Jump to content

Olara Otunnu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Olara Otunnu
omuntu
ekikulamusajja Kyusa
ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
olunaku lw’amazaalibwa6 Gwamwenda(Mutunda) 1950 Kyusa
ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
omulimudiplomat, munnabyabufuzi, minister Kyusa
ekifo ky'alimuMinister of Foreign Affairs of Uganda Kyusa
GyeyasomeraUniversity of Oxford, Harvard Law School, Ssettendekero wa Makerere Kyusa
awaadi z'afunyeSydney Peace Prize, Fulbright Scholarship, German Africa Prize Kyusa

Olara A. Otunnu (yazaalibwa 6 Ogwomwenda 1950) [1] [2] .Munnabyabufuzi, mukiise wa Uganda mu mawanga amalala, era munnamateeka Munnayuganda. Yaliko Pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Uganda People’s Congress (UPC), okuva mu 2010 okutuuka mu 2015 era n’ayimirira wo ng’omukiise w’ekibiina mu kalulu k'obwa pulezidenti aka 2011 . [3] Otunnu yeeyali Omukiise ow'enkalakkalira mu Kitongole Ky'amawanga Amagatte okuva mu 1980 okutuusa mu 1985 era nga yaweereza nga Minisita W'ensonga Z'ebweru okuva mu 1985 okutuusa mu 1986.​ Oluvannyuma, yafuuka ppulezidenti w'ekitongole kya International Peace Academy okuva mu 1990 [4] okutuusa mu 1998[5]​ era yeeyali Under-Secretary-General mu Kitongole Ky'amawanga Amagatte era akiikirira eggwanga mu kaweefube w'okulwanyisa okuyingiza abaana abato mu ntalo nga baweebwa emmundu owa Children and Armed Conflict okuva mu 1997 [4] okutuuka mu 2005.[6]

Olara Otunnu

Otunnu yazaalibwa Mucwini, mu Bacholi mu bukiikakkono bwa Uganda . Kitaawe yali mukulembeze mukulu mu kibiina kya East African Revival .

Okusoma kwe okwa wansi yakufunira ku masomero omwali; Mvara, Mucwini, ne Anaka . Okusoma kwa siniya yakufunira mu Gulu High School ne King's College Budo.[7] Oluvannyuma yasomera mu Ssettendekero wa Makerere, gye yali pulezidenti w'abayizi.[8] Mu kiseera kyonna kye yamala ng’akyali muyizi, yakola kinene nnyo okukuyega banne, ekyaviirako okuwankanya okufuga kwa gavumenti ya Idi Amin, ne yeenyigira mu kutandikawo era n’akola nga Ssaabawandiisi w’ekibiina kya Uganda Freedom Union, ekibiina ekyagatta bannayuganda abaawerako abaalina omwoyo gw'eggwanga mu lutalo lw’okulwanyisa Amin. Olw’okuba nga yeeyongera okufuna okutiisibwatiisibwa okuva mu gavumenti, Otunnu yawangangusibwa mu 1973, naye naatoloka era okwewonyya okukwatibwa era yassibira mu Nairobi e Kenya.[8] Eyo, gyeyafunira sikaala ey'ebweru w'eggwanga okugenda mu okusomera mu Oxford University . [8] Mu 1976, yasomera mu Harvard Law School wansi wa sikaala ya Fulbright Scholarship.[9]

Okuva mu 1980 okutuuka mu 1985, Otunnu yaweereza ng’omukiise wa Uganda mu kibiina Ky’amawanga Amagatte . Mu 1980, yalondebwa Pulezidenti Milton Obote okukiikirira Uganda enkalakkalira mu kibiina ky’Amawanga Amagatte . [8] Mu kiseera kino, yaweereza mu mirimu emikulu egy’enjawulo. Mu 1981, yalondebwa okuba pulezidenti w’olukiiko lw’Amawanga Amagatte Olw’ebyokwerinda, era eno gye yakubiriza okulonda kwa Ssaabawandiisi Javier Pérez de Cuéllar era nayiiya enkola y’okulonda eya straw balloting emanyiddwa ennyo nga Otunnu Formula era nga ekyakozesebwa n’okutuusa leero. [10] Okuva mu 1982 okutuuka mu 1983, yaweereza ng'Omumyuka wa Pulezidenti w'olukiiko lw'Amawanga Amagatte, era nga ye Ssentebe w'ekibiina ekikwatagana ku nteeseganya z'ensi yonna. Omwaka ogwaddako yakola nga Ssentebe w'akakiiko k'Amawanga Amagatte akavunaanyizibwa ku Ddembe Ly'obuntu .

Okuva mu 1985-1986, Otunnu yaweereza nga Minisita W'ensonga Z'ebweru era naakola na maanyi okusobola okufuna endagaano ya Nairobi Agreement eyakolebwa mu Gwekkumineebiri gwa 1985.[4]

Otunnu yalondebwa okuba pulezidenti w'ekitongole kya International Peace Institute mu 1990, era naaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1998. Yakyusa endabika y'ekitongoleera naasikiriza abavujjirizi b'ensimbi abapya ekyaviirako okugawa kw'emirimu gyakyo.[11]

Otunnu yalondebwa Ssabawandiisi w'ekibiina ky'Amawanga Amagatte, Kofi Annan ku ky'Omubeezi wa Ssabawandiisi era ng'omukiise ow'enjawulo mu kaweefube wa Children in Armed Conflict nga 19 Ogwomunaana 1997, n'atandika ofiisi nga 1 Ogwomwenda 1997. [4]

Otunnu yeesimbawo mu 2010 okudda mu bigere bya Miria Obote, mukyala w’eyali Pulezidenti Milton Obote, ku bwa pulezidenti wa UPC. Nga 14 May, yawangula mutabani we Jimmy Akena mu lukungaana lw’ababaka ba UPC. [3] UPC yamusimbawo mu November 2010 ng’avuganya ku bwapulezidenti bwayo. [3] Kyokka ku lunaku lw’okulonda mu 2011, yagaana okulonda, wadde ku lulwe. [3] Yafuna obululu 1.58 ku buli 100. [12]

Awaadi n’okulondebwa kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Otunnu afunye engule z’ensi yonna ez’amaanyi eziwerako, omuli Awaadi y’Obuweereza Obw’enjawulo okuva mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ekya United States of America (2001); Ekirabo kya Germany Africa Prize mu (2002); [13] ekirabo kya Sydney Peace Prize (2005); n’ekirabo ky’ensi yonna olw’okuyamba ennyo mu kutumbula ddembe ly’obuntu (India, 2006). [4] Mu 2007, yafuna awaadi y'ekibiina kyabayizi b'amateeka eya Harvard Law School Association, eyamuweebwa [14] pulezidenti waakyo [15] Jay H. Hebert ne Elena Kagan ( omulamuzi akolagana ne kkooti ey'oku ntikko mu Amerika). [16]

Otunnu aweereza emirimu egy’enjawulo egy’okuwabula mu nsengeka y’ebibiina by’obwa nnakyewa, omuli: omukulembeze omwesigwa mu Aspen Institute, omulamuzi mu McNulty Foundation, omuwabuzi wa Aspen France, Aspen Italia, Carnegie Endowment for International Peace, Carnegie Corporation of New York, the Hilton Humanitarian Prize, International Selection Commission of the Philadelphia Liberty Medal, International Crisis Group (ICG), olukiiko lw’abawabuzi ba Afrika mu Bbanka y’ensi yonna, akakiiko akawabula ku kitongole ky’ensi yonna ekinoonyereza ku mirembe mu Stockholm (SIPRI), era omutandisi w’ekitongole kya LBL Foundation for Children. [4] [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.africa-confidential.com/profile/id/3478/page/2
  2. https://www.newvision.co.ug/news/1116751/olara-otunnu
  3. 1 2 3 4 "Archive copy". Archived from the original on 2024-12-05. Retrieved 2025-07-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 1 2 3 4 5 6 https://www.un.org/press/en/1997/19971010.SGA655.html
  5. http://sydney.edu.au/news/84.html?newsstoryid=36
  6. https://www.un.org/news/dh/pdf/english/2005/01082005.pdf
  7. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/1973735.stm
  8. 1 2 3 4 https://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/Otunnu-rubs-Amin-regime-the-wrong/689364-1891116-kdk0k5/index.html
  9. http://www.law.harvard.edu/news/2007/06/14_otunnu.html
  10. 1 2 http://www.upcparty.info/page9/page9.html
  11. https://www.ipinst.org/about/mission-history
  12. http://www.electionguide.org/elections/id/2182
  13. https://www.aspeninstitute.org/people/olara-a-otunnu
  14. https://web.archive.org/web/20120119070833/http://www.fed-soc.org/docLib/20100518_ElenaKaganPublicQuestionnaire.pdf
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2012-02-18. Retrieved 2025-07-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. "Archive copy". Archived from the original on 2011-11-16. Retrieved 2025-07-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Footer Sydney Peace Prize laureates