Olimi I owe Tooro
Endabika
Rukirabasaija Kaboyo Omuhundwa Kasusunkwanzi Olimi I yali Omukama w’Obwakabaka bwa Tooro, okuva nga 1830 okutuuka nga 1861. Ye Omukama we Tooro eyasookera ddala.[1]
Okubeera ku ntebe y’obwakabaka
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Rukirabasaija Agutamba Nyamutukura Kyebambe III, Omukama ow’e Bunyoro-Kitara mu kiseera ekyo. Maama we yali wa kika ekya Aabwiju. Yajeemera kitaawe n’atandikawo obwakabaka bwe e Kaboyo nga kitaawe akyali mulamu, okuva mu 1822. Yanyooma okusikira Bunyoro-Kitara ku kufa kwa kitaawe.
Obulamu bw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Si bingi ebimanyiddwa ku bulamu bw’obufumbo bw’Omukama Olimi I.
Ezzadde
[kyusa | kolera mu edit source]Ezzadde lya Omukama Olimi I ow’e Tooro mwalimu bino wammanga:
- Omulangira (Omubiito) amannya ge tegamanyiddwa. Omulangira ono yazaala omwana omulenzi, omu Omulangira (Omubiito) Kabuzi, muganda wa Nyaika, yayambako kojja we Mushaga I mu kampeyini ze ez’okuwamba Namulondo. Yawangulwa n’attibwa e Kanyanyange, ng’ali wamu n’abalangira abalala abawerako mu 1870. Omulangira Kabuzi yazaala omwana ow’obulenzi; Omulangira (Omubiito) Isansa.
- Omulangira (Omubiito) Barongo.
- Rukirabasaija Kazana Ruhaga, Omukama ow’e Tooro, okuva mu 1862 okutuuka mu 1866.
- Rukirabasaija Kasunga Kyebambe Nyaika, Omukama ow'e Tooro, okuva mu 1866 okutuuka mu 1870 n'okuva mu 1871 okutuuka mu 1872. [1]
- Rukirabasaija Kato Rukidi I, Omukama ow’e Tooro, okuva mu 1871 okutuuka mu 1871
- Omulangira (Omubiito), nga naye amannya ge tegamanyiddwa. Omulangira ono II atategeerekese mannya, yazaala omwana ow’obulenzi, Rukirabasaija Kakende Nyanuyonjo, Omukama ow’e Tooro, eyafugira okuva mu 1876 okutuuka mu 1876.
- Omulangira (Omubiito) Kato.
- Omulangira (Omubiito) Ndahura Mushaga. Yajeemera muganda we Omukama Nyaika, kyokka n’awangulwa n’attibwa, wamu ne muganda we, Bulemu, mu 1869.
- Omumbejja (Omubiitokati) Komuntale, Omutaka w’e Bulera.
- Omumbejja (Omubiitokati) Kibundabunda, Omutaka w’e Butanda.
- Omumbejja (kati Omubiito) Bayanjeru.
Ennaku ezisembayo
[kyusa | kolera mu edit source]Omukama Olimi I yafa nga mu mwaka gwa 1865
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Omukama owa Tooro
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Low, D. A. (2009-04-09). Fabrication of Empire: The British and the Uganda Kingdoms, 1890-1902 (in Lungereza). Cambridge University Press. pp. 151–158. ISBN 978-0-521-84351-5. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content