Okuzaala omwana omufu

Bisangiddwa ku Wikipedia


Okuzaala omwana omufu[[1]] kitegeeza omwana okufiira munda nga wayiseewo essande 20 ku 28 okuva ng’omukyala afunye olubuto. Omwana okufiira munda oluusi kireetebwawo embeera ya maama ey’okuwulira ng'eyazzizza omusango okufuna olubuto luno. Kino tekifaanagana na kuvaamu lubuto oba omwana okufa nga yaakazaalibwa.

Ebiviirako okuzaala omwana omufu[kyusa | edit source]

Ekireetera omwana okufiira munda tekimanyiddwa nti kye kino wabula ng’ebimu ku bikireeta kuliko: obuzibu mu kuzaala, okutataagana kw’olubuto okugeza entambula y’omusaayi okulinnya, omukyala okuvaamu amazzi ng’ali lubuto nga gava ku nsawo y’omwana ali mu lubuto, ekirira omutambulira emmere okufuna obuzibu, endwadde ng’omusujja gw’ensiri n’endya ya maama embi.

Ebissa omwana mu katyabaga k’okufa nga tannazaalibwa ye maama okubeera ng’emyaka gigenderedde nga gisusse 35, okunywa ssigala, okukozesa obubi eddagala ng’ali lubuto, bwe luba nga lwe lubuto olusoose, n’okuba nga omukyala yayambibwako tekinologiya okusobola okufuna olubuto. Omwana okuba nga yafa nga tannazaalibwa kisoboka okutandika okusuubirwa singa omwana abeera nga takyekyusa mu lubuto. Kino kikakasibwa ng’abasawo bakozesa obuuma obukozesebwa okuwuliriza.

Engeri y'okuziyiza okuzaala omwana omufu[kyusa | edit source]

Abaana abafa nga tebannazaalibwa kisobola okuziyizibwa ng’ebyobulamu byongerwamu amaanyi. Kumpi ekitundutundu ku baana abafa nga tebannazaalibwa bafa mu kiseera nga bagenda okuzaalibwa era nga kino kirabikira nnyo mu mawanga agakyakula okusinga agaakula edda. Okusinziira ku bbanga ly’olubuto lye lulina, abasawo basobola okusalawo okukozesa eddagala erireeta ebisa oba okukozesa ebyuma ebitoolayo omwana mu lubuto. Singa omukyala afuna ekizibu kino, wabaawo obusobozi bw’okuddamu okukifuna ku lubuto olulala wabula nga kisoboka n’obutabaawo olw’ensonga nti buli lubuto luba n’embeera ez’enjawulo.

Enfaanana y'ekizibu kino mu nsi yonna[kyusa | edit source]

Mu nsi yonna mu mwaka gwa 2015 abaana obukadde bubiri mu emitwalo nkaaga be baafa nga tebannazaalibwa nga kino kyatuukawo ng’embuto ziwezezza essande 28. Mu nsi ezikyakula, buli baana 45 abaazalibwanga omu ku bo yabeeranga mufu. Mu Amerika ku buli baana 167 abazaalibwa omu ku bo abaera mufu. Wabula omwendo gw’abaana abafa nga tebannazaalibwa gukendedde okuva mu myaka gya 1950.