Olimi II ow'e Tooro
Endabika
Rukirabasaija Kasunga Nyaika Kyebambe l yali Omukama w’Obukama bwa Tooro, okuva mu 1872 okutuuka mu 1875. Yali Omukama wa Tooro ow’okutaano (5).
Okulinnya ku ntebe y'Obukama
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Kaboyo Olimi l, Omukama ow’e Tooro, eyafugira wakati wa 1866 ne 1871 ne wakati wa 1871 ne 1872. Tekinnamanyika nnyina y’ani. Yalinnya ku ntebe oluvannyuma lwa kitaawe okufa mu 1872.
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Abakyala ba Omukama Olimi II mwalimu:
- Vikitoria Kahinju, ow’ekika ky’Ababopi, mwannyina wa Togwe Rusoke eyali Ssaabaminisita w’e Tooro.
Abaana b'eyazaala
[kyusa | kolera mu edit source]Abaana ba Omukama Olimi II kuliko:
- Rukirabasaija Daudi Kasagama Kyebambe III, Omukama ow’e Toro, eyafugira wakati wa 1891 ne 1928, nga nnyina yali Vikitoria Kahinju.
- Omubiito Musuga. Yaddukira Ankole gye yatemulwa ku biragiro bya Kiboga, Nnabagereka Maama w'e Ankole.
- Omubiito Kamurasi. Yaddukira e Ankole gye yatemulwa ku biragiro bya Kiboga Nnabagereka Maama w’e Ankole.
- Omubiito Zedekiya Nkojo.
- Omubiitokati Mukakiyabara Maliza Bagaya Rwigirwa. Yatuuzibwa nga Batebe eri muganda we Daudi Kasagama Kyebambe III, nga 16 Ogwomunaana 1891. Mu 1871, yawasa Rukirabasaija Agutamba Chwa II Kabarega, Omukama ow’e Bunyoro-Kitara eyazaalibwa mu 1853. Daudi Agutamba Chwa yali mutabani wa Rukirabasaija Agutamba Kyebambe IV Kamurasi owookubiri, . Omukama ow'e Bunyoro-Kitara.
- Omubiitokati Lilian Nyinabarongo.
- Omubiitokati Leya Kakura.
- Omwana omuwala, erinnya lye teriwandiikiddwa, nga mu 1871 yafumbirwa Nyakusinga Rubambansi Mutambuka, Omugabe w’e Ankole ow'ekiseera ekyo.
Obukulembeze bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 1875, Omukama Olimi II yawambibwa n’akomezebwawo e Bunyoro eggye eryasindikibwa Omukama Chwa II Kabarega . Yatoloka amagye ga Bungereza ne Buganda bwe galumba Bunyoro mu 1893/1894. Kyokka yafa nga tannasobola kudda mu Bukama bwe Tooro .
Emyaka gye egy'oluvanyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Omukama Kyebambe Olimi II yafiira mu Buganda mu 1894.