Okwebuuza (Questions on natural phenomena)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okwebuuza (questions on natural phenomena) okusinziira ku Charles Muwanga !!

Omwana wo muyigirize okwebuuza ku buttonde omuli n’obwengula, empisa, obulungi, okuba n’okubaawo, obulamu obw’omwoyo era omuyambe okuyiga okusengeka ebirowoozo nga olambika engeri gye bayinza okubirowozaako nga basengeka ebirowoozo byabwe mu ngeri etegeerekeka.

Okwebuuza kuba

Muno mulimu Ebibuuzo ku kubaawo kw’obutonde n’obwengula okutwalira awamu. Wano webuuze ebibuuzo ebisomooza obwongo bwo ku butonde n’obwengula ku:

a) Ki ekiriwo era kifaanana kitya? Ebiramu byokka bye biriwo oba n’ebitali biramu?

b) Okubaawo kitegeeza ki? Okwetegeera? Ate ebiriwo nga naye tebyetegeera nti webiri?

c) Ki ekiri emabega w’obutonde obulabika?

d) Njawulo ki eri wakati w’okuba (being) n’okubaawo (existence)?

e) Obwengula kye ki? Kyama ki ekiyimirizawo obwengula?

f) Kakwate ki akali wakati w’obwengula n’ebiseera, buli kintu n’ekirala, ensibuko, ebbanga, na buli kigenda mu maaso mu bulamu?

g) Obwengula busengeke oba buli matenkane? Bwe buba busengeke kino kye kivaako obwetaavu bw’abantu okusengeka buli mu ngeri etegeerekeka.

h) Obwengula bwe buba bulina enteekateeka ebuyimirizaawo lwaki si kya butonde okubeera mu mbeera etalina nteekateeka? Okwebuza ku Butonde.


Ekimu ku birwiisizzaawo omwana w’omuddugavu okuyitimuka mu sayansi ez’ensibo ne tekinologa kiva mu butebuuza ku butonde mu bulamu bwe obwa bulijjo.

Okwebuuza ku butonde kye kimu ku bifuula omuntu ensolo ya sayansi kubanga sayansi naye atandika na kwebuuza ku butonde oba emiramwa gy’obutonde, nga omugendo (a ray), okuva (motion), empalirizo esikira ku Nsi (earth’s gravity), amasoboza (energy), empalirizo (force), enzitoya (mass), enzitoyo (matter), n’ebirala.

Bino bye bimu ku bibuuzo buli buli muntu omutegeevu by’alina okwebuuza ku butonde kubanga “buli muntu mu butonde nsolo ya sayansi. Nga tonnaba kwebalira mu bagunjufu, sooka weebuuze oba nga otera okwebuuzizza ebibuzo bino mu bulamu mu kimpowooze mu mulengera wo?

a) Obwengula busengekeddwa butya?

b) Ensi kwe tuli, mu butonde, yo eriwo etya? Mpagi ki egiwaniridde mu bwengula?

c) Obutonde bulina enteekateeka kwe buyimiridde?

d) Kiki ekiri emabega w’ensengekera z’obutonde (natural systems)?

e) Obutonde n’obwengula birina akakwate? Obutonde era kitegeeza buli ekiriwo mu bwengula, omuli nabire(nabular clouds), golomola oba ebisinde (galaxies), senkulungo (enjuba oba emmunyenye), enkulungo(planets), n’emyeezi, awamu n’ensengekera z’ebiramu n’ebitali biramu (eza atomu ne molekyu), byonna ebisangibwa mu bwengula yonna gye biri ?

f) Ensengekera ya sengendo eziri mu bwengula erimu ki?

g) Obutonde bulimu emitendera gy’ebiramu emeka era mitendera ki?

h) Ki ekikola obuzimbe bwa buli kintu ekiriwo nga empewo, ebikulukusi n’enkalubo (ebyekutte)?

i) Waliwo ekirwo mu buttonde ekitali kya mugaso ku bulamu? Lwaki kyetaagisa okukuuma obutonde bw’Ensi?


Ebibuuzo ku Kumanya


Wali osoomozza omurengera gwo ku mulamwa gw’okumanya? Mu butuufu tewali muntu asobola kunoonya kumanya nga tamanyi okumanya kye ki? Okusobola okutuuka okumanya ku buli kintu yiga okwebuuza ebibuuzo nga bino ku kumanya:

a) Okumanya (knowledge) kye ki?

b) Omuntu atuuka atya ku kumanya?

• ng’atunula n’alaba n’amaaso ge?

• ng’akwatako?

• ng’alegako?

• Nga awuliriza?

• Oba ng’ogattika byonna?

c) Njawulo ki eri wakati w’okusegeera (sense perception), okutegeera (understanding), n’okumanya (knowing).

d) Omanya otya nti omanyi?

• Kuyita mu kusegeera kwa sensa (sense perception) nga otunula n’olaba, nga owuliriza, nga owunyiriza, nga olegako, oba nga okwatako?

• Nga okozesa obwongo okwefumiitiriza ku ky’osegedde ne sensa zo ettaano?

• Ng’okola enkakaso (experimentation)?

• Oba ng’ogattika byonna?

e) Omuzadde oyamba otya omwana okuyiga okutuuka ku kumanya okwetengerevu?

• Ng’amuyigiriza okulambika ensonga?

• Ng’omuyigiriza okulambulula ensonga

• Nga omuyigiriza okunoonya fakikya, obutuufu, oba obukakafu?

• Oba byonna?

(f) Njawulo ki eri wakati w’okulambika n’okulambulula ensonga.


Ebibuuzo ku Bulungi.

• Ekirungi kye ki? Obulungi kye ki?

• Ekibi kye ki?

• Omuntu ayawula atya ekirungi n’ekibi?

• Enneeyisa enungi y’efaanana etya?

• Enneeyisa embi y’efaanana etya?

• Okutondeka ekirungi kye ki?

• Ekitondekabiringi (art) kye ki?

• Essomakitondekabirungi (fine art) kye ki?

• Nakitondekabirungi ez’obusuubuzi (commercial arts) kye ki?

• Obwakalimagezi obwa nakitondekabirungi kye ki?

• Obulungi bw’omuntu kye ki? Obulungi bw’omuntu ndabika, mpisa, oba byombi?

• Omuzadde asaanye kukkaatiriza ki ng’akuza omwana? Ndabika yokka oba enjogera, empisa ezikakasiddwa oba byonna?

• Anoonya omubeezi essira asaanye aliteeke ku mpisa, ndabika oba byombi?

• Ate abanoonya abakozi esira baliteeke ku busobozi bwokka mpisa za buntu oba byombi?

• Omwana omusomesa otya okwawula ekirungi n’ekibi, omulungi n’omubi, omulabe we n’owomukwano?

• Omuntu ayawula atya omulungi n’omubi, ow’omukwano n’omutabazitabuzi? Oyo akugamba ky’oyagala okuwulira yadde nga tekiikuyambe oba oyo okugamba kyewetaaga? Enjogera y’omuntu yokka, gamba okwogeza eggonjebwa n’obukkakkamu kimala okumanya obulungi bwe obw’omwoyo? Tewaliiwo abazzi b’emisangu egya kkondo n’obutujju abasendasenda abo be batusaako obuvune n’enjogera ey’eggonjebwa eraga ekisa n’obukkakkamu?


Ebibuuzo ku Nsengeka y’ebirowoozo (logic).

Wano omuntu alina okwebuuza:


• Okulowooza kitegeeza ki?

• Ekirowoozo kye ki?

• Oba n’ebisolo birowooza?

• Okwefumiitiriza kye ki? Ebisolo byefumiitiriza?

• Kakwate ki akali wakati w’okusengeka ebirowoozo n’okwefumiitiriza? Ebisolo bisengeka ebirowoozo?

• Kiki ekikola ebirowoozo ebituufu era ebyesigika? Fakikya (facts) oba ndowooza ya muntu?

• Engeri y’okukubaganya ebirowoozo ennungi efaanana etya? Y’eyo eddamu ebibuuzo eby’ekifirosoofa, ebalangula obukunizo okuyita mu ndowooza ya mugobansonga (dialectical thinking), oba byombi?

• Ebirowoozo bisengekebwa bitya? Okuyita mu kulambika oba okulambulula ensonga? Okulambika ensonga kyawukana kitya n’okulambulula ensonga?

• Ensonga ensengeke ziweebwa zitya? Ziba zikwatagana oba nga tezikwatagana (matenkane)?

• "Obwongo bukozesebwa mu ngeri ki? Okozesa obwongo nga olambika ensonga oba nga olambulula ensonga? Nga wefumiitiriza, wekenneenya, wekebejja ekintu, oba nga ogattika bino byonna?

• Ebirowoozo ebikwatagana n’ebitakwatagana byawukana bitya?

• Ennyinyonnyola yesigamizibwa ku fakikya (facts), ku lugambo oba byombi? Ku fakikya (fact) n’ endowooza eyiyo ku bubwo ki ekikola amazima?

• Kakwate ki akali wakati w’okusengeka ebirowoozo, okusonjola, n’okunnyonnyola emiramwa?

• Okukwataganya ebirowoozo kye ki?

Njawulo ki eri wakati wa ssamwassamwa, njwanjwa, okutolobboka, okwogera entotto, n’okugoba ensonga okuyita mu ndowooza eya mugobansonga?


Okuyigiriza abaana okwefumiitiriza


(i) Bayambe okuyiga okwebuuza. Kyetaagisa okuyigiriza omwana okwebuuza wakati mu kwefumitiriza. Mu butonde bwabwe abato balowooza ku buli kye balaba, n’olwekyo laba nga tebakoma ku kukirowozaako bulowooza naye bagende mu maaso okukukyefumiitirizaako nga batandika n’okwebuuza ku kalonda yenna gwe bakilabako.

(ii) Kino kikole nga obasikiriza okubuuza ebibuuzo oba okwebuuza nga beetengeredde. Singa obaddeko ky’ogamba omwana n’olaba nga okunnyonnyola kwo tekukola makulu gy’ali, musikirize okulaga okuwakanya kwe oba endowooza ye. Okwebuuza oba okubuuza y’entandikwa y’okwefumiitiriza.

(iii) Yamba abato okwekenneenya ekintu oba omulamwa okuva ku njuyi ez’enjawulo. Singa abaana bakozesa amakubo ga njawulo kyokka ne batuuka ku kituufu kye kimu bafuuka bassekalowooleza bennyini.

(iv) Basikirize okutangaaza amukulu g’ebigambo bye baba bakozesa. Kiba kirungi abaana okuteeka ebirowoozo mu bigambo ebyabwe awatali kukyusa makulu nga baawula omulamwa ogumu ku mulala. Eky’okulabirako okwawula omulamwa ogw’okulowooza n’okwefumitiriza.

(v) Yogera ku kyekubira, okuzuukusa endowooza zaabwe kinnomu, okusinziira ku mbeera zabwe ez’obuntu.

(vi) Okwefumitiriza kw’omwana tokusiba ku bisomesebwa mu masomero byokka. Basikirize okukozesa obwongo nga bakubaganya ebirowoozo butonde, empisa, obulungi, okuba n’okumanya.

(vii) Abato abatannagenda mu masomero basikirize okutandika okuwandiika nga batandika n’okukuba obufaananyi n’okuwandiika nyukuta za waliifu oba namba okuva ku emu okutuuka ku kumi. Okuwandiika nga bakuba obufaananyi kuyamba abaana okutangaaza bye baba bannyonnyola oba bye baba balowozaako.

(viii) Wewale okukaka endowooza zo oba ez’abalala mu baana abasumuuseemu. Kino kitegeeza nti bwe tugamba abaana okukola ebintu mu ngeri emu, tulina okubawa ensonga naye bwe baba balina endowooza endala, tusooke tubawulirize.

(ix) Bawe ekyagaanya okukozesa obwongo nga basengeka ebirowoozo ku kintu kye baba bekebejja n’okukyekennenya balyoke bawunzike. Omwana bwabuuza “lwaki”? Muddemu “ggwe olowooza lwaki?

(x) Bayambe okugerageranya n’okutuuka ku bumu obuli mu miramwa oba ebintu ebifaanagana n’enjawulo eri mu miramwa oba ebintu ebifaanagana. Eky’okulabirako mu kugerageranya ennanansi n’omukyungwa, bagambe okunyonnyola engeri byombi gye bifanagana n’engeri byombi gye byawukana. Mu ngeri y’emu oyinza okubanyumiza engero bbiri n’obagamba bazigerageranye.

(xi) Basomere obugero obumpimpi obasikirize okukubaganya ebirowoozo ku ky’obasomedde mu bigambo byabwe byennyini. Kino kibawa obusobozi okufunza ebirowoozo ebikulu mu kinnyonnyolo mu kifo ky’okudda mu bibuuzo okujjayo fakikya. Buuza ebibuuzo ebitalina ansa butereevu mu kinnyonnyolo. Kino kibayambe okuwunzika okusinziira ku kutegeera kwabwe. Gamba abaana okulaga nga ekinnyonnyolo ekyo bwe kikwataganamu n’obulamu bwabwe.

(xii) Bawe ekinnyonnyolo [story] ekitawa mpunzika, obaganbe bakimalirize nga buli omu bw’alowooza. Okusikiriza omwana okwebuuza ku butonde

Okwanjulira omwana omuto sayansi kitandikira mu maka. Okimanyi nti abaana abato ebiseera ebisinga babuuza abazadde baabwe ebibuuzo ku miramwa egy’enjawulo? Kati no bw’oba tolina ky’omanyi mu nsi eya sayansi oyinza obutabaako ansa gy’owa mwana wo ng’alina omulamwa ogwa sayansi gw’akubuuzizzaako.


Ebyokulabirako, omwana ayinza okukubuuza nti:

• Lwaki obudde buziba?

• Lwaki ekintu bw’okikanyuga kigwa wansi?

• Omwana ava wa? • Singa musisi ayita omwana ayinza okukubuuza Lwaaki waabaddewo okujugumira?

• Obulwadde buva ku ki?

• Lwaki oluusi enkuba bw’eba ebadde egenda kutonnya kkala za Musoke zeyoreka mu lubaale?

Ng’abazadde tulina okuba abeteefuteefu okuddamu ebibuuzo ebisinga abaana bye bayinza okutubuuza nga tubiddamu mu ngeri eya sayansi. Omuzadde atali mweteefuteefu mu kumanya okwa sayansi ayinza okuwa omwana ansa emujja ku mulamwa ogwa sayansi ng’amugamba nti ensi bw’ejugumira lubaale musisis y’aba ayita oba ekilwadde ky’ettalo liba ddogo oba nti obulwadde bwa mulangira bwe bukwata abaana omulangira Ndawula eyafa edda aba ayita, endowooza eziteesigamye ku sayansi.

Olw’okuba buli mulembe ogujja gweyongera okwetaaga abaana abatendeke mu sayansi ne tekinologiya, abazadde balina okusimira abaana endowooza ya sayansi mu kifo ky’okukuliriza sikimanyinkitye (superstitutions).

N’abaana abatalina kitone kya kukuguka mu sayansi okufuuka bannasayansi, bayinginiya, oba abateeko baba betaaga okubaako kye bamanyi mu nsi eya syansi okusobola okwang’anga embeera ekyuka buli olukedde. Bino bye byetaagisa omuzadde ow’omulembe guno okuteekateeka abaana be mu magezi ag’okwebuuza n’kokwefumiitiriza ku butonde mu ngeri ey’okuzuula ekituufu eyesigamye ku fakikya.

Ekitabo kino kikulaga engeri z’oyinza okusikirizaamu abaana bo abato mu magezi aga sayansi okutandika ne:

a) Sayansi kye ki? Biki ebikola sayansi?

b) Bintu ki ebikozesebwa mu nsi eya sayansi mu bulamu obwa bulijjo?

Omuzadde amanyi nti sayansi atandikira mu maka afuba nnyo okulaba sayansi ki gw’alina okulaga abaana be awaka asobole okubasikiriza mu kubuuliriza ku buttoned ne kalonda w’obutonde (natural phenomena).

Edda twalowoozanga nti abaana balina kusoma ku sayansi nga bali mu masomero naye ate mu butuufu abaana abakagenda ku somero basomesebwa sayansi mutono ddala, kino ne kiba nga kitegeeza nti nga omuzadde ggwe olina okuziba omuwaatwa guno awaka. Ng’abazadde tetwetaaga musingi gwa maanyi mu sayansi okusobola okuyamba abaana baffe mu kumanya ebintu ebisookerwako mu nsi eya sayansi. Eky’okulabirako okumanya ki ekiviirako amaloboozi, endwadde, engeri ennengerawala (telescope) oba enzimbulukusa (microscope) gy’ekolamu oba engeri endabirwamu gy’efaanaganyamu ekifaananyo, tebyetaagisa kuba mukugu mu sayansi naye nga byetaagisa okumanya.

Omuzadde omugunjufu asaana okulaga omwana we nga omwezi bwe guvayo okutuuka lwe gugwa buli mwezi oba okugamba omwana nti talina kutunuulira njuba na maaso gali bukunya olw’ekitangaala eky’amaanyi ekigivaamu ekiyinza okugatusaako obuvune. Omwana muyigirize okwekenneenya ekintu kyonna ky’aba ataddeko amaaso n’obwegendereza.Okuyiga okwekebejja n’okwekenneenya ekintu wakati mu kwefumiitiriza gwe mutendera ogusooka mu kumanya okwa sayansi.

Omuntu yenna awaka nga alwadde omusujja, ekiddukano oba ekifuba, guba mukisa oku okuyigiriza omwana oba abaana awaka sayansi. Oyinza okubaganmba nti ensiri ze zireeta omusujja gwa maleriya ob anti ekiddukano kiva ku bujama oba nti omuntu bw’akolola oba okwayuuya nga takutte ku mumwa gwe obuwuka butambula mu mpewo n’asiiga abalala endwadde ezitambulira mu mpewo nga sennyiga n’ekifuba.

Omwana wano aba akimanyirawo nti endwadde ezimu ziyinza okusiigibwa oba okubunyisibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala. Omwana bw’omukubiriza okuba omuyonjo yongerako ensonga nti obuyonjo buziiyiza okukwatibwa obulwadde. Eno y’ensonga lwaki omuntu alina okunaaba mu ngalo ng’agenda okulya oba nga avudde mu kabuyonjo oba alina okubikka ku nnyindo n’emimwa gye ng’anyiza oba ng’ayasimula nga yeyambisa akatambaala ako mu ngalo. Kikulu okumanyisa omwana obutakozesa jjiiko, wuuma, sowaani, giraasi oba bikopo ebikozeseddwa abalala nga si byooze.