Jump to content

Okwagala(Love)

Bisangiddwa ku Wikipedia
okwagalana

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Embeera y’obuntu ey’Okwagala(the emotion of love)

Okwagala kuva mu kusenserwa bwagazi oba kusegeera okwawamu. Okwagala kuyinza okuba okwa mwoyo wa Katonda oba okw’obusimu bw’omubiri obw’omukwano wakati w’ekisajja n’ekikazi, oba okwagala okw’obuntu okw’omuntu eri muntu munne oba okwagala okukola ekintu.

Mu kwagala oluusi muvaamu okwegomba, okwegwanyiza eby’abalala , okuyaayana, n’okwakayakana. Mu kwegomba namwo mubaamu embeera z’obuntu nga okweyunira ,okusikirizibwa oba okusikiriza ,okwenyumiriza mu kintu oba mu muntu ,okulaga ,n’okufaayo .

Okwakayakana kwekusiza ku mbeera z’obuntu nga okuleetera oba okufuna obwagazi , okwegwanyiza , okwemalira ku kintu ,n’okuteeka ebirowoozo byo ku kintu oba ku muntu.