Jump to content

Okwegulumiza(Pride)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Emotions of pride.

Embeera y’Obuntu ey’ Okwegulumiza(the emotion of Pride)

Obugunjufu era kikwata ku kumanya obuzibu obuyinza okujjawo ng’omuntu yetaddemu embeera ey’okwegulumiza. Okwegulumiza kweyolekera mu kukudaala, okuduula, n’obutakolagana na balala mu ngeri yonna , naddala nga olaga nti ba wansi oba obasinga.Mu butuufu oyinz aokuba nga obasinga naye si kilungi kulaga nnyo nti obasinga.

Abantu abasinga balowooza nti okwegulumiza gaba malala naye ekituufu kiri nti kuba kulowooza na kulaga nti oli waggulu w’abalala mu nkula, n’okumanya , obuyinza , amaanyi, oba obugagga.

Okwegulumiza kivaamu amalala, okwemanyamanya, emputtu, n’obutagambwako naye kyokka kya njawulo ku bino. Omuntu ey’egulumiza aba alowooza nti asukkulumye ku balala mu:

 bulungi/endabika y’omubiri.

 magezi (okumanya).

 buyinza n’amaanyi

 bugagga-Kubanga alina ebyobugagga ebisingako eby’abalala.

Omuntu omugunjufu ne bwaba ng’ebyo waggulu abirina teyegulumiza era aba mukkakkamu , omuntu w’abantu, omutabaganyi omulungi yadde ng’alina okuba n’okwekengera okwetaagisa.

Bino bimuviirako obutagambwako n’emputu (obutakyusa mpisa oba nneeyisa embi). Amalala , okusinga eba ntambula oba enjogera n’ennyambala ey’ekivubuka. Amalala gayinza obutaba na kakwate na kwegulumiza , naddala mu bavuvuka abali mu myaka gya kavubuka.

Okwegulumiza kulowooza nti ggwe otuukiridde okusinga abalala era ggwe buli bbanga oba wegeraageranya n’okuvuganya n’abalala okulaga nti obasinga. Okwemanyamanya kuvaamu okwematira . Okwemanyaamanya kugeraageranye n’embeera ey’okwewa ekitibwa ky’obuntu (self-esteem), okwetya n’okwemotyamotya . Ssinga wali osobola okubaako w’oli mu bwengula n’olaba buli ekikolebwa ensolo eziri ku nsi wandirabye katemba atali musasulire, alimu ebisanyusa, ebyewunyisa, n’ebyennaku.

Katemba alimu okunyumirwa ayitibwa “katemba ow’okunyumirwa” (comedy); ate oyo akomekkereza ne nnaku, entiisa, obulumi n’okunyolwa ayitibwa “katemba ow’entiisa” (tragedy). Mu katemba ow’entiisa mubaamu bakazannyirizi ab’enjawulo; wabaawo ayitibwa omuzannyi omukulu, ayitibwa omuzira, “omupalattanyi”, (protagonist) oba omuzira ow’ekikolimo.

Ne mu bulamu ku nsi kuno mulimu katemba ow’entiisa mungi , ng’ensibuko eri mu bintu bisatu: (iv) Engerekera (instinct) ey’okuva mu mbeera ez’obuntubulamu (v) Obutaba na bwakalimagezi ku bikolwa bijja abalala mu mbeera ez’obuntubulamu (lack of emotional intelligence). (vi) Obutagunjula baana nga bato kufuga mbeerza zaabwe ez’obuntu.