Jump to content

Olimi I ow'e Tooro

Bisangiddwa ku Wikipedia

Rukirabasaija Kaboyo Omuhundwa Kasusunkwanzi Olimi 1 yali Omukama w’obukama bwa Tooro, okuva nga 1830 okutuuka nga 1861. Ye Omukama ey'asooka ow’e Tooro. [1]

Okutuuzibwa ku ntebe y’Obukama

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Rukirabasaija Agutamba Nyamutukura Kyebambe III, Omukama ow’e Bunyoro-Kitara mu kiseera ekyo. Maama we yali mukyala wa kika kya Ababwiju. Y'ayeekera kitaawe era n’atandikawo obwakabaka obubwe e Kaboyo mu kiseera nga kitaawe akyafuga nga y'atandika mu 1822. Yagaana okusikira entebe y'obukama bwa Bunyoro-Kitara oluvannyuma lw'okufa kwa kitaawe.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Si bingi ebimanyikiddwa ku bulamu bwe bw’obufumbo bw’Omukama Olimi I.

Abaana b'eyazaalo

[kyusa | kolera mu edit source]

Abaana Omukama Olimi I ow’e Tooro b'eyazaala mwalimu bano wammanga:

  1. Omubiito amannya ge tegamanyiddwa. Omubiito ono yazaala omwana omulenzi, omu Omubiito Kabuzi, muganda wa Nyaika, eyayambako kojja we Mushaga I mu kampeyini ze ez’okuwamba Namulondo. Yawangulwa n’attibwa e Kanyanyange, ng’ali wamu n’ababiito abalala abawerako mu 1870. Omubiito Kabuzi yazaala omwana ow’obulenzi; Omubiito Isansa.
  2. Omubiito Barongo.
  3. Rukirabasaija Kazana Ruhaga, Omukama ow’e Tooro, okuva mu 1862 okutuuka mu 1866.
  4. Rukirabasaija Kasunga Kyebambe Nyaika, Omukama ow'e Tooro, okuva mu 1866 okutuuka mu 1870 n'okuva mu 1871 okutuuka mu 1872.
  5. Rukirabasaija Kato Rukidi I, Omukama ow’e Tooro, okuva mu 1871 okutuuka mu 1871
  6. Omubiito nga naye amannya ge tegamanyiddwa. Omubiito ono II atategeerekese mannya, yazaala omwana ow’obulenzi, Rukirabasaija Kakende Nyanuyonjo, Omukama ow’e Tooro, eyafugira okuva mu 1876 okutuuka mu 1876.
  7. Omubiito Kato.
  8. Omubiito Ndahura Mushaga. Yayeekera muganda we Omukama Nyaika, kyokka n’awangulwa era n’attibwa, wamu n'emutabani wa muganda we, Bulemu, mu 1869.
  9. Omubiitokati Komuntale, Omutaka w’e Bulera.
  10. Omubiitokati Kibundabunda, Omutaka w’e Butanda.
  11. Omubiitokati Bayanjeru.

Ennaku ze ez'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Omukama Olimi I yafa mu mwaka gwa 1865

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start

Template:Succession box Template:S-end