Okwefumiitiriza(Critical thinking)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Okwebuuza n’Okwefumiitiriza (Critical thinking)

Okwefumiitiriza (Critical thinking) kuli mu bantu bokka. Kulimu bino wammanga:

• Okwebuuza ku kintu kyosegedde n'enketteso ez'omubiri

• Okuteebereza (rationalising) ku kiri munda oba emabega waakyo

• “Okwekenneenya” (analysis) ekintu oba omulamwa. Wano omuntu era akozesa “sensa” ze ettaano omuli okulaba, okuwunyirza, okuwulira, okukwatako, oba okulegako mu kukinoonyerezaako, n’alyooka asengeka ebirowoozo okusinziira ku ki ky’afunye. Oluusi ayinza okukyabuluzaamu amanye ebiri mu buziba bwakyo.

• Okugereesa (abstraction/ theorizing).

• Okugerageranya

• okunoonyereza n’okugezesa ku butonde

• okutuuka ku kuvumbula

• okuyiiya tekinologia

Mu butuufu omuntu alowooza obulowooza ku kintu ky’asegedde ne sensa ze kyokka n’ateyongerayo kukyekebejja oba okukyekenneenya era n’atakyefumiitirizaako aba ng’ekisolo obusolo.

Okwefumiitiriza kwetaagisa nnyo mu bulamu bw’omuntu obwa bulijjo oba mu ntabaganya kyokka ate kye kifuula abantu abamu okuba bakakensa abakozesa “enkola ya sayansi” (scientific method) oba bassekalowooleza n’okuteekawo tekinologia ow’omugaso ennyo mu kutondeka ebyettunzi.

Okwefumiitiriza (critical thinking) kitegeeza “kulowooza ku kulowooza”. Kino kitegeeza nti okwefumiitiriza kulowooza okuyingira mu buziba bw’ekintu oba embeera nga tonnasalawo oba nga tonnakola kintu kyonna.

Okwefumiitiriza bwe kweyunirwa, omulengera (the mind) guwa ekyagaanya enjuyi zonna nga tannawa ndowooza. Omuntu eyefumiitiriza yekenneenya omulamwa ne kalonda yenna ku mulamwa oba embeera eba eriwo.

Omuntu eyefumiitririza aba yebuuza nga tanakola yadde okwogera ekintu kyona. Omwefumiitiriza yebuuza ku mulengera we nga akozesa obubuuza (interrogatives): ani, kiki, wa, kitya, atya, ne ddi mu mbeera yonna.

Okwefumiitiriza kyetaagisa okwebuuza, okwekebejja n’okwekenneenya, n’ebiseera biwanvuko okusinga okulowooza obulowooza. Omuntu atali mwefumiitiriza nga omuteeredde ebitereke bya sente bisatu awo, ekitono, ekinenene, n’ekinene ddala n’omugamba alondeko, ayinza okutwala ekisinga obunene nga alowooza nti kye kirimu ensimbi ennyingi okusinga ebirala. Omuntu omwefumiitiriza asooka kwagala kusumululako alabe ekiri munda kubanga yebuuza nti ye abaaye sente ze zirimu? Ye ezirimu za miwendo minene oba mitono.

Omuntu omw’efumiitiriza bw’asoma ekitabo ka tugambe ekya “Zinunula Omunaku”, asooka n’asoma emiko egisooka, n’asoma ku muwandiisi, n’alyooka asalawo oba asome ekitabo kino kyonna.

Abantu abeefumiitirza batera obuteesiba ku ndowooza emu oba ku kintu kimu kuba baba bakimanyi nti wayinza okubeerawo engeri oba ekkubo eddala. Batera okuba abannyonnyofu era abatabuukira kintu kyonna kumala gasalawo mangu.

Okwefumiitiriza kitegeeza, obusobozi bw’abalowooza okuba nga bafuga okulowooza kwabwe oba endowooza zaabwe era ne balowooza ku kye balowoozako. Omuntu akozesa obwongo nga yefumiitiriza:

• Asobola okwawula wakati wa fakikya (fact) n’endowooza y’omuntu kinnoomu (opinion).

• yebuuza ku buli ky’alaba, ky’awulira, kyasoma ne ky’akola

• anoonya okunnyonnyoka buli mulamwa

• abuuza ebibuuzo ebirina ekigendererwa

• asengejja mu byogerwa oba ebiteesebwako

• Talemera ku nsonga nga fakikya oba embeera zikyuse.

• N’olwekyo akkiriza nti yakoze ekintu olw’obutamanya oba nti yabadde tamanyi.

• Ayaayaanira okumanya.

• anoonya okulaba engeri ey’okukolamu ebintu esaanidde

• Awuliriza abalala n’obwegendereza ate n’awa okuddamu kwe gye bali (feed back).

• Ayongezaayo okusalawo okutuuka nga fakikya zonna zikung’aanyiziddwa ne zekenneenyezebwa.

• Anoonya obukakafu

• takolera ku ngambo

• Aba mugobansonga ng’anoonya enjawulo eri mu bifaanagana n’obumu bw’ebitafaanagana era buli kintu akyekenneenya okuva ku njuyi n’ensonda zonna, ku ngulu ne mu buziba bwakyo.


Tosobola kukola bya bugunjufu nga teweebuuza mu bulamu bwo. Buli ky’oba ogenda okukola ne buli ky’oba ogenda okwogera sooka okyefumiitirizeeko oleme kukola nsobi. Ebirowoozo byonna ebyesigamye ku kwebuuza mu ngeri ey’okutuuka ku kumanya ekituufu kuba kulowooza kwa kifirosooofa(philosophical thinking) .

Okulowooza kw’ekifirosoofa oba endowooza y’ekifirosoofa  era kiba “kulowooza kwa mugobansonga “ oba “endowwoza ya mugobansonga” kubanga kirimu okunoonya  akakwate akali wakati w’ekintu(ensonga) ekimu(emu) n’ekirala(endala) oba   okunoonya enjawulo eriwo mu bifaanagana n’obumu bw’ebitafaanagana. 


Tewali ntabaganya eyinza kwebala nti abantu abagirimu bagunjufu nga tebeebuuza ku buli kye baba bagenda okukola oba okwogera okwefaananyiriza n’“endowooza y’ekifirosoofa” awamu n’endowooza ya mugobansonga(dialectical thinking) , erimu okunoonya enjawulo wakati w’ebifaanagana , n’obumu w’ebyawukana okuyita mu kwekenneenya ekintu ku njuyi zonna , kungulu ne mu buziba bwakyo.


(1) Okwebuuza kye ki ?


Obugunjufu butandika olunaku lw’oyiga okwebuuza .Okwebuuza   kiva ku  “nnyonta ya  kuyiga” oba ennyonta y’okumanya . 


“Ennyonta y’okuyiga” kyekuusiza ku “kunoonya kumanya”, okutandika n’okwebuuza ku kumanya kwennyini, okwebuuza ku butonde(nature) , empisa , n’ensengeka y’ebirowoozo(logic) . Obugunjufu burimu okwebuuza ebibuuzo eby’enjawulo oba okugereesa (to theorise) ku buli kiriwo mu butonde , awamu n’ebigenda mu maaso mu bulamu bw’omuntu n’entabaganya(society) oba entabaganyo(community).


Nga sayansi tannabaawo , firosofa ye yali akozesebwa okugezaako okunnyonnyola ebibuuzo ebyali bibobbya omuntu omutwe mu ngeri ey’okuteebereza , n’okukozesa obwongo awatali kunoonya nkakaso(experiment).


Okwebuuza okw’okunoonya okumanya, ky’ekisumuluzo ky’oyo atali munnasayansi ky’akozesa okutandika okutangaazibwa ku bintu eby’enjawulo , era okwebuuza kwe kumuyamba okwewala okukola ensobi oba okwewala okukola ebikyamu mu bulamu bwe , n’okwetusaako ebyetaago by’obulamu bwe nga atandikira ku bibuuzo by’ekifirosoofa(phirosophical questions). Ekimu ku byawula omuntu n’ensolo endala bwe obwakalimagezi. Omuntu kalimagezi (intelligent man) yebuuza ku buli kintu mu bulamu era takola kintu yadde okwogera ekintu nga teyebuuzizza ku mulengera we(his mind) .Omuntu atandika na kwebuuza ku :

a) Ki eky’okulowozaako

b) Engeri ki ey’okukiriwozaako


N’ekisembayo engeri gy’oyinza okuyamba abalala okumanya ki eky’okulowozaako n’engeri ey’okukirowozaako nga betengeredde.


Endowooza y’ekifirosoofa (phirosophical thinking), kitegeeza kukubaganya birowoozo mu mulengera wo ku bibuuzo ebikulu mu bulamu obwa bulijjo ne ku butonde.


Ebibuuzo omuntu yenna by’alina okwebuuza mu kimpowooze

Omwana wo muyigirize okwebuuza ku nsengeka y’ebirowoozo, obutonde, empisa, obulungi , n’obulamu obw’omwoyo era omuyambe okumanya engeri gy’ayinza okubirowozaako nga asengeka ebirowoozo bye mu ngeri etegeerekeka.

(vi) Ebibuuzo ku kubaawo kw’obutonde n’obwengula okutwalira awamu

Wano omuntu yenna okwawukana n’ensolo endala, atandika okwebuuza ku:


• Ki ekiriwo era kifaanana kitya ? Ebiramu n’ebitali bilamu ?

• Okubaawo kitegeeza ki ? Okwetegeera ? Ate ebiriwo nga naye tebyetegeera nti webiri ? • Ki ekiri emabega w’obutonde obulabika ?

• Njawulo ki eri wakati w’okuba(being) n’okubaawo(existence) ?

• Obwengula kye ki ? Kyama ki ekiyimirizawo obwengula ?

• Kakwate ki akali wakati w’obwengula n’ebiseera, buli kintu n’ekirala, ensibuko , ebbanga, na buli kigenda mu maaso mu bulamu ?

• Obwengula busengeke oba buli matenkane? Bwe buba busengeke kye kivaako obwetaavu bw’abantu okusengeka buli kintu mu mbeera gya balimu n’ebirowoozo byabwe nga mw’obitwalidde?

• Obwengula bwe buba bulina enteekateeka ebuyimirizaawo lwaki si kya butonde omuntu okweyisa mu ngeri enkyankalamu?


(ii) ) Ebibuuzo ku bulamu obusukkulumye ku bw’omuntu


Wano webuuza oba nga waliyo obulamu obw’omwoyo obusukkulumye ku butonde obulabika. Era webuuza ku nsibuko y’obwengula.

 Mu butonde mulimu ekikulaga nti waliwo kagezimunyu asukkulumye ku bw’omuntu ali emabega wabwo  ?

 Obutonde bulina kye bukulaga eky’obwa kalimagezi obusukkulumye ku bw’omuntu ?

 Wayinza okubaawo ensengeka y’ebintu ey’ekibalangulo ekya waggulu ng’eri mu bwengula oba mu mibiri gy’ebiramu awatali kagezimunyu azikola ?


(i) Ebibuuzo ku butonde.


Okwebuuza  ku butonde  kye kimu ku bifuula omuntu ensolo ya sayansi kubanga  sayansi naye atandika na kwebuuza ku butonde oba emiramwa gy’obutonde , nga omugendo(movement/ray) ,  okuva (motion),amaanyimusikira ku Nsi(gravity),  amaanyikasoboza(energy), empaliriza(force) , ekintu (matter) , n’ebirala. Bino bye bimu ku bibuuzo buli muntu mugunjufu by’alina okwebuuza ku butonde kubanga buli muntu, ne bwaba si kakensa, nsolo ya sayansi. Nga tonnaba kwebalira mu bagunjufu, sooka weebuuze oba nga otera okwebuuzizza ebibuzo bino mu bulamu mu kimpowooze mu mulengera wo ?

a. Obwengula busengekeddwa butya?

b. Ensi kwe tuli, mu buttonde, yo eriwo etya? Mpagi ki egiwaniridde mu obwengula?

c. Obutonde bulina enteekateeka kwe buyimiridde?

d. Kiki ekiri emabega w’ensengekera z’obutonde (natural systems)?

e. Obutonde n’obwengula birina akakwate? Obutonde era kitegeeza buli ekiriwo mu bwengula , omuli nabire(nabular clouds), golomola(galaxies), senkulungo(enjuba oba emmunyenye) , enkulungo(planets), n’emyeezi , awamu n’ensengekera z’ebiramu n’ebitali biramu (eza atomu ne molekyu) , byonna ebisangibwa mu bwengula yonna gye biri ?

f. Ensengekera ya sengendo eziri mu bwengula erimu ki?

g. .Obutonde bulimu emitendera gy’ebiramu emeka era mitendera ki?

h. Ki ekikola obuzimbe bwa buli kintu ekiriwo nga empewo, kakulukusi n’enkalubo (ebyekutte oba solido)?

i. Olowooza lwaki obutonde buli mu nsengeka ey’ekibalangulo ekya waggulu? Kyajja buzzi kyokka oba waliwo sabagezi asukkulumye ku bagezi eyatonda obwengula buno?

j. Waliwo ekirwo mu buttoned ekitali kya mugaso ku bulamu? Lwaki kyetaagisa okukuuma obutonde bw’Ensi ?


(ii) Ebibuuzo ku Mpisa.


(a) Empisa kye ki ?

(b) Kakwate ki akali wakati w’empisa n’obugunjufu?

(c) Omuntu yeyisa atya mu bantu banne?

(d) Omwavu w’empisa yeyisa atya ?

(e) Omuntu ow’empiisa yeyisa atya ?

(f) Omwana atendekebwa atya mu mpisa?

(g) Omwana ow’empisa yeyisa atya?

(h) Omwana atamanyi kukola mirimu, okwaniriza abagenyi, alina emputu, abambirabambira abantu, ate n’oyo atalina kwekengera, abalibwa mu ba mpisa?

(i) Kirungi omuzadde okumanyiiza omwana obutagambwako ,obutawabulwa , n’obutawuliriza balala , okumuleetera okwemanyamanya?

(j) Omuntu atasobola kufuga mbeera ze za buntu ng’obusungu oba obunyiivu, okwagala, n’okwegomba, abalibwa mu bagunjufu?

(k) Ate omuntu eyefaako yekka, atalina mutima musaasizi n’oyo atasonyiwa baba bagunjufu?

(l) Omuntu akola oba ayogera ebiyinza okujja omuntu oba abantu abalala mu mbeera ez’obuntu aba mugunjufu?

(m) Omwana asomesebwa atya empisa ezo mu bantu?

(n) Njawulo ki eri wakati w’okugamba ku mwana n’okumukyunya?

(o) Okuboggolera omwana buli kaseera nakyo kibalibwa mu kutendeka mpisa?

(p) Njawulo ki eri wakati w’okubonereza n’okutulugunya omwana?

(q) Okuba ow’empisa kimala okukufuula omugunjufu?

(iv) Ebibuuzo ku kumanya?

(a) Okumanya (knowledge) kye ki?

(b)Omuntu atuuka atya ku kumanya?


. ng’atunula n’alaba n’amaaso ge?

. ng’akwatako?

. ng’alegako?

. Nga awuliriza?

. Oba ng’ogattika byonna ?


(c) Njawulo ki eri wakati w’okusegeera(sense perception) ,okutegeera(understanding) , n’okumanya(knowing).


(d)Omanya otya nti omanyi?

• Kuyita mu kusegeera kwa sensa (sense perception) nga otunula n’olaba, nga owuliriza, nga owunyiriza, nga olegako, oba nga okwatako?

• Nga okozesa obwongo okwefumiitiriza ku ky’osegedde ne sensa zo ettaano?

• Ng’okola enkakaso (experimentation)?

• Oba ng’ogattika byonna? (e) Omuzadde oyamba otya omwana okuyiga okutuuka ku kumanya okwetengerevu?

• Ng’amuyigiriza okulambika ensonga?

• Ng’omuyigiriza okulambulula ensonga

• Nga omuyigiriza okunoonya fakikya, obutuufu, oba obukakafu ? • Oba byonna?


 (f) Njawulo ki eri wakati w’okulambika n’okulambulula ensonga.


(v) Ebibuuzo ku bulungi.

• Ekirungi kye ki? Obulungi kye ki ?

• Ekibi kye ki?

• Omuntu ayawula atya ekirungi n’ekibi?

• Omuntu ayawula atya omulungi n’omubi, ow’omukwano n’omutabazitabuzi ? Oyo akugamba ky’oyagala okuwulira yadde nga tekiikuyambe oba oyo okugamba kyewetaaga? Enjogera y’omuntu yokka, gamba okwogeza eggonjebwa n’obukkakkamu kimala okumanya obulungi bwe obw’omwoyo ? Tewaliiwo abazzi b’emisangu egya kkondo n’obutujju abasendasenda abo be batusaako obuvune n’enjogera ey’eggonjebwa eraga ekisa n’obukkakkamu ?

• Enneeyisa enungi y’efaanana etya?

• Enneeyisa embi y’efaanana etya?

• Okutondeka ekirungi kye ki?

• Kitondekabiringi(art) kye ki ?

• Essomakitondekabirungi (fine art) kye ki?

• Nakitondekabirungi ez’obusuubuzi (commercial arts) kye ki?

• Obwakalimagezi obwa nakitondekabirungi kye ki?

• Obulungi bw’omuntu kye ki? Obulungi bw’omuntu ndabika, mpisa, oba byombi?

• Omuzadde asaanye kukkaatiriza ki ng’akuza omwana? Ndabika yokka oba enjogera, empisa ezikakasiddwa oba byonna?

• Anoonya omubeezi essira asaanye aliteeke ku mpisa , ndabika oba byombi?

• Ate abanoonya abakozi esira baliteeke ku busobozi bwokka mpisa za buntu oba byombi ?

• Omwana omusomesa otya okwawula ekirungi n’ekibi, omulungi n’omubi, omulabe we n’owomukwano?


(i) Ebibuuzo ku ensengeka y’ebirowoozo (logic).

Wano omuntu alina okwebuuza:

• Kiki ekikola ebirowoozo ebituufu era ebyesigika? Fakikya (facts) oba ndowooza ya muntu?

• Engeri y’okukubaganya ebirowoozo ennungi efaanana etya? Y’eyo eddamu ebibuuzo eby’ekifirosoofa, ebalangula obukunizo okuyita mu ndowooza ya mugobansonga (dialectical thinking), oba byombi?

• Ebirowoozo bisengekebwa bitya ?Okuyita mu kulambika oba okulambulula ensonga ? Okulambika ensonga kyawukana kitya n’okulambulula ensonga ?

• Ensonga ensengeke ziweebwa zitya? Ziba zikwatagana oba nga tezikwatagana (matenkane)  ?

• "Obwongo bukozesebwa mu ngeri ki ? Okozesa obwongo nga olambika ensonga oba nga olambulula ensonga ? Nga wefumiitiriza ,wekenneenya, wekebejja ekintu , oba nga ogattika bino byonna ?

• Ebirowoozo ebikwatagana n’ebitakwatagana byawukana bitya ? .

• Ennyinyonnyola yesigamizibwa ku fakikya(facts) , ku lugambo oba byombi ? Ku fakikya(fact) n’ endowooza eyiyo ku bubwo ki ekikola amazima ?

• Kakwate ki akali wakati w’okusengeka ebirowoozo, okusonjola, n’okunnyonnyola emiramwa  ? • Okukwataganya ebirowoozo (coherence) kye ki ?

Njawulo ki eri wakati wa ssamwassamwa , njwanjwa, okutolobboka, okwogera entotto , n’okugoba ensonga okuyita mu ndowooza eya mugobansonga ?


Okuyigiriza abaana okwefumiitiriza


a) Bayambe okukulakulanya “enkola ya sokolaatoosi”(the socratic method) ey’okwebuuza .Sokolaatoosi yayatiikirira nnyo olw’okukozesa okwefumitiriza okuyita mu kwebuuza (questioning) . Mu buttonde bwabwe abato bebuuza ku buli kye balaba, n’olwekyo kibaddize nga nawe ababuuza.

b) Sikiriza abaana okubuuza ebibuuzo oba okwebuuza. Singa obaddeko ky’ogamba omwana n’olaba nga okunnyonnyola kwo tekukola makulu egy’ali, musikirize okulaga okuwakanya kwe. Okwebuuza oba okubuuza yentandikwa y’okwefumiitiriza.

c) Yamba abato okwekenneenya ekintu oba omulamwa okuva ku njuyi ez’enjawulo . Singa abaana bakozesa amakubo ga njawulo kyokka ne batuuka ku kituufu kye kimu bafuuka basekalowooleza bennyini.

d) Basikirize okutangaaza amukulu g’ebigambo bye baba bakozesa. Kiba kirungi abaana okuteeka ebirowoozo mu bigambo ebyabwe awatali kukyusa makulu nga baawula omulamwa ogumu ku mulala. Eky’okulabirako okwawula omulamwa ogw’okulowooza n’okwefumitiriza.

e) Yogera ku kyekubira, okuzuukusa endowooza zaabwe kinnomu, okusinziira ku mbeera zabwe ez’obuntu.

f) Okwefumitiriza kw’omwana tokusiba ku bisomesebwa mu masomero byokka .Basikirize okukozesa obwongo nga bakubaganya ebirowoozo butonde, empisa, obulungi , okuba n’okumanya.

g) Abato abatannagenda ku somero basikirize okutandika okuwandiika nga batandika n’okukuba ebofaananyi n’okuwandiika nyukuta za waliifu oba namba okuva ku emu okutuuka ku kumi. Okuwandiika nga bakuba obufaananyi kuyamba abaana okutangaaza bye baba bannyonnyola oba bye baba balowozaako.

h) Wewale okukaka endowooza zo oba ez’abalala mu baana. Kino kitegeeza nti bwe tugamba abaana okukola ebintu mu ngeri emu, tulina okubawa ensonga naye bwe baba balina endowooza endala, tusooke tubawulirize.

i) Bawe ekyaganya okwekebejja ekintu n’okukyekennenya balyoke bawunzike. Omwana bwabuuza “lwaki”? muddemu “ggwe olowooza lwaki----?

j) Bayambe okugerageranya n’okutuuka ku bumu obuli mu miramwa oba ebintu ebifaanagana n’enjawulo eri mu miramwa oba ebintu ebifaanagana. Eky’okulabirako mu kugerageranya ennanansi n’omukyungwa, bagambe okunyonnyola engeri zonna gye bifanagana n’engeri zonna gye byawukana. Mu ngeri y’emu oyinza okubanyumiza engero bbiri n’obagamba bazigerageranye.

k) Basomere obugero obumpimpi obasikirize okukubaganya ebirowoozo ku ky’obasomedde mu bigambo byabwe byennyini. Kino kibawa obusobozi okufunza ebirowoozo ebikulu mu kinnyonnyolo mu kifo ky’okudda mu bibuuzo ebirimu ne fakikya. Buuza ebibuuzo ebitalina ansa butereevu mu kinnyonnyolo. Kino kibayambe okuwunzika okusinziira ku kutegeera kwabwe. Gamba abaana okulaga nga ekinnyonnyolo ekyo bwe kikwataganamu n’obulamu bwabwe.

l) Bawe ekinnyonnyolo [story ] ekitawa mpunzika , obaganbe bagimalinize nga buli omu bw’alowooza .

Waliwo ebintu bingi ebiyinza okukolebwa mu maka okusitimusa obusobozi bw’omuto mu sayansi n’okukola enkakaso za sayansi. Gino gye gimu ku miramwa oba ebibuuzo omuzadde omugunjufu gy’alina okumanya nti girimu sayansi ayinza okulagibwa abato mu ngeri emu oba endala.

i) Okutengejjesa ebintu ebiwewuka ku mazzi

ii) Ki ekivaako

a) Ebintu okugwa wansi? Amaanyi agasikira mu nsi oba wansi. b) Omuzira oba ayisi okumerenguka c) Abantu okulwala. Ek’okulabirako obugyama, ensiri , okwonoona obutonde bw;ensi , n’ebirala d) Amazzi okufumuka

iii) Embeera z’ekintu , omuli :

          a) Kakulukusi.  Eky’okulabirako amazzi.

b) Enkalubo. Ekyokulabirako , Ejjinja, Kalaamu, ddole

c) Ggaasi . Ekyokulabirako omukka

   iv)  Mubuuze ku nkula(shapes)  ez’enjawulo ez’ebizanyisibwa bye
   v)   Ebisolo eby’enjawulo, ebibuuka ,  ebyewalula, emigaso gyabyo n’obuvune.
   vi) Emiddo, emiti, n’ebimera , eby’enjawulo by’alabako buli lunaku. Mubuuze emigaso  gyabyo.
  vii) Mubuuze ku biramu n’ebitali biramu by’alabako.
  viii) Mubuze ku njawulo wakati w’ebiramu n’ebitali biramu nga okukua, okulya.
  ix) Ebyetaago by’obulamu: Amazzi, emmere empewo enungi, emiti, ebibira, ebisolo 
      n’ebirala.
  x) Obwengula, ki ky’alaba mu bwengula ?Enjuba, omwezi emunyenye.
  xi) Okubala namba oba ebintu okuva ku emu okutuuka ku kumi. Eky’okulabirako  omuyembe  1.,2,3,4,….10
 xii) Okugeregenya . Ebyokulabirako :

- Munda ne wabweru

- Enzikiza n’ekitangaala

- Ekyeru n’ekiddugavu

- Ekiwanvu n’ekimpi

- Ekibi n’ekilungi

 xiii) Kkala ezimwetoolodde.  Omuddo gwa kkala ki? Olubaale lwa kkala ki? Eby’okuzannyisa bye bya kkala ki?
 xiv) Okuloowoza. Ku muntu n’ensolo ki ekisinga okulowooza? Lwaki?
  xv) Munda mw’ekiramu ne munda mw’ekitali kiramu mwawukana mutya?
  xvi) Ebintu ebitala bilamu tebikula.  Bifuna bitya enkyukakyuka? Eky’okulabirako   
        Ekikopo kyatika ettaka likulugguka, enjazi zikunkumuka oba zikutukakutuka
     ,  olugoye  luyurika, ddola  ekutuka.
  xvii) Ensigo n’ebimera.
  xviii) Ensolo n’obuto bwazo
Ebirala:

- Zuukusa obusobozi bw’omwana wo okuba omukujjukujju, omunooyereza era amuvumbuzi

- Yamba omwana wo okutegeera obwengula n’ensi ey’obutonde.

- Sikiriza omwana wo okwang’anga n’okugonjoola ebikunizo eby’enjawulo.

- Mulage ebimu ku bikola ensengeka y’ebirowoozo mu sayansi nga okwekebejja , okwekennenya , okwefumiitiriza, okunoonya obukakafu, okukola engezeso oba enkakaso. Omwana omusomesa otya Sayansi?

a) Obwongo bw’abaana abatanatuuka kugenda ku somero tebusobola kuteeka birowoozo ku muntu asomesa mu ngeri ey’okwogera okuwanvu kuba baba tebannasobola kutuula na kuwuliriza nga batudde awo nti bakuwuliriza okumala ekiseera nga oyogera gye bali.

b) Musomese okukola ebya sayansi kyokka kola okunnyonnyola kutono naye nga osinga kumuleka neyekwatiramu ekyo ky’olonzeewo yekebejje.

c) Zimbira kwekyo omwana wo ky’osuubira nti alina ky’akimanyiiko. Bw’oyagala ayige ku kintu ekipya ennyo gyali , azibuwalirwa nnyo. Abaana bano basobolera ddala okutondeka (okuzimba) emiramwa ku bintu eby’enjawulo mu mbeera gye balimu.

d) Sikiriza omwana wo okuyiga , naddala mu by’okuyiga by’olaba nga abirinamu ekitone oba obusobozi obwenjawulo. Bino abiyigamu mu bwangu awatli kusanga buzibu. Omwana wo ayinza okuba nga yeyunira nnyo emiddo, ebisolo , n’ebiwuka, ebidduka oba amayinja , enjazi, okutabula kkala .Tokuliriza kuba nti yeddugaza oba “alina eddalu” naye muyambe okbyebuzaako mu ngeri ez’enjawulo nga okumanya emigaso gya byo , obuvune nga mu buwuka ebiruma oba eby’obutwa.

e) Laba nga tayiga ku bintu mu ngeri eri waggulu wa myaka gye. Singa aba yebuuza ku kitangaala, oyinza okumutunuza mu nsibuka z’ekitangaala nga okuva mu njuba, omuliro oba ettala awatali kugenda mu kalonda wa sayansi wa kitangaala owa waggulu.

f) Buli mulamwa gw’osomesa omwana wo togubikkirira wabula gwogere gy’ali nga bwe guli awatali kugenda mu maaso gumusonjolera, wabula munnyonnyole ebimu ebigukwatako mu ngeri ennyangu . Emiramwa nga ogw’amaanyimusira (gravity), ekitangattisa (photosynthesis), empaliriza (force) , oba amaanyikasoboza (energy), gimwatulirwe nga bwe giri awatali kutya . Ojja kwewuunya nga atandise okugikozesa mu njogera ye eya bulijjo.

g) Omuzadde mu maka amagunjufu asaana okubaamu n’ebikozesebwa mu sayansi ebyangu nga ebirawuli ebizimbulusa , omulengerera wala, kusa endabirwamu eraga ebifanaanaganyo (reflections) ebimyanso, minzaani, n’ebirala.

h) Okwebuusa n’okukola ebisinziiro (hypothesis). Baanasayansi basinziira ku bisinziiro okunnyonnyola obutonde mu nsi. Beebuuza ki ekiyinza okubaawo singa ebisinziiro byabwe biba bituufu okugezesa ebisinziiro bino gwe mulamwa gwe’enkola eya sayansi. Emyekebejjo gya sayansi (Scienfic activities) egimu gisobozesa abato okwenoonyeza okumanaya awatali kufa ku mitendera gya nkola ya sayansi kyokka oluusi abato banyumirwa kalonda w’enkola ya sayansi, n’olwekya kyetaagisa okulaga abato emiramwa gya.

i. Okwekejja

ii. Okukola ekiteeberezo (ekisinziiro)

iii. Okukola engezeso oba enkakaso

Enkakaso z’abato Awaka

Enkakaso z’abato ziyimba okubatunuza mu miramwa gy’okwekebejja oba ekyekebejjo , okulagula oba ekiragulo, n’engesezo (testing)

Ekigendererwa ky’enkakaso zino kwe kutunuza abato mu “enkola ya sayansi” nga okulaga nti “ekintu” kiyinza okukyusa embeera zaakyo . Kino kitegeeza nti amazzi gayinza okuba kakulukusi, enkalubo , oba ggaasi (enfuumo).

Wano oyinza okukozesa “ebitole oba kyesatuza za ayiisi” n’oziwa abaana bazizannyise ebweeru n’ekigendarerwa eky’okubasobozesa okuzuula ekibaawo ku bwabwe nga tolina ky’obannyonnyodde nawe oyinza okuzanya naba kyokka nga teweyisa nga nga musomesa wabula ng’omu ku bbo. Abaana bayinza okugezaako okutabula, okuyiwa okupanga, oba okuzimba okukubaganya, n’okusiiga nga bakozesa kyesetuza za ayisi zino okulaba emikululo egisigala emabega.

Ebibuuzo by’oyinza okubabuuza:

a) Ki ekireetera ayisi okuremereguka? b) Ki ekibeerawo ku buli kyokola ne kyesatuza za ayisi zino? c) Bw’oba oyagala oyinza okusikiriza abato okulaga bye bazudde.