala, nga mu kino enkozesa y'olulimi olw'ekikula ky'abantu (okugeza, "omukazi" oba "omukyala") kitegeeza ensengeka y'ekikula ky'abantu nga enzivuunula ya heteronormativity ekozesebwa ku biri mu kiwandiiko ky'ennyini. Enkozesa ng’eyo ey’olulimi olukwata ku kikula ky’abakyala ekosa okumanyibwa kw’ekiwandiiko ekyogerwako; ekiwandiiko kitwalibwa ng'ekisinga okweyoleka singa olulimi olukwata ku kikula ky'abantu lukozesebwa wamu n'ekintu ekimu ekituukiddwaako (okugeza, "meeya omukyala eyasooka"). Okukubaganya ebirowoozo ku bumanyifu bw’ekiwandiiko kya Wikipedia era kizingiramu obukulu bwakyo eri embeera endala eziri ku Wikipedia; ekiwandiiko kitera okuteekebwako akabonero okusazibwamu singa kiba tekijuliziddwa ku biwandiiko bya Wikipedia ebirala. Ekiwandiiko kya Wikipedia ekirina okumanyibwa okutono okusinziira ku ndowooza kitera okuteekebwako akalambe ak'okusazibwamu. [16] Alipoota eziraga nti abakyala bagamba nti okukola ku biwandiiko bya Wikipedia kintu kye batya kikulu nnyo mu kutulugunya abantu ku mikutu gya yintaneeti.. Women in Red, Ekibinja ky'abasunsuzi abeewaddeyo okulongoosa obutali bwenkanya ku Wikipedia nga bayita mu kutondawo ebintu ebikolebwa abakyala, kinnyonnyola engeri okufuba okuwandiika ebikolebwa abakyala gye kusoomoozebwa olw'okulagibwa nti si kikulu era ne kisembebwa okuggyibwawo.

Obutali bwenkanya mu kikula ku Wikipedia era bweyolekera mu butakkiriza basunsuzi abakyala okukyusa emiko egiriwo. Okunoonyereza kuzudde nti abawandiisi/ abasunsuzi abasajja b'ebasinga obungi mu bawandiisi ba Wikipedia ebitundu 70-80%. [17]Ensonga z'ebyokwerinda zikwatagana mu mboozi eno naddala eri abakyala abeetaba mu mirimu gino bawulira nga banyigirizibwa okubeera mu "kwekuniza" eri Wikipedia nga bakikola n'okwegendereza.[18].Kino kitegeeza nti abakyala basalawo okugatta ennongoosereza zabwe mu mitwe n'emiko egitayinza kuviirako kutulugunyizibwa kw'abawandiisi abalala. Okwetaba mu kutereeza ebiwandiiko bya Wikipedia kyetaagisa okwewaayo n'okukola wakati mu bulumi eri abakyala olw'embeera yaayo ey'okutulugunyizibwa n'okulamulwa ebireetebwa obutali bwenkanya obuliwo mu kikula ky'abantu. Okuvvuunuka ebiziyiza by'ekikula ky'abantu ku mutimbagano kuleeta okusoomoozebwa okubadde kukendeezebwa mu bifo ebirabika. Kwe kugamba, obutamanyibwa mannya n'obwangu ebikwatagana n'omugaso gw'emikutu gy'empuliziganya egya tekinologiya bisobozesa obusosoze obw'emabega okusaasaana ku mikutu egifulumizibwaako.

Obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano busobola okukosa enkulaakulana n'entegeera y'obwongo bw'abo abakoseddwa mu ngeri y'emu ng'obulumbaganyi obw'omubiri n'okutulugunyizibwa. Okwawukanako n'abo abalumbibwa mu buliwo, enkola za yintaneeti zisobozesa abakoseddwa okufuna ebikumi n'ebikumi by'okutiisibwatiisibwa n'ebigambo eby'effujjo mu kaseera katono. Kino kiyinza okuviraako okukosebwa okw'aaanyi okusinga bwe kisuubirwa mu misango gy'okutulugunyizibwa mu buliwo oba obutabanguko.[19] Okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti abakyala abava mu mawanga ag'enjawulo, abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu, n'abakozi ba LGBTQ+ batulugunyizibwa okuva eri abo abasosola abantu olw'ekikula ky'abwe, obusosoze mu mawanga, n'obufuzi bw'amatwale.[20]

Abavubuka by'ebayitamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu batulugunyizibwa abali wansi w'emyaka kuminamunaana, bye bayitamu n'ebibakosa bifaanagana. Wamu n'ebyo byebayitamu nga batulugunyizibwa ku mikutu gya yintaneeti, abavubuka basobola okufuna ebizibu eby'enjawulo okuva mu kutulugunyizibwa mu kikula ky'abantu ku mutimbagano. Kino kitera okulabika ng'obuzibu mu kuteekawo enkolagana ennungi oba obwesige oluvannyuma lw'okufuna okutiisibwatiisibwa okw'amaanyi.[21] Abavubuka era bayinza okutya olw'okwekuuma okuva eri obulabe oluvannyuma lw'ebikolwa by'obulumbaganyi ku mikutu gya yintaneeti era bangi tebakyetaba nnyo mu bibanja bya yintaneeti oba mu bikolwa olw'okutya nti ebikolwa bino biyinza okuvaako okwongera okutulugunyizibwaa eri oyo eyali atulugunyizddwako.

Bakulu by'ebayitamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebikolwa by'obutabanguko n'okutulugunyizibwa ku mutimbagano bisobola okuviirako abakoseddwa okwekukuma okuva mu bantu ne ku mutimbagano.[22] Abakyala abato abali wakati w'emyaka 18-24 bebali mu katyabaga k'okukosebwa n'okutulugunyizibwa ku mutimbagano okusinga abakyala abakuze mu myaka, oboolyawo olw'okubeera n'obudde obuwera nga bali ku bibanja by'omutimbagano eby'enjawulo era kibaleetera okuba nga be basokerako okufuna ebizibu ebiva mu bulumbaganyi n'obutabanguko obubeera ku mutimbagano eri ekikula ky'abantu.[23] Abo ababeera b'akosebwa bafuna obuzibu bw'okwennyamira, okwekubagiza n'obuzibu ku bw'ongo.[24]

Ekimu ku bikyasinze okumanyika mu kutumbula okutulugunya n'obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula kye Gamergate. Okutandika mu Gwomunaana 2014, obutakkaanya buno bwakyuka ne bufuuka kaweefube w'okutulugunya abakyala abakozesa yintaneeti. Okusaasaana nga bakozesa akabonero #Gamergate, obutakkaanya buno bulaga engeri abakyala abakozesa yintaneeti n'abawa endowooza yaabwe ku mikutu gye bali mu katyabaga k'okutulugunyizibwa, okutiisibwatiisibwa okuttibwa, okukabasanyizibwa n'ebirala. Okutiisatiisa kuno ku mutimbagano kwavvuunulwa mu bulamu bw'abakyala abalumbiddwa; bangi bawalirizibwa okusenguka, okusigala nga bakwatagana ne poliisi, n'okusazaamu emikolo egyali gitegekeddwa mu buntu.[25] Enkaayana za Gamergate ziraga engeri okutulugunyizibwa kw'ekikula ky'abantu ku mutimbagano gye kweyongedde era okw'obulabe, n'engeri okutulugunyizibwa n'okutulugunyizibwa okw'ekika kino gye kusobola okusaasaanira ku mutimbagano. Kino nakyo kimu ku mikutu egy'okulabirako egiriko okutulugunya abantu olw'ekikula ky'abwe nga abakyala balumbibwa n'addala abo abaali bagezaako okwogera ku nsonga ez'okutulugunya abantu ku yintaneeti olw'ekikula ky'abwe.

Okukola ku kutulugunyizibwa okusinziira ku kikula

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitongole kya United States eky'ensonga z'ebweru mu kaseera kano kirina enkola ekola ku kutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ky'abantu, naye tekirina mateeka g'ateekebwawo ku kutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ky'abantu ku mutimbagano. United States tennakola ku butabanguko obwesigamiziddwa ku kikula ky'abantu ku mutimbagano ku mutendera gw'amateeka.[26] Newankubadde nga wabaddewo okusindiikiriza okuva mu balwanirizi b'eddembe n'abakozesa yintaneeti okufuna amateeka amakakali agavumirira n'okukendeeza okutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mikutu gya yintaneeti

Okwetoloola ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Waliwo ebitongole okwetooloola ensi yonna ebinoonya okugonjoola ekizibu ky'obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula. Bino mulimu ebitongole by'amawanga amagatte nga UNESCO [27]ne woofiisi y'ekitongole ky'amawanga amagatte ekirwanirira eddembe ly'obuntu.[28]

Ekitongole kya Swedish International Development Cooperation Agency (SIDA) kitongole kya gavumenti ya Sweden ekikola okumanyisa abantu ku kutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano nga basuubira okwongera ku mateeka. Era bafulumiza alipoota ey'azuula nti mu myaka emitono egiyise, okutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano kwakung’aanya mu bantu b'ensi yonna abakusiima. Lipoota ya SIDA ekola nga ensibuko y'obubaka okwongera okutereeza enkola n'okusaawo amateeka amakakkali. Era yanokola emulimu gy'ebitongole nga Women's Rights Programme eya Association of Progressive Communication mu kunyigiriza okwongera ku mateeka agakwata ku kutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mikutu. Alipoota era eraga obutakkaanya wakati w'amateeka g'ensi yonna n'okussa mu nkola ku ddaala lya gavumenti.[29]

Ebitongole by'abakyala eby'ensi yonna bikkaatirizza nti okutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano busukkulumye ku nsalo z'amawanga, nga kyetagisa okukwatagana mu nsi yonna n'okugabana obubaka.[30] Ekibiina kya Association for Progressive Communications (APC) kibadde kikola bukubirire okuva mu 2005 okumalawo okutulugunyizibwa kuno eri bakyala ku mikutu migattabantu nga kinyweza ebitongole by'eddembe ly'abakyala n'abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu abakola okumalawo okutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano.[31] Ezimu ku pulojekiti zaabwe naddala eya, "End violence: Women's rights and safety online" ng'eno yali egendereddwamu okunyweza obukuumi eri abakyala "nga batangira okutulugunyizibwa okweyongera eri bakyala nga bayita mu ICT. " kino kikolebwa mu nsi musanvu okwetoloola ensi yonna. Ensi zino: Bosnia Herzegovina, Colombia, Democratic Republic of Congo, Kenya, Mexico, Pakistan, ne Philippines. Pulojekiti za APC endala mulimu emikutu gya websites nga Take Back The Tech! ne "GenderI org" ezissa essira ku kuwa ebikozesebwa n'okuddukirira abafuna okutulugunyizibwa okw'esigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano n'okukugira abakozesa yintaneti okusaasanya okutulugunya ok'wesigamiziddwa ku kikula ku mutimbagano.[32]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://doi.org/10.1177%2F14614448211023772https://hbr.org/2017/12/theres-a-gender-gap-in-internet-usage-closing-it-would-open-up-opportunities-for-everyone
  2. https://organisms.be/downloads/incels.pdf
  3. https://gap.hks.harvard.edu/perpetuating-online-sexism-offline-anonymity-interactivity-and-effects-sexist-hashtags-social-media
  4. 1 2 https://doi.org/10.1002%2Fpoi3.185
  5. https://search.worldcat.org/issn/0886-2605
  6. https://doi.org/10.1016%2Fj.techfore.2020.120426
  7. https://doi.org/10.1007%2Fs12119-019-09632-4
  8. https://doi.org/10.1207%2Fs15327957pspr0504_2
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-3-319-72917-6
  10. 1 2 https://doi.org/10.1145%2F2998181.2998213
  11. https://doi.org/10.1207%2Fs15327957pspr0504_2
  12. https://doi.org/10.1177%2F14614448211023772https://hbr.org/2017/12/theres-a-gender-gap-in-internet-usage-closing-it-would-open-up-opportunities-for-everyone
  13. https://organisms.be/downloads/incels.pdf
  14. https://doi.org/10.1177%2F14614448211023772https://hbr.org/2017/12/theres-a-gender-gap-in-internet-usage-closing-it-would-open-up-opportunities-for-everyone
  15. https://search.worldcat.org/issn/0021-9916
  16. https://doi.org/10.1177%2F14614448211023772https://hbr.org/2017/12/theres-a-gender-gap-in-internet-usage-closing-it-would-open-up-opportunities-for-everyone
  17. https://search.worldcat.org/issn/1556-5068
  18. https://doi.org/10.1177%2F14614448211023772
  19. https://en.wikipedia.org/wiki/Jessica_Vitak
  20. Gray, Kishonna L. Intersectional Tech: Black Users in Digital Gaming. Louisiana State University Press, 2020.
  21. https://doi.org/10.1300%2FJ202v06n03_06
  22. https://doi.org/10.1177%2F0894439319865518
  23. https://en.wikipedia.org/wiki/Online_gender-based_violence#cite_note-Cuenca-Piqueras_157%E2%80%93173-9
  24. https://en.wikipedia.org/wiki/Online_gender-based_violence#cite_note-vitak-21
  25. https://eprints.qut.edu.au/95337/7/95337.pdf
  26. https://www.state.gov/other-policy-issues/gender-and-gender-based-violence/
  27. "Archive copy". Archived from the original on 2021-03-26. Retrieved 2025-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  28. https://www.ohchr.org/EN/Issues/Women/SRWomen/Pages/OnlineViolence.aspx
  29. https://www.sida.se/contentassets/97224704b4f643cba3b4fca3d931e576/brief_gender-based_violence_online_sep-2019_webb.pdf
  30. https://en.wikipedia.org/wiki/Online_gender-based_violence#cite_note-30
  31. https://www.apc.org/en/project/end-violence-womens-rights-and-safety-online
  32. https://www.apc.org/en/wrp