Okutulugunya ku mutimbagano nga kusinziira ku kikula ky’abantu

Obutabanguko obuva ku kikula ky’abantu ku yintaneeti bugendereddwamu okutulugunya n’okusosola nga bayita mu tekinologiya eri bantu, abakyala mu ngeri etasaana, okusinziira ku kikula ky'abwe. Ekigambo kino era kifaananako n'enkola y'okutulugunya abantu okusinziira ku kikula ky'abwe nga biwagilwa tekinologiya ekya technology facilitated gender based violence, okusindikiriza abalala ku yintaneeti, okutulugunya ku mikutu gya yintaneeti n’okusosola mu kikula ku mikutu gya yintaneeti, naye ebigambo ebisembayo tebikwata ku kikula ky’abantu. Obutabanguko mu kikula ky’abantu bwawukana ku buno olw’embeera gye buleeta ku kusosola n’obutabanguko ku yintaneeti obugendereddwamu naddala olw’ekikula kyabwe, okusinga ddala eri abakyala. Emikutu gy’amawulire gitera okubuusa amaaso okutulugunyizibwa ku yintaneeti n’okutulugunya abakyala, ebisibuka mu nkola ezimaze ebbanga eddene ez’obuyinza bwa bajjajja n’okugoba abantu abasuuliddwa ku mabbali mu bifo eby’olukale. Emma Jane's "Misogyny Online: A Short (and Brutish) History eraga nti okutulugunyizibwa ku yintaneeti si kipya wabula kwegatta ku ebyo ebyaliwo mu kikula ky'abantu ezaali zimaze ebbanga (Jane, 2017). Agamba nti ebikolwa nga okwemulisa, okugabana, n'okwetaba mu by'obuwangwa kitegeeza nti abasajja abanyooma abakyala basobola okutuuka ku balabi abangi n'abawagizi abalina endowooza emu. Mu mbeera ezimu, ebibinja bino bisobola okukwasaganya okutulugunyizibwa, okusindika obulumbaganyi obuddiŋŋana eri abakyala. Mu ngeri eno, yintaneeti ekuza enkola ez’okusosola mu kikula n’okutulugunyizibwa ku yintaneeti (Jane, 2017) Okugatta kw'ebyo eby'ava mu mirimu gya Dr. Rajeev Yadav abyatuumibwa “Gender and its Digital Discontents: Decolonial Perspectives from the Global South” biraga engeri emikutu gya digito mu mawanga agakyakulakulana gye ginywezaamu ensengeka z’ebika n’endowooza z’amatwale. Bangi basanga okusoomozebwa n'okulabibwa ennyo, okubuusibwa amaaso, n'okuyigganyizibwa, nga bwe kirabibwa mu Buyindi n'abasasi b'amawulire abakazi abalumbibwa olw'ekikula kyaabwe n'eddiini zaabwe, oba mu Afirika abalwanirizi b'eddembe ly'abantu aba LGBTQ bwe bawanjaga okukumanyisa abantu n’obutalabika ku mukutu (Yadav, 2025) Emikutu gitondawo enkola ey'obwa sseluganda, okukolera awamu n’okwegatta mu bisinde nga: #PinjraTod ne #MeTooIndia, enteekateeka z’abakyala ku mikutu gya yintaneeti mu Latin America, n’emikutu gya LGBTQ+ egy’omu Afrika bakozesa emikutu gy’empuliziganya, okunyumya emboozi okusomooza okunyigirizibwa, okuzimba ebibiina byaabwe, n’okuwandiika obutali bwenkanya (Yadav, 2025). Enkola ezimu nga ebyuma eby'eyambisibwa mu kunoonyereza olumu bileetawo obuttakaanya, okuvvoola n'obulabe eri ebibiina ebinyigirizibwa okugeza omukutu gwa Google gw'andivvunula obulala obutonde n'elaagi y'omuntu. Mu ngeri y'okusoosowaza ennono y'amawanga g'ebulaaya eri obulungi, ekikula n'obuyinza enkola zino zikola okusinzira ku butya omuntu bw'ataputamu olulyo n'ekikula ky'omuntu (Jonker & rogers, 2024). Kino kya bulabe kubanga kinyweza endowooza enkyamu, kireetera abantu abatalina mwasirizi okutwalibwa ng'ebintu ebitalina bulamu, era kibalemesa okulabibwa n'okukiikirirwa ku mikutu gya yintaneeti.